Malaki

1 2 3 4

0:00
0:00

Essuula 4

Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng'ekikoomi; n'ab'amaala bonna n'abo bonna abakola obubi baliba bisasiro: awo olunaku olujja lulibookera ddala, bw'ayogera Mukama w'eggye, obutabalekerawo kikolo newakubadde ettabi.
2 Naye mmwe abatya erinnya lyange enjuba ey'obutuukirivu eribaviirayo ng'erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo, kale mulifuluma ne muligita ng'ennyana ez'omu kisibo.
3 Era mulirinnyirira ababi; kubanga baliba vvu wansi w'ebigere byammwe, ku lunaku lwe ndikolerako, bw'ayogera Mukama w'eggye.
4 Mujjukire amateeka ga Musa omuddu wange, ge nnamulagiririra ku Kolebu olwa Isiraeri yenna, ebiragiro n'emisango.
5 Laba, ndibatumira Eriya nnabbi olunaku olukulu olw'entiisa olwa Mukama nga terunnaba kutuuka.
6 Era alikyusa omutima gwa bakitaabwe eri abaana, n'omutima gw'abaana eri bakitaabwe; nneme okujja ne nkuba ensi n'ekikolimo.