Okukulwanirira

0:00
0:00

  • Wakana, ai Mukama, n'abo abawakana nange: Lwana n'abo abalwana nange.- Zabbuli Psalms 35:1
  • Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya; Kubanga akoze eby'amagero: Engalo ze eza ddyo, n'omukono gwe omutukuvu bimuleetedde obulokozi.- Zabbuli Psalms 98:1
  • Mugambe abo abalina omutima omuti nti Mubeere n'amaanyi, temutya: laba Katonda wammwe alijja n'okuwalana eggwanga, n'empeera ya Katonda; alijja n'abalokola.- Isaaya Isaiah 35:4
  • Mukama waffe anandokolanga mu buli kikolwa ekibi, era anankuumanga okutuusa ku bwakabaka bwe obw'omu ggulu: aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.- 2 Timoseewo 2 Timothy 4:18
  • N'okwaŋŋanga ne twaŋŋanga okwogera nti Mukama ye mubeezi wange; ssiritya: Omuntu alinkola ki?- Abaebbulaniya Hebrews 13:6
  • akola ekibi wa Setaani; kubanga okuva ku lubereberye Setaani akola ebibi. Omwana wa Katonda kyeyava alabisibwa amalewo ebikolwa bya Setaani.- 1 Yokaana 1Yokaana 3:8
  • Nabo baamuwangula olw'omusaayi gw'Omwana gw'endiga, n'olw'ekigambo eky'okutegeeza kwabwe; ne batayagala bulamu bwabwe okutuusa okufa.- Okubikkulirwa Revelation 12:11