Olubereberye

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50

0:00
0:00

Essuula 1

Olubereberye Katonda yatonda eggulu n'ensi.
2 Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde; n'ekizikiza kyali kungulu ku buziba: omwoyo gwa Katonda ne gumaamira kungulu ku mazzi.
3 Katonda n'ayogera nti, Wabeewo obutangaavu. Ne wabaawo obutangaavu.
4 Katonda n'alaba nga obutangaavu bulungi: Katonda n'ayawula wakati mu butangaavu n'ekizikiza.
5 Katonda obutangaavu n'abuyita emisana, n'ekizikiza n'akiyita ekiro. Nebuba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olumu.
6 Katonda n'ayogera nti, Wabeewo abbanga wakati mu mazzi, lyawulenga amazzi n'amazzi.
7 Katonda n'assaawo ebbanga n'ayawula amazzi agali wansi w'ebbanga n'amazzi agali waggulu mu bbanga: bwe kityo bwe kyali.
8 Katonda ebbanga n'aliyita eggulu. Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okubiri.
9 Katonda n'ayogera nti, Amazzi agali wansi w'ggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu, olukalu lulabike: bwe kityo bwe kyali.
10 Katonda olukalu n'aluyita ensi; n'ekkuŋŋaaniro ly'amazi n'aliyita ennyanja: Katonda n'alaba nga birungi.
11 Katonda n'ayogera nti, ensi emere ebimera, omuddo ogubala ensigo, omuti gw'ebibala, ogubala ebibala mu ngeri yaagwo, ogulimu ensigo yaagwo, ku nsi: bwe kityo bwe kyali.
12 Ensi n'emera ebimera, omuddo ogubala ensigo mu ngeri yaagwo, n'omuti ogubala ebibala, ogulimu ensigo yaagwo, mu ngeri yaagwo: Katonda n'akiraba nga kirungi.
13 Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okusatu.
14 Katonda n'ayogera nti, Wabeewo ebyaka mu bbanga ery'eggulu; byawulenga emisana n'ekiro, bibenga ng'obubonero, n'ebiro, n'ennaku n'emyaka:
15 Bibenga ng'ettabaaza mu bbanga ery'eggulu byakenga ku nsi: bwe kityo bwe kyali.
16 Katonda n'akola ebyaka bibiri ebinene; ekyaka ekisinga obunene okufuganga emisana, n'ekyaka ekitono okufuganga ekiro: era n'emmunyeenye.
17 Katonda n'abiteeka mu bbanga ery'eggulu byakenga ku nsi,
18 bifugenga emisana n'ekiro, era byawulenga obutangaavu n'ekizikiza: Katonda n'alaba nga birungi.
19 Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okuna.
20 Katonda n'ayogera nti, Amazzi gazaale ebyewalula bingi ebirina obulamu, era n'ekibuuka kibuuke ku nsi mu bbanga ery'eggulu.
21 Katonda n'atonda balukwata abanene, na buli ekirina obulamu ekyewalula, amazzi kye gaazaala mu ngeri zaabyo, na buli ekibuuka ekirina ebyoya mu ngeri yaakyo: Katonda n'alaba nga birungi.
22 Katonda n'abiwa omukisa n'ayongera nti, Mweyongere mwale, mujjuze amazzi ag'omu nnyanja, era n'ebibuuka byeyongere mu nsi.
23 Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okutaano.
24 Katonda n'ayogera nti, Ensi ereete ekirina obulamu mu ngeri yaakyo, ente, n'ekyewalula, n'ensolo y'ensi mu ngeri yaayo: bwe kityo bwe kyali.
25 Katonda n'akola ensolo y'ensi mu ngeri yaayo, n'ente mu ngeri yaazo, na buli ekyewalula ku nsi mu ngeri yaakyo: Katonda n'alaba nga birungi.
26 Katonda n'ayogera nti, Tukole omuntu mu ngeri yaffe, mu kifaananyi kyaffe: bafugenga eby'omu nnyanja n'ebibuuka waggulu, n'ente, n'ensi yonna, na buli ekyewalula ku nsi.
27 Katonda n'atonda omuntu mu ngeri ye, mu ngeri ya Katonda mwe yamutondera; omusajja n'omukazi bwe yabatonda.
28 Katonda n'abawa omukisa, Katonda n'abagamba nti, Mweyongerenga, mwalenga, mujjuze ensi, mugirye: mufugenga eby'omu nnyanja, n'ebibuuka waggulu, na buli ekirina obulamu ekitambula ku nsi.
29 Katonda n'ayogera nti, Laba, mbawadde omuddo gwonna ogubala ensigo, oguli ku nsi yonna, na buli muti ogulimu, ekibala ky'omuti ogubala ensigo eri mmwe; gunaabanga mmere.
30 n'eri buli ensolo ey'oku nsi, na buli ekibuuka waggulu, na buli ekyewalula ku nsi, ekirimu omukka omulamu, ngiwadde omuddo gwonna omubisi okubeeranga emmere: bwe kityo bwe kyali.
31 Katonda n'alaba buli ky'akoze; era, laba, kirungi nnyo. Ne buba akawungeezi ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'omukaaga.