Yeremiya

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52

0:00
0:00

Essuula 23

Zisanze abasumba abazikiriza abasaasaanya endiga ez'omu ddundiro lyange! bw'ayogera Mukama.
2 Mukama Katonda wa Isiraeri kyava ayogera bw'ati eri abasumba abaliisa abantu bange nti Musaasaanyizza ekisibo kyange ne mubagoba, so temwabalambula; laba, ndireeta ku mmwe obubi obw'ebikolwa byammwe, bw'ayogera Mukama.
3 Era ndikuŋŋaanya abafisseewo ku kisibo kyange okubaggya mu nsi zonna gye nnabagobera, ne mbakomyawo mu bisibo byabwe; era balyala balyeyongera.
4 Era ndissaawo abasumba ku bo abalibaliisa: kale nga tebakyatya nate so tebalikeŋŋentererwa, so tewaliba balibula, bw'ayogera Mukama.
5 Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndirosa eri Dawudi Ettabi ettuukirivu, era alifuga nga ye kabaka, era alikola eby'amagezi, era alituukiriza emisango n'eby'ensonga mu nsi.
6 Mu mirembe gye Yuda alirokoka ne Isiraeri alibeera mirembe: era lino lye linnya ye ly'alituumibwa nti Mukama bwe butuukirivu bwaffe.
7 Laba, ennaku kyeziva zijja, bw'ayogera Mukama, lwe batakyayogera nate nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri;
8 naye nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya ezzadde ery'ennyumba ya Isiraeri mu nsi ey'obukiika obwa kkono ne mu nsi zonna gye nnabagobera n'abalinnyisa n'abatwala; era balibeera mu nsi yaabwe bo.
9 Ebya bannabbi. Omutima gwange munda yange gumenyese, amagumba gange gonna gakankana; nninga omutamiivu, era ng'omuntu awanguddwa omwenge; ku lwa Mukama n'olw'ebigambo bye ebitukuvu.
10 Kubanga ensi ejjudde abenzi; kubanga ensi ekungubaga olw'okulayira; amalundiro ag'omu ddungu gakaze; n'amagenda gaabwe mabi, n'amaanyi gaabwe si malungi.
11 Kubanga nnabbi era ne kabona boonoonefu; weewaawo, mu nnyumba yange mwe nnalabira obubi bwabwe, bw'ayogera Mukama.
12 Amakubo gaabwe kyegaliva gabeera gye bali ng'obuseerezi mu kizikiza: balisindikibwa ne bagwa omwo: kubanga ndibaleetako obubi, gwe mwaka mwe balibonerezebwa, bw'ayogera Mukama.
13 Era ndabye obusirusiru ku bannabbi ab'e Samaliya; balagula ku lwa Baali ne bakyamya abantu bange Isiraeri.
14 Era ndabye ekigambo eky'ekivve ne ku bannabbi ab'e Yerusaalemi; benda era batambulira mu by'obulimba, ne banyweza emikono gy'abo abakola obubi, ne wataba akyuka okuleka obubi bwe: bonna bafuuse gye ndi nga Sodomu, n'abali omwo nga Ggomola.
15 Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati ebya bannabbi nti Laba, ndibaliisa obusinso, era ndibanywesa amazzi ag'omususa: kubanga mu bannabbi ab'e Yerusaalemi obwonoonefu mwe buvudde okubuna ensi yonna.
16 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Temuwuliranga bigambo bya bannabbi ababalagula; babayigiriza ebitaliiko kye bigasa: boogera okwolesebwa okuvudde mu mutima gwabwe bo, so okutavudde mu kamwa ka Mukama.
17 Bagamba olutata abo abannyooma nti Mukama ayogedde nti Muliba n'emirembe; na buli muntu atambulira mu bukakanyavu bw'omutima gwe ye bamugamba nti Tewaliba bubi obulibajjira.
