Eseza

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10

0:00
0:00

Essuula 1

Awo olwatuuka ku mirembe gya Akaswero (ye Akaswero oyo eyafuga okuva e Buyindi okutuuka e Buwesiyopya, amasaza kikumi mu amakumi abiri mu musanvu:)
2 awo ku mirembe egyo, kabaka Akaswero bwe yatuula ku ntebe y'obwakabaka bwe eyali mu lubiri lw’e Susani,
3 mu mwaka ogw'okusatu ogw'okufuga kwe n'afumbira embaga abakungu be bonna n'abaddu be; obuyinza bw'e Buperusi n'e Bumeedi, abakungu n'abakulu b'amasaza nga bali mu maaso ge:
4 n'ayoleseza ennaku nnyingi obugagga obw'obwakabaka bwe obw'ekitiibwa n'ettendo ery'obukulu bwe obutasingika, ennaku kikumi mu kinaana.
5 Awo ennaku ezo bwe zaatuukirira, kabaka n'afumbira embaga abantu bonna abaali bali awo mu lubiri lw'e Susani, abakulu n'abato, ennaku musanvu, mu luggya olw'oku lusuku olw'olubiri lwa kabaka;
6 waaliwo ebitimbe eby'engoye olweru n'olwa nnawandagala n'olwa kaniki, nga bisibiddwa n'emigwa egya bafuta ennungi n'olw'effulungu n'empeta eza ffeeza n'empagi ez'amayinja aganyirira: ebitanda byali bya zaabu ne ffeeza ku mayinja amaaliire aganyirira, amamyufu n'ameeru n'aga kyenvu n'amaddugavu.
7 Ne babanywesa mu bintu ebya zaabu, (ebintu nga tebifaanana byokka na byokka,) n'omwenge ogwa kabaka mungi nnyo, ng'obugabi bwa kabaka bwe bwali.
8 N'okunywa ne kuba ng'amateeka bwe gali; nga tewali ayinza okuwaliriza: kubanga kabaka bwe yali alagidde bw'atyo abaami bonna ab'omu nnyumba ye bakolenga buli muntu nga bw'ayagala:
9 Ne Vasuti kaddulubaale n'afumbira abakazi embaga mu nnyumba ya kabaka, eya kabaka Akaswero:
10 Awo ku lunaku olw'omusanvu, omwoyo gwa kabaka bwe gwasanyuka olw'omwenge, n'alagira Mekumani ne Bizusa ne Kalubona ne Bigusa ne Abagusa ne Zesali ne Kalukasi, abalaawe musanvu abaaweererezanga mu maaso ga Akaswero kabaka,
11 okuleeta Vasuti kaddulubaale mu maaso ga kabaka ng'atikidde engule ey'obwakabaka okwolesa amawanga n'abakungu obulungi bwe kubanga yali mulungi okutunuulira:
12 Naye kaddulubaale Vasuti n'agaana okujja olw'ekiragiro kya kabaka bwe yamulagiriza abalaawe: kabaka kyeyava asunguwala ennyo, ekiruyi kye ne kibuubuuka mu ye.
13 Awo kabaka n'agamba abagezi abaategeera ebiro, (kubanga eyo ye yali empisa ya kabaka eri bonna abaamanya amateeka n'emisango;
14 ne Kalusena ne Sesali ne Adumasa ne Talusiisi ne Melesi ne Malusema ne Memukani, abakungu musanvu ab'e Buperusi n'e Bumeedi; abaalabanga amaaso ga kabaka era abaatuulanga ku ntebe ez'oku mwanjo mu bwakabaka, abo be baamuddirira:) nti
15 Tunaakola tutya kaddulubaale Vasuti ng'amateeka bwe gali, kubanga takoze ekyo kabaka Akaswero ky'amulagirizza abalaawe?
16 Awo Memukani n'addamu mu maaso ga kabaka n'abakungu nti Vasuti kaddulubaale tayonoonye kabaka yekka era naye n'abakungu bonna n'amawanga gonna agali mu masaza gonna aga kabaka Akaswero.
17 Kubanga ekikolwa kino ekya kaddulubaale kiryatiikirira mu bakazi bonna okunyoomesanga babbaabwe mu maaso gaabwe bwe kinaabuulirwanga nti Kabaka Akaswero yalagira Vasuti kaddulubaale okuleetebwa mu maaso ge naye n'atajja.
18 Awo ku lunaku luno abakyala ab’e Buperusi n'e Bumeedi abawulidde ekikolwa kya kaddulubaale banaagamba bwe batyo abakungu bonna aba kabaka: Kale walibaawo okunyooma kungi n'obusungu.
19 Kabaka bw'anaasiima bw'atyo, alaalike ekiragiro kya kabaka, era kiwandiikibwe mu mateeka aga Abaperusi n'Abameedi kireme okuwaanyisibwa, Vasuti aleme okujja nate mu maaso ga kabaka Akaswero; era n'obukulu bwe obwa kaddulubaale kabaka abuwe omulala amusinga obulungi.
20 Awo bwe banaalaalika etteeka lya kabaka ly'anaateeka okubunya obwakabaka bwe bwonna, (kubanga bunene,) kale abakazi bonna banassangamu ekitiibwa babbaabwe, abakulu n'abato.
21 Ekigambo ekyo ne kisanyusa kabaka n'abalangira; kabaka n'akola ng'ekigambo kya Memukani bwe kyali:
22 kubanga yaweereza ebbaluwa mu masaza gonna aga kabaka; mu buli ssaza ng'empandiika yaalyo bwe yali, na buli ggwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwali, buli musajja afugenga mu nnyumba ye ye, era akiraalike ng'olulimi lw'abantu be bwe lwali.