Omubuulizi

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12

0:00
0:00

Essuula 8

Ani ali ng'omugezigezi? era ani amanyi ekigambo bwe kitegeezebwa? Amagezi g'omuntu ganyiriza amaaso ge, n'obukakanyavu bw'amaaso ge ne buwaanyisibwa.
2 Nkuweerera ebigambo, nti Okwatanga ekiragiro kya kabaka, era kyova okola bw'otyo olw'ekirayiro kya Katonda:
3 Toyanguyirizanga kuva w'ali; tolemeranga mu kigambo ekibi: kubanga akola buli ky'ayagala.
4 Kubanga ekigambo kya kabaka kirina obuyinza; era ani ayinza okumugamba nti Okola ki?
5 Buli akwata ekiragiro talibaako kigambo kibi ky'alimanya; n'omutima gw'Omuntu omugezigezi gwawula ekiseera n'okuteesa:
6 kubanga buli kigambo ky'oyagala okukola kibaako ekiseera kyakyo n'okuteesa kwakyo; kubanga obuyinike bw'omuntu bumuzitoowerera nnyo:
7 kubanga tamanyi ekiribaawo: kubanga ani ayinza okumubuulira bwe kiriba?
8 Tewali muntu alina obuyinza ku mwoyo okuziyiza omwoyo; so talina buyinza ku lunaku olw'okufiiramu; so mu ntalo ezo temuli kusindikibwa: so n'obubi tebulimuwonya oyo abugoberera.
9 Ebyo byonna nabiraba, ne nzisaayo omutima gwange eri buli mulimu ogukolebwa wansi w'enjuba: wabaawo ekiseera omuntu omu bw'abeera n'obuyinza ku mulala olw'okumukola obubi.
10 Era nate nalaba ababi nga babaziika, ne bajja eri entaana; n'abo abaakolanga eby'ensonga ne bagenda nga bava mu kifo ekitukuvu, ne beerabirwa mu kibuga: era n'ekyo butaliimu.
11 Kubanga omusango ogusalirwa ekikolwa ekibi tebagutuukiriza mangu, omutima gw'abaana b'abantu kyeguva gukakasibwa ddala mu bo okukola obubi.
12 Alina ebibi newakubadde ng'akola obubi emirundi kikumi n'awangaala nnyo, era naye mazima mmanyi ng'abo abatya Katonda banaabanga bulungi, abatya mu masso ge:
13 naye omubi taabenga bulungi, so taliwangaala nnaku nnyingi eziri ng'ekisiikirize; kubanga tatya mu maaso ga Katonda.
14 Waliwo obutaliimu obukolebwa ku nsi; nga waliwo abantu abatuukirivu abagwibwako ebiriŋŋanga omulimu ogw'ababi; naye waliwo abantu ababi abagwibwako ebiriŋŋanga omulimu ogw'abatuukirivu: ne njogera nga n'ekyo butaliimu.
15 Awo ne nsiima ebinyumu, kubanga omuntu talina kintu kyonna ekisinga obulungi wansi w'enjuba wabula okulyanga n'okunywanga n'okusanyukanga: kubanga ebyo binaabeeranga naye mu kutegana kwe ennaku zonna ez'obulamu bwe Katonda bw'amuwadde wansi w'enjuba.
16 Bwe nnassaayo omutima gwange okumanya amagezi, n'okulaba emirimu egikolebwa ku nsi: (kubanga waliwo era atafuna tulo mu maaso ge emisana n'ekiro:)
17 awo ne ndaba omulimu gwonna ogwa Katonda; omuntu nga tayinza kukebera mulimu ogukolebwa wansi w'enjuba: kubanga omuntu ne bw'ategana atya okugukebera, naye taligulaba; weewaawo, nate omugezigezi ne bw'alowooza okugumanya, nate taliyinza kugulaba.