0:00
0:00

Essuula 46

Katonda kye kiddukiro n'amaanyi gaffe, Omubeezi ddala atabula mu kulaba ennaku.
2 Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw'eneekyukanga, N'ensozi ne bwe zinaasigukanga mu buziba obw'ennyanja;
3 Amazzi gaayo ne bwe ganaayiranga ne bwe ganeekuluumululanga, N'ensozi ne bwe zinaakankananga n'okwetabula kwayo. (Seera)
4 Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda, Ekifo ekitukuvu eky'eweema z'oyo ali waggulu ennyo.
5 Katonda ali wakati waakyo; tekiisagaasaganenga: Katonda anaakibeeranga, anaakibeeranga enkya mu matulutulu.
6 Amawanga gaayoogaana, obwakabaka ne bwetabula: Yaleeta eddoboozi lye, ensi n'esaanuuka.
7 Mukama w'eggye ali wamu naffe; Katonda wa Yakobo kye kiddukiro kyaffe. (Seera)
8 Mujje, mulabe ebikolwa bya Mukama, Okuzikiriza kwe yaleeta mu nsi.
9 Aggyawo entalo okutuusa ku nkomerero y'ensi; Amenya omutego, n'effumu alikutula; N'amagaali agookya omuliro.
10 Musirike mumanye nga nze Katonda: Naagulumizibwanga mu mawanga, Naagulumizibwanga mu nsi.
11 Mukama w'eggye ali wamu naffe; Katonda wa Yakobo kye kiddukiro kyaffe. (Seera)