18 Kubanga ani eyali ayimiridde Mukama w'ateeseza ebigambo, ategeere awulire ekigambo kye? ani eyali yeetegerezza ekigambo kyange n'akiwulira?
19 Laba, kibuyaga wa Mukama, kye kiruyi kye, afulumye, weewaawo, kibuyaga w'akazimu: aligwa ku mutwe gw'ababi.
20 Obusungu bwa Mukama tebulidda okutuusa lw'alimala okutuukiriza, okutuusa lw'alikomekkereza omutima gwe bye gumaliridde: mu nnaku ez'oluvannyuma mulikitegeerera ddala.
21 Saatuma bannabbi abo, naye ne baddukana mbiro: saayogera nabo, naye ne balagula.
22 Naye singa bayimirira mu kuteesa kwange, kale bandiwulizza abantu bange ebigambo byange, era bandibakyusizza okuleka ekkubo lyabwe ebbi n'obubi obw'ebikolwa byabwe.
23 Nze ndi Katonda ali okumpi, bw'ayogera Mukama, so siri Katonda ali ewala?
24 Waliwo ayinza okwekweka mu bifo eby'ekyama ne simulaba? bw'ayogera Mukama. Sijjula ggulu n'ensi? bw'ayogera Mukama.
25 Mpulidde bannabbi bye boogedde abayima mu linnya lyange okulagula eby'obulimba, nga boogera nti Ndoose, ndoose.
26 Ebyo birituusa wa okuba mu mutima gwa bannabbi abalagula eby'obulimba; bannabbi ab'obukyamu obw'omu mutima gwabwe bo?
27 Abalowooza okwerabiza abantu bange erinnya lyange olw'ebirooto byabwe bye babuulirana buli muntu munne, nga bajjajjaabwe bwe beerabira erinnya lyange olwa Baali.
28 Nnabbi aloota ekirooto abuulirenga ekirooto, n'oyo alina ekigambo kyange ayogerenga ekigambo kyange n'obwesigwa. Ebisusunku kiki okwenkana n'eŋŋaano? bw'ayogera Mukama.
29 Ekigambo kyange tekifaanana muliro? bw'ayogera Mukama; era tekifaanana nnyondo eyasaayasa olwazi?
30 Kale, laba, ndi mulabe wa bannabbi, bw'ayogera Mukama, ababba ebigambo byange buli muntu ku munne.
31 Laba, ndi mulabe wa bannabbi, bw'ayogera Mukama, abaddira ennimi zaabwe ne boogera nti Ayogera.
32 Laba, ndi mulabe w'abo abalagula ebirooto eby'obulimba bwabwe n'olw'okwenyumiriza kwabwe okutaliimu: naye saabatuma so saabalagira; so tebaligasa bantu bano n'akatono, bw'ayogera Mukama.
33 Awo abantu bano oba nnabbi bwe balikubuuza nga boogera nti Omugugu gwa Mukama kye ki? kale n'obagamba nti Mugugu ki! Ndibagoba, bw'ayogera Mukama.
34 Ne nnabbi ne kabona n'abantu abalyogera nti Omugugu gwa Mukama, ndibonereza omuntu oyo n'ennyumba ye.
35 Bwe muti bwe muligamba buli muntu munne na buli muntu muganda we nti Mukama azzeemu ki? era nti Mukama ayogedde ki?
36 N'omugugu gwa Mukama temukyagwatula nate: kubanga buli muntu ekigambo kye ye kye kiriba omugugu gwe; kubanga mwanyoola ebigambo bya Katonda omulamu, ebya Mukama w'eggye Katonda waffe.
37 Bw'oti bw'oba ogamba nnabbi nti Mukama akuzzeemu ki? era nti Mukama ayogedde ki?
38 Naye bwe mulyogera nti Omugugu gwa Mukama; Mukama kyava ayogera bw'ati nti Kubanga mwogera ekigambo ekyo, nti Omugugu gwa Mukama, nange mbatumidde nga njogera nti Temwogeranga nti Omugugu gwa Mukama;
39 kale, laba, ndibeerabirira ddala, era ndibasuula n'ekibuga kye nnabawa mmwe ne bajjajjammwe okuviira ddala we ndi:
40 era ndibaleetako ekivume ekitaliggwaawo n'ensonyi ezitalivaawo ezitalyerabirwa.