Engero

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31

0:00
0:00

Essuula 16

Okutegeka omutima kugwanira muntu: Naye okwanukula kw'olulimi kuva eri Mukama.
2 Amakubo gonna ag'omuntu gaba malongoofu mu maaso ge ye: Naye Mukama apima emyoyo.
3 Emirimu gyo giterese Mukama, N'ebirowoozo byo binaanywezebwanga.
4 Mukama yakolera buli kintu omulimu gwakyo: Weewaawo, era n'ababi yabakolera olunaku olw'okulabirako ennaku.
5 Buli muntu alina omutima ogw'amalala wa muzizo eri Mukama: Omukono newakubadde nga gwegatta n'omukono, taliwona kubonerezebwa.
6 Okusaasira n'amazima bye birongoosa obutali butuukirivu: Era okutya Mukama kwe kuggya abantu mu bubi.
7 Amakubo ag'omuntu bwe gasanyusa Mukama, Atabaganya naye era n'abalabe be.
8 Akatono akaliko obutuukirivu Kakira amagoba mangi wamu n'ebitali bya nsonga.
9 Omutima gw'omuntu guteesa ekkubo lye: Naye Mukama ye aluŋŋamya ebigere bye.
10 Obulaguzi buba mu mimwa gya kabaka: Akamwa ke tekalisobya mu kusala omusango.
11 Ebigera n'eminzaani ebituufu biba bya Mukama: Ebipima byonna eby'omu nsawo mulimu gwe.
12 Okukola obubi kwa muzizo eri bakabaka: Kubanga obutuukirivu bwe bunyweza entebe.
13 Emimwa emituukirivu bakabaka gye basanyukira; Era baagala oyo ayogera eby'ensonga.
14 Obusungu bwa kabaka babaka ba kufa: Naye omuntu ow'amagezi alibukkakkanya.
15 Mu musana ogw'amaaso ga kabaka mwe muli obulamu; N'okuganza kwe kire kya mu ttoggo.
16 Okufuna amagezi nga kusinga nnyo okufuna zaabu! Weewaawo, okufuna okutegeera kulondebwa okukira ffeeza.
17 Olugendo olw'abagolokofu kuleka bubi: Akuuma ekkubo lye awonya emmeeme ye.
18 Amalala gakulembera okuzikirira, N'omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo.
19 Aba n'omwoyo ogwetoowaza wamu n'abaavu Akira agereka omunyago wamu n'ab'amalala.
20 Assaayo omwoyo eri ekigambo anaalabanga ebirungi: Era buli eyeesiga Mukama alina omukisa.
21 Alina omutima ogw'amagezi banaamuyitanga mutegeevu: N'obuwoomerevu bw'emimwa bwongera okuyiga.
22 Okutegeera luzzi lwa bulamu eri nnyini kwo: Naye abasirusiru obusirusiru bwabwe bwe bubabuulirira.
23 Omutima gw'ow'amagezi guyigiriza akamwa ke, Ne gwongera okuyiga ku mimwa gye.
24 Ebigambo ebisanyusa bisenge bya njuki, Biwoomera emmeeme, era bwe bulamu eri amagumba.
25 Waliwo ekkubo omuntu ly'ayita eddungi, Naye enkomerero yaalyo makubo ga kufa.
26 Omululu gw'omukozi gumukolera emirimu. Kubanga akamwa ke kamwegayirira.
27 Omuntu ataliiko ky'agasa agunja ettima: Era mu mimwa gye mubaamu omuliro ogusonsomola.
28 Omuntu omubambaavu asiga empaka: Era omulyolyomi akyayisa ab'omukwano ennyo.
29 Omuntu ow'ekyejo asendasenda munne, N'amutwala mu kkubo eritali ddungi.
30 Aziba amaaso, kwe kuteesa ebigambo eby'obubambaavu: Aluma emimwa atuukiriza obubi.
31 Omutwe oguliko envi ngule ya kitiibwa, Gunaalabikanga mu kkubo ery'obutuukirivu.
32 Alwawo okusunguwala asinga ab'amaanyi; N'afuga omwoyo gwe akira amenya ekibuga.
33 Akalulu kasuulibwa mu lugoye olw'omu kifuba; Naye okulagira kwako kwonna kuva eri Mukama.