Ezera

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10

0:00
0:00

Essuula 8

Era bano gye mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe, era kuno kwe kuzaalibwa kw'abo abaayambuka nange okuva e Babulooni ku mirembe gya Alutagizerugizi kabaka.
2 Ku batabani ba Finekaasi, Gerusomu: ku batabani ba Isamali, Danyeri: ku batabani ba Dawudi, Kattusi.
3 Ku batabani ba Sekaniya; ku batabani ba Palosi, Zekkaliya; era wamu naye ne wabalibwa ng'okuzaalibwa kw'abasajja bwe kwali, kikumi mu ataano.
4 Ku batabani ba Pakasumowaabu, Erwenayi mutabani wa Zerakiya; era wamu naye abasajja ebikumi bibiri.
5 Ku batabani ba Sekaniya, mutabani wa Yakazyeri; era wamu naye abasajja ebikumi bisatu.
6 Ne ku batabani ba Adini, Ebedi mutabani wa Yonasaani; era wamu naye abasajja amakumi ataano.
7 Ne ku batabani ba Eramu, Yesaya mutabani wa Asaliya, era awamu naye absajja nsanvu.
8 Ne ku batabani ba Sefatiya, Zebadiya mutabani wa Mikayiri; era wamu naye abasajja kinaana.
9 Ku batabani ba Yowaabu, Obadiya mutabani wa Yekyeri; era wamu naye abasajja ebikumi bibiri mu kkumi mu munaana.
10 Ne ku batabani ba Seromisi, mutabani wa Yosifiya; era wamu naye abasajja kikumi mu nkaaga.
11 Ne ku batabani ba Bebayi, Zekkaliya mutabani wa Bebayi; era wamu naye abasajja amakumi abiri mu munaana.
12 Ne ku batabani ba Azugadi, Yokanani mutabani wa Kakkatani; era wamu naye abasajja kikumi mu kkumi.
13 Ne ku batabani ba Adonikamu ab'oluvannyuma; era gano ge mannya gaabwe, Erifereti, Yeweri, ne Semaaya, era wamu nabo abasajja nkaaga.
14 Ne ku batabani ba Biguvayi, Usayi ne Zabbudi; era wamu nabo abasajja nsanvu.
15 Ne mbakuŋŋaanyiza ku mugga ogugenda e Yakava; ne tusiisira ne tumalayo ennaku ssatu: ne nneetegereza abantu ne bakabona, ne ssirabayo n'omu ku batabani ba Leevi.
16 Awo ne ntumya Eryeza, Alyeri, Semaaya, ne Erunasani, ne Yalibu, ne Erunasani, ne Nasani, ne Zekkaliya, ne Mesullamu, abasajja abakulu: era ne Yoyalibu ne Erunasani, abayigiriza.
17 Ne mbatuma okugenda eri Iddo, omukulu w'ekifo Kasifiya; ne mbabuulira bye baba bagamba Iddo ne baganda be Abanesinimu, mu kifo ekyo Kasifiya, baleete gye tuli abaweereza ab'omu nnyumba ya Katonda waffe.
18 Awo olw'omukono omulungi ogwa Katonda waffe ogwali ku ffe ne batuleetera omusajja ow'amagezi, ow'oku batabani ba Makuli, mutabani wa Leevi, mutabani wa Isiraeri; ne Serebiya ne batabani be ne baganda be, kkumi na munaana;
19 ne Kasabiya, era wamu naye Yesaya ow'oku batabani ba Merali, baganda be ne batabani baabwe, amakumi abiri;
20 ne ku Banesinimu, Dawudi n'abakulu be baawaayo olw'okuweereza Abaleevi, Abanesinimu ebikumi bibiri mu abiri: bonna ne baatulwa amannya gaabwe.
21 Awo ne nnangirira okusiiba eyo, ku mugga Akava, twetoowaze mu maaso ga Katonda waffe, okunoonya gy'ali ekkubo eggolokofu, eryaffe, era ery'abaana baffe abato, era ery'ebintu byaffe byonna.
22 Kubanga ensonyi zankwata okusaba kabaka ekitongole ky'abaserikale n'abeebagala embalaasi okutuyamba eri abalabe mu kkubo: kubanga twali twogedde ne kabaka nti Omukono gwa Katonda waffe guba ku abo bonna abamunoonya olw'obulungi; naye obuyinza bwe n'obusungu bwe buli eri abo bonna abamuleka.
23 Awo ne tusiiba ne tusaba Katonda ekigambo kino: ne tumwegayirira.
24 Awo ne njawula kkumi na babiri ku bakulu ba bakabona, Serebiya, Kasabiya, n'ekkumi ku baganda baabwe wamu nabo,
25 ne mbagerera effeeza n'ezzaabu n'ebintu, kye kiweebwayo olw'ennyumba ya Katonda waffe, kabaka n'abateesa naye n'abakungu be ne Isiraeri yenna abaali eyo bye baawaayo:
26 nze ne ngerera ddala mu mukono gwabwe talanta eza ffeeza lukaaga mu ataano, n'ebintu ebya ffeeza talanta kikumi; zaabu talanta kikumi;
27 n'ebibya ebya zaabu amakumi abiri, ebya daliki lukumi; n'ebintu bibiri eby'ebikomo ebirungi ebizigule, eby'omuwendo nga zaabu.
28 Ne mbagamba nti Muli batukuvu eri Mukama, n'ebintu bitukuvu; ne ffeeza ne zaabu kye kiweebwayo ku bwammwe eri Mukama wa bajjajjammwe.
29 Mutunule mubikuume okutuusa lwe mulibipima mu maaso g'abakulu ba bakabona n'Abaleevi n'abakulu b'ennyumba za bakitaabwe eza Isiraeri mu Yerusaalemi mu bisenge eby'omu nnyumba ya Mukama.
30 Awo bakabona n'Abaleevi ne batoola ffeeza ne zaabu n'ebintu ng'obuzito bwabyo bwe bwali okubireeta e Yerusaalemi mu nnyumba ya Katonda waffe.
31 Awo ne tuvaayo ku mugga Akava ku lunaku olw'ekkumi n'ebbiri olw'omwezi ogw'olubereberye okugenda e Yerusaalemi: n'omukono gwa Katonda waffe gwali ku ffe, n'atuwonya mu mukono gw'omulabe n'omuteezi mu kkubo.
32 Ne tujja e Yerusaalemi ne tumalayo ennaku ssatu.
33 Awo ku lunaku olw'okuna ne bapimira ffeeza ne zaabu n'ebintu mu nnyumba ya Katonda waffe okubikwasa mu mukono gwa Meremoosi mutabani wa Uliya kabona; era wamu naye waaliwo Ereyazaali mutabani wa Finekaasi; era wamu nabo waaliwo Yozabadi mutabani wa Yeswa, ne Nowadiya mutabani wa Binnuyi, Abaleevi;
34 byonna ng'omuwendo gwabyo era ng'obuzito bwabyo bwe byali; obuzito bwonna ne buwandiikibwa mu biro ebyo.
35 Abaana b'obusibe abaakomawo ewaabwe gye baagoberwa ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda wa Isiraeri, ente kkumi na bbiri olwa Isiraeri yenna, endiga ennume kyenda mu mukaaga, abaana b'endiga nsanvu mu musanvu, embuzi ennume kkumi na bbiri okuba ekiweebwayo olw'ekibi: ezo zonna ne ziba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.
36 Ne bawa abaamasaza ebiragiro bya kabaka n'abo abafuga emitala w'omugga: ne bayamba abantu n'ennyumba ya Katonda.