Nakumu

1 2 3

0:00
0:00

Essuula 3

Zikisanze ekibuga eky'omusaayi! kyonna kijjudde eby'obulimba n'eby'amaanyi; ekitaagulwataagulwa tekivaamu.
2 Okuvuuma kw'olukoba n'okuvuuma kwa bannamuziga abayiringita; n'embalaasi nga zinyirira n'amagaali nga gabuukabuuka;
3 n'abo abeebagala nga balinnya n'okumasamasa kw'ekitala n'okumyansa kw'amafumu; era abafu bangi n'emirambo entuumo nnene; so n'emirambo tegiriiko we gikoma; beesittala ku mirambo gyabwe.
4 Kubanga okwenda kw'omwenzi omulungi kungi nnyo nnyini, omukulu w'obulogo, atunda amawanga n'eby'obwenzi bye, era enda n'obulogo bwe.
5 Laba, ndi mulabe wo bw'ayogera Mukama w'eggye; nange ndibikkula ebirenge byo ku maaso go; nange ndirabisa amawanga obwereere bwo, n'obwakabaka ndibulabisa ensonyi zo.
6 Era ndikusuulira ebyenyinyalwa, era ndikuggyako ekitiibwa, era ndikussaawo okuba ekyerolerwa.
7 Awo olulituuka bonna abalikutunuulira balikudduka ne boogera nti Nineeve kyonoonese; ani anaakikubira ebiwoobe? ndinoonyeza wa abo abalikukubagiza?
8 Osinga Nowamoni obulungi, ekyakubibwa awali emigga, ekyalina amazzi amangi enjuyi zonna; era olukomera lwakyo nnyanja: n'ennyanja yabeera bbugwe waakyo?
9 Obuwesiyopya ne Misiri maanyi gaakyo so tegasingika; aba Puti n'Abalubi be baali ababeezi bo.
10 Naye kyatwalibwa, kyagenda mu buddu; n'abaana baakyo abato baatandaggirwa ku masaŋŋanzira g'enguudo zonna n'ab'ekitiibwa baabakubirako akalulu, n'abakulu be bonna baasibibwa mu njegere.
11 Era naawe olitamiira, olikwekebwa; era naawe olinoonya ekigo ku lw'abalabe.
12 Ebigo byo byonna biriba nga mitiini egibaako ettiini ezisooka okwengera: bwe zikunkumuka, zigwa mu kamwa k'omuli.
13 Laba, abantu bo wakati wo bakazi; enzigi eza wankaaki ez'ensi yo ziggulirwa ddala eri abalabe bo; omuliro ne gulya emikiikiro gyo.
14 Weesenere amazzi olw'okuzingizibwa, nyweza ebigo byo, linnya ku ttaka, samba ebbumba, nyweza ekyokero ky'amatoffaali.
15 Omuliro gulikwokera eyo; ekitala kirikuzikiriza, kirikulya nga kalusejjera; weeyaze nga kalusejjera, weeyaze ng'enzige.
16 Wayaza abasuubuzi bo okusinga emmunyeenye ez'omu ggulu obungi; kalusejjera koonoona ne kabuuka ne kagenda.
17 Ababo abatikkiddwa engule baali ng'enzige; abagabe bo ng'ebifuko by'amayanzi agabeera mu bisagazi ku lunaku lw'empewo, naye enjuba bw'evaayo zidduka, n'ekifo we zibeera tekimanyibwa.
18 Abasumba bo babongoota, ggwe kabaka w'e Bwasuli; abakulu bo ab'ekitiibwa bawummula; abantu bo basaasaanira ku nsozi, so tewali wa kubakuŋŋaanya.
19 Tewali kya kukkakkanya bulumi bwo; ekiwundu kyo kinene; bonna abawulira ebigambo byo bakukubira mu ngalo; kubanga muntu ki obubi bwo gwe butatuukako ennaku zonna?