Verse of the Day

[Copy and send from here:]

Verse of the day:

Olunaku olulungi! 🙂

https://www.wordproject.org/bibles/votd3/index_lug.htm


Verses of the month [Sample]

Day 1
"Mukama bw'atazimba nnyumba, Abagizimba bakolera bwereere: Mukama bw'atakuuma kibuga, Omukuumi atunuulirira bwereere.
- Zabbuli 127:1

Day 2
"Mukama aba mulungi eri abo abamulindirira, eri emmeeme emunoonya. Kirungi omuntu okusuubiranga n'okulindiriranga obulokozi bwa Mukama ng'ateredde.
- Okukungubaga 3:25-26

Day 3
"Era tumanyi nti eri abo abaagala Katonda era abayitibwa ng'okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna abibakolera wamu olw'obulungi. -
- Abaruumi 8:28

Day 4
"Muyimirire nga mutya, muleme okwonoona: Mulowooze mu mutima gwammwe ku kitanda kyammwe, musiriikirire. (Seera)
- Zabbuli 4:4

Day 5
"Omukazi bw'azaala alaba ennaku, kubanga ekiseera kye kituuse: naye omwana bw'amala okuzaalibwa nga takyajjukira kulumwa, olw'essanyu ery'okuzaala omuntu mu nsi.
- Yokaana 16:21

Day 6
" kubanga mwalokoka lwa kisa lwa kukkiriza; so tekwava gye muli: kye kirabo kya Katonda: tekwava mu bikolwa, amuntu yenna aleme okwenyumirizanga.-
- Abaefeeso 2:8

Day 7
"Temubeeranga na bbanja lyonna eri omuntu yenna, wabula okwagalananga: kubanga ayagala muntu munne, ng'atuukirizza amateeka.
- Abaruumi 13:8

Day 8
"Mukama atenderezebwenga atusitulira omugugu gwaffe buli lunaku, Ye Katonda, bwe bulokozi bwaffe. (Seera) -
- Zabbuli 68:19

Day 9
"naye abo abalindirira Mukama baliddamu obuggya amaanyi gaabwe; balitumbiira n'ebiwaawaatiro ng'empungu; balidduka mbiro ne batakoowa; balitambula ne batazirika.
- Isaaya 40:31

Day 10
"Eggulu n'ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggweerawo ddala.
- Matayo 24:35

Day 11
"Wabaawo asaasaanya ne yeeyongera nate okwala; Era wabaawo akodowala okusinga bwe kigwana, naye kireeta kwetaaga bwetaazi.
- Engero 11:24

Day 12
"Etteeka eriggya mbawa nti Mwagalanenga; nga bwe nnabaagalanga mmwe, era nammwe mwagalanenga.
- Yokaana 13:34

Day 13
"Mwekuume tewabeerangawo muntu abanyaga mu bufirosoofo n'eby'obulimba ebitaliimu, okugobereranga ebyayigirizibwa abantu okugobereranga eby'olubereberye eby'ensi, okutali kugoberera Kristo
- Abakkolosaayi 2:8

Day 14
"Naye Katonda yeebazibwe, atutwala bulijjo ng'abawangula mu Kristo, n'atubikkuza evvumbe ery'okumutegeera ye mu buli kifo.
- 2 Abakkolinso 2:14

Day 15
"Kubanga ggwe, ai Mukama, oli kiddukiro kyange Omufudde oyo ali waggulu ennyo ekigo kyo w'otuula; Tewali kabi akalikubaako, so tewali kibonoobono ekirisemberera eweema yo.
- Zabbuli 91:9, 10

Day 16
"Temuwalananga muntu kibi olw'ekibi. Mwetegekenga ebirungi mu maaso g’abantu bonna.
- Abaruumi 12:17

Day 17
"Katonda n'ayogera nti, Ensi ereete ekirina obulamu mu ngeri yaakyo, ente, n'ekyewalula, n'ensolo y'ensi mu ngeri yaayo: bwe kityo bwe kyali.
- Genesis 1:24

Day 18
"Mugambe abo abalina omutima omuti nti Mubeere n'amaanyi, temutya: laba Katonda wammwe alijja n'okuwalana eggwanga, n'empeera ya Katonda; alijja n'abalokola.
- Isaaya 35:4

Day 19
"Kubanga okubonaabona kwaffe okutazitowa, okw'ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okutukolera ekitiibwa ekizitowa eky'emirembe n’emirembe; ffe nga tetutunuulira ebirabika, wabula ebitalabika: kubanga ebirabika bya kiseera; naye ebitalabika bya mirembe na mirembe.
- 2 Abakkolinso 4:17-18

Day 20
"Era ekibala eky'obutuukirivu kisigibwa mu mirembe eri abo abaleeta emirembe.
- Yakobo 3:18

Day 21
"Eyankola nze mu lubuto si ye yamukola ye? Eyatubumba mu lubuto fembi si omu?
- Yakobo 31:15

Day 22
"Kale mu oyo tuweereyo eri Katonda bulijjo ssaddaaka ey'ettendo, kye kibala eky'emimwa egyatula erinnya lye.
- Abaebbulaniya 13:15

Day 23
"Tobatyanga: kubanga nze ndi wamu naawe okukuwonya, bw'ayogera Mukama.
- Yeremiya 1:8

Day 24
"Kitange, be wampa, njagala, we ndi nze, nabo we baba babeeranga nange; balabe ekitiibwa kyange kye wampa: kubanga wanjagala nze ng'ensi tennatondebwa.
- Yokaana 17:24

Day 25
"Tootyenga lwa ntiisa ya kiro Newakubadde akasaale akagenda emisana;
- Zabbuli 91:5

Day 26
"Munnammwe omu anaagobanga lukumi: kubanga Mukama Katonda wammwe, oyo yabalwanirira, nga bwe yabagamba.
- Yoswa 23:10

Day 27
"Kale bwe twaweebwa obutuukirivu olw'okukkiriza, tubeerenga n'emirembe eri Katonda ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo,T
- Abaruumi 5:1

Day 28
"Akyusa okutu kwe obutawulira mateeka, N'okusaba kwe kwa muzizo.
- Engero 28:9

Day 29
" Obatukuze mu mazima: ekigambo kyo ge mazima,
- Yokaana 17:17

Day 30
"Nze nnasiga, Apolo n'afukirira; naye Katonda ye yakuza. Kale bwe kityo asiga si kintu, newakubadde afukirira; wabula Katonda akuza.
- 1 Abakkolinso 3:6, 7

Day 31
"Kubanga kitange ne mmange bandese, Naye Mukama ananjijanjabanga.
- Zabbuli 27:10