0:00
0:00

Essuula 1

Waaliwo omusajja mu nsi Uzzi, erinnya lye Yobu; era omusajja oyo yatuukirira era nga wa mazima, era ng'atya Katonda ne yeewalanga obubi.
2 N'azaalirwa abaana ab'obulenzi musanvu n'ab'obuwala basatu.
3 Era ebintu bye byali endiga kasanvu n'eŋŋamira enkumi ssatu n'emigogo gy'ente ebikumi bitaano n'endogoyi enkazi ebikumi bitaano n'abaddu bangi nnyo nnyini; omusajja oyo n'aba mukulu okusinga abaana bonna ab'ebuvanjuba.
4 Batabani be ne bagendanga ne bafumba embaga mu nnyumba ya buli muntu ku lunaku lwe; ne batumanga ne bayitanga bannyinaabwe abasatu okulya n'okunywa nabo.
5 Awo olwatuuka ennaku z'embaga yaabwe bwe zaayitawo, Yobu n'atumanga n'abatukuzanga n'agolokokanga enkya mu makya, n'awangayo ebiweebwayo ebyokebwa ng'omuwendo gwabwe bonna bwe gwali: kubanga Yobu yayogera nti Mpozzi batabani bange boonoonye, ne beegaana Katonda mu mitima gyabwe. Bw'atyo Yobu bwe yakolanga olutata.
6 Awo olunaku lwali lumu abaana ba Katonda ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye n'ajjira mu bo.
7 Mukama n'agamba Setaani nti Ova wa? Awo, Setaani n'addamu Mukama n'ayogera nti Nva kuddiŋŋana mu nsi n'okutambulatambula omwo eruuyi n'eruuyi.
8 Mukama n’agamba Setaani nti Olowoozezza ku muddu wange Yobu? kubanga tewali amufaanana mu nsi, omusajja eyatuukirira era ow'amazima, atya Katonda ne yeewala obubi:
9 Awo Setaani n'addamu Mukama n'ayogera nti Yobu atiira bwereere Katonda?
10 Tomukomedde lukomera okumwetooloola ye n'ennyumba ye ne byonna by'alina, enjuyi zonna? owadde omukisa omulimu gw'engalo ze, n'ebintu bye byaze mu nsi:
11 Naye kaakano golola omukono gwo okome ku byonna by'alina, kale alikwegaanira mu maaso go.
12 Mukama n'agamba Setaani nti Laba, byonna by'alina biri mu mukono gwo; kyokka ku ye yennyini togolola mukono gwo, Awo Setaani n'ava awali Mukama.
13 Awo olunaku lwali lumu batabani be ne bawala be bwe, baali nga baliira era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu,
14 omubaka n'ajja, eri Yobu n'ayogera nti Ente zibadde nga zirima, n'endogoyi nga ziziriraanye nga zirya;
15 Abaseba ne bazigwako ne bazitwala; weewaawo, basse abaddu n'obwogi bw'ekitala; nange nzekka nze mponyeewo omuntu omu okukubuulira.
16 Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja naye n'ayogera nti omuliro gwa Katonda gugudde nga guva mu ggulu, era gwokezza endiga n'abaddu ne gubazikiriza; nange nzekka nze mponyeewo omuntu omu okukubuulira.
17 Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja naye n'ayogera nti Abakaludaaya beefudde ebibiina bisatu, ne bagwa ku ŋŋamira, era bazitutte, weewaawo, era basse abaddu n'obwogi bw'ekitala; nange nzekka nze mponyeewo omuntu omu okukubuulira:
18 Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja naye n'ayogera nti Batabani bo ne bawala bo baali nga baliira era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu:
19 kale, laba, embuyaga nnyingi ne zijja nga ziva mu ddungu, ne zikuba ensonda ennya ez'ennyumba, n'egwa ku balenzi, era bafudde; nange nzekka nze mponyeewo omuntu omu okukubuulira:
20 Awo Yobu n'agolokoka n'ayuza omunagiro gwe n'amwa omutwe n'avuunama ku ttaka n'asinza;
21 n'ayogera nti Nava mu lubuto lwa mmange nga ndi mwereere, era ndiddayo nga ndi mwereere: Mukama ye yawa, era Mukama ye aggyawo; erinnya lya Mukama lyebazibwe.
22 Mu ebyo byonna Yobu teyayonoonanga, so teyavuma Katonda busirusiru.