1 Bassekabaka

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22

0:00
0:00

Essuula 14

Awo mu biro ebyo Abiya mutabani wa Yerobowaamu n'alwala.
2 Yerobowaamu n'agamba mukazi we nti Golokoka, nkwegayiridde weefuule oleme okumanyibwa nga ggwe mukazi wa Yerobowaamu: ogende e Siiro; laba, Akiya nnabbi ali eyo eyanjogerako nga ndiba kabaka w'abantu bano.
3 Era twala wamu naawe emigaati kkumi n'egy'empewere n'ensumbi ey'omubisi gw'enjuki, ogende gy'ali: ye alikubuulira omwana bw'aliba.
4 Awo muka Yerobowaamu n'akola bw'atyo, n'agolokoka n'agenda e Siiro n'ajja mu nnyumba ya Akiya. Era Akiya teyayinza kulaba; kubanga amaaso ge gaali gayimbadde olw'obukadde bwe.
5 Awo Mukama n'agamba Akiya nti Laba, muka Yerobowaamu ajja okukubuuza ebya mutabani we; kubanga alwadde: bw'oti bw'oti bw'onoomugamba: kubanga olunaatuuka bw'anaayingira, aneefuula okuba omukazi omulala.
6 Awo olwatuuka Akiya bwe yawulira enswagiro z'ebigere bye ng'ayingira mu luggi, n'ayogera nti Yingira, ggwe muka Yerobowaamu; lwaki okwefuula okuba omulala? kubanga ntumiddwa gy'oli n'ebigambo ebizito.
7 Genda obuulire Yerobowaamu nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Kubanga nakugulumiza nga nkuggya mu bantu, ne nkufuula omukulu w'abantu bange Isiraeri,
8 ne njuza mu bwakabaka nga mbuggya ku nnyumba ya Dawudi ne mbukuwa ggwe: era naye tobadde ng'omuddu wange Dawudi eyakwatanga ebiragiro byange era eyangoberera n'omutima gwe gwonna okukola ekyo kyokka ekyali mu maaso gange ekirungi;
9 naye okoze ekibi okusinga bonna abaakusooka n'ogenda ne weekolera bakatonda abalala n'ebifaananyi ebisaanuuse okunsunguwaza, n'onsuula ennyuma w'amabega go:
10 kale, laba, kyendiva ndeeta ekibi ku nnyumba ya Yerobowaamu era ndimalawo buli mwana ow'obulenzi eri Yerobowaamu, asibiddwa era n'atasibiddwa mu Isiraeri, era ndyerera ddala ennyumba ya Yerobowaamu ng'omuntu bw'ayera obusa n'okuggwaawo ne buggwaawo bwonna.
11 Owa Yerobowaamu anaafiiranga mu kibuga embwa zinaamulyanga; n'oyo anaafiiranga ku ttale ennyonyi ez'omu bbanga zinaamulyanga: kubanga Mukama akyogedde.
12 Kale golokoka ogende mu nnyumba yo: ebigere byo bwe binaayingira mu kibuga, omwana anaafa.
13 Kale Isiraeri yenna balimukungubagira ne bamuziika; kubanga ku ba Yerobowaamu oyo yekka ye alituuka mu ntaana: kubanga mu ye mulabise ekigambo ekirungi eri Mukama Katonda wa Isiraeri mu nnyumba ya Yerobowaamu.
14 Era nate Mukama alyeyimusiza kabaka wa Isiraeri alimalawo ennyumba ya Yerobowaamu ku lunaku olwo: naye njogedde ntya? kaakano kati.
15 Kubanga Mukama alikuba Isiraeri ng'ekitoogo bwe kinyeenyezebwa mu mazzi; era alisimbula Isiraeri okubaggya mu nsi eno ennungi gye yawa bajjajjaabwe, era alibasaasaanyiza emitala w'Omugga; kubanga bakoze Baaseri baabwe, nga basunguwaza Mukama.
16 Era aliwaayo Isiraeri olw'ebibi bya Yerobowaamu bye yayonoona era bye yayonoonyesa Isiraeri.
17 Awo muka Yerobowaamu n'agolokoka n'agenda n'ajja e Tiruza: awo bwe yali ng'ajja ku mulyango gw'ennyumba, omwana n'afa.
18 Isiraeri yenna ne bamuziika ne bamukungubagira; ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera n'omukono gw'omuddu we Akiya nnabbi.
19 N'ebikolwa ebirala byonna ebya Yerobowaamu bwe yalwana era bwe yafuga, laba, byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
20 N'ennaku Yerobowaamu ze yafugira zaali emyaka abiri mu ebiri: ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, Nadabu mutabani we n'afuga mu kifo kye.
21 Awo Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani n'afuga mu Yuda. Lekobowaamu yali yaakamaze emyaka ana mu gumu bwe yalya obwakabaka, n'afugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri okuteeka omwo erinnya lye: n'erinnya lya nnyina lyali Naama Omwamoni.
22 Yuda n'akola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi; ne bamukwasa obuggya olw'ebibi byabwe bye baakola okusinga byonna bajjajjaabwe bye baakola.
23 Kubanga beezimbira nabo ebifo ebigulumivu nabo n'empagi ne Baaseri ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omubisi;
24 era waaliwo n'abaalyanga ebisiyaga mu nsi: ne bakola ng'eby'emizizo byonna bwe byali eby'amawanga Mukama ge yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
25 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okutaano ogwa kabaka Lekobowaamu Sisaki kabaka w'e Misiri n'ayambuka okulumba Yerusaalemi:
26 n'aggyayo eby'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka; yatwalira ddala byonna: n'aggyayo engabo zonna eza zaabu Sulemaani ze yali akoze.
27 Awo kabaka Lekobowaamu n'akola engabo za bikomo okudda mu kifo kyazo, n'aziteresa mu mikono gy'abakulu b'ambabowa abaakuumanga oluggi lw'ennyumba ya kabaka.
28 Awo olwatuuka kabaka buli lwe yayingiranga mu nnyumba ya Mukama, abambowa ne bazambalanga ne bazizza mu nju ey'abambowa.
29 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Lekobowaamu ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda?
30 Era waabangawo entalo eri Lekobowaamu ne Yerobowaamu ennaku zonna.
31 Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajiajjaabe mu kibuga kya Dawudi: ne nnyina erinnya lye lyali Naama Omwamoni. Abiyaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye.