Yona

1 2 3 4

0:00
0:00

Essuula 2

Awo Yona n'asaba Mukama Katonda we mu lubuto olw'ekyennyanja.
2 N'ayogera nti Nakaabirira Mukama kubanga nalaba ennaku, N'anziramu; Mu lubuto lw'emagombe nakoowoola; N'owulira eddoboozi lyange.
3 Kubanga wansuula mu buziba, mu mutima ogw'ennyanja, Amataba ne ganneetooloola; Amayengo go gonna n'amasingiisira go gaayita waggulu ku nze.
4 Ne njogera nti Ngobeddwa mu maaso go; Naye naatunuulira nate yeekaalu yo entukuvu.
5 Amazzi gansaanikira, era okutuuka ku bulamu; Obuziba bwanneetooloola; Endago zambikka ku mutwe gwange.
6 Ne nzika ensozi we zisibuka; Ensi n'ebisiba byayo ne binzigalira emirembe gyonna; Naye oggyeemu obulamu bwange mu bunnya, ai Mukama, Katonda wange.
7 Emmeeme yange bwe yazirika mu nze, ne njijukira Mukama; N'okusaba kwange ne kutuuka gy'oli, mu yeekaalu yo entukuvu.
8 Abo abassaayo omwoyo ku by'obulimba ebitaliimu balekayo okusaasirwa kwabwe.
9 Naye nze naakuwa ssaddaaka yange n'eddoboozi ery'okwebaza; Naasasula obweyamo bwange. Obulokozi buva eri Mukama.
10 Awo Mukama n'alagira ekyennyanja ne kisesema Yona ku lukalu.