Ekyabalamuzi

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21

0:00
0:00

Essuula 21

Era abasajja ba Isiraeri baali balayidde mu Mizupa nga boogera nti Tewabanga ku ffe alimuwa Benyamini omuwala we okumuwasa.
2 Abantu ne bajja e Beseri, ne batuula eyo okutuusa akawungeezi mu maaso ga Katonda, ne bayimusa amaloboozi gaabwe, ne bakaaba nnyo amaziga.
3 Ne boogera nti Ai Mukama Katonda wa Isiraeri, kiki ekireese kino mu Isiraeri, leero ekika kimu okubula mu Isiraeri?
4 Awo olwatuuka enkya abantu ne bagolokoka mu makya, ne bazimba eyo ekyoto, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe.
5 Abaana ba Isiraeri ne boogera nti Aluwa mu bika byonna ebya Isiraeri atayambuka eri ekkuŋŋaaniro eri Mukama? Kubanga baali balayidde ekirayiro ekikulu ku oyo atayambuka eri Mukama e Mizupa nga boogera nti Talirema kuttibwa:
6 Abaana ba Isiraeri ne bejjusa olwa Benyamini muganda waabwe ne boogera nti Waliwo ekika kimu leero ekyazikirizibwa mu Isiraeri.
7 Tulibalabira tutya abakazi abo abasigaddewo, kubanga twalayira Mukama obutabawanga ku bawala baffe okubawasa?
8 Ne boogera nti Kika ki ku bika bya Isiraeri ekitayambuka eri Mukama e Mizupa? Era, laba, mu Yabesugireyaadi temwava muntu okugenda mu lusiisira eri ekkuŋŋaaniro.
9 Kubanga abantu bwe baabalibwa, laba, nga tewaliiwo ku abo abaatuula mu Yabesugireyaadi.
10 Ekibiina ne kitumayo abasajja kakumi mu enkumi bbiri ku abo abasinga obuzira, ne babalagira nga boogera nti Mugende mutte n'obwogi bw'ekitala abatuula mu Yabesugireyaadi, wamu n'abakazi n'abaana abato.
11 Na kino kye kigambo kye munaakola; munaazikiririza ddala buli musajja na buli mukazi eyali asuze n'omusajja.
12 Ne balaba mu abo abatuula mu Yabesugireyaadi abawala abato bina; abatamanyanga musajja okusula naye: ne babaleeta mu lusiisira e Siiro, ekiri mu nsi ya Kanani.
13 Awo ekibiina kyonna ne batuma ne boogera n'abaana ba Benyamini abaali mu jjinja lya Limoni, ne babalangira emirembe.
14 Awo Benyamini n'akomawo mu biro ebyo; ne babawa abakazi be baali bawonyezza okubatta ku bakazi ab'e Yabesugireyaadi: era naye ne batabamala bwe batyo.
15 Abantu ne bejjusa olwa Benyamini, kubanga Mukama yali awagudde ekituli mu bika bya Isiraeri:
16 Awo abakadde b'ekibiina ne boogera nti Tulirabira tutya abakazi abo abasigaddewo; kubanga abakazi bazikirizibbwa mu Benyamini?
17 Ne boogera nti Kigwana okubaawo obusika eri abo abaawona ku Benyamini, ekika kireme okusangulibwa mu Isiraeri.
18 Naye tetuyinza kubawa ku bawala baffe okubawasa: kubanga abaana ba Isiraeri baali balayidde nga boogera nti Akolimirwe oyo awa Benyamini omukazi okuwasa.
19 Ne boogera nti Laba, waliwo embaga ya Mukama buli mwaka mu Siiro, ekiri ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'e Beseri, ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'oluguudo oluva e Beseri olwambuka e Sekemu; ne ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'e Lebona.
20 Awo ne balagira abaana ba Benyamini nga boogera nti Mugende muteegere mu nsuku z'emizabbibu;
21 mutunule, era, laba, abawala ab'e Siiro bwe balifuluma okuzina mu mizannyo gyaffe, ne mulyoka muva mu nsuku, mukwate buli muntu mukazi we ku bawala ab'e Siiro, mugende mu nsi ya Benyamini.
22 Awo olulituuka bakitaabwe oba baganda baabwe bwe balijja okutuwoleza, ne tubagamba nti Mubatuwe lwa kisa: kubanga tetwabanyagira buli muntu mukazi we mu ntalo: so temwababawa; kaakano mwandizzizza omusango.
23 Awo abaana ba Benyamini ne bakola bwe batyo, ne beenyagira abakazi ku abo abaazina, ng'omuwendo gwabwe bwe gwali abo be baanyaga: ne baddayo mu busika bwabwe, ne bazimba ebibuga, ne batuula omwo.
24 Awo abaana ba Isiraeri ne bavaayo mu biro ebyo, buli muntu eri ekika kye n'eri ennyumba ye, ne bavaayo ne bagenda buli muntu mu busika bwe.
25 Mu nnaku ezo nga tewali kabaka mu Isiraeri: buli muntu yakolanga ekyabanga mu maaso ge ye ekirungi.