Matayo

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28

0:00
0:00

Essuula 21

Bwe baasembera okumpi ne Yerusaalemi, ne batuuka e Besufaage, ku lusozi olwa Zeyituuni awo Yesu n'atuma abayigirizwa babiri,
2 n'abagamba nti Mugende mu mbuga ebali mu maaso, amangu ago munaalaba endogoyi ng'esibiddwa, n'omwana gwayo nayo; muzisumulule, muzindeetere.
3 Naye omuntu bw'anaabagamba ekigambo, munaagamba nti Mukama waffe ye azaagala; naye anaaziweereza mangu ago.
4 Kino kyabaawo, ekigambo kituukirire nnabbi kye yayogera, ng'agamba nti
5 Mubuulire muwala wa Sayuuni nti Laba, Kabaka wo ajja gy'oli. Omuteefu, nga yeebagadde endogoyi, N'akayana omwana gw'endogoyi.
6 Abayigirizwa ne bagenda, ne bakola nga Yesu bwe yabalagira
7 ne baleeta endogoyi, n'omwana gwayo, ne bazissaako engoye zaabwe; n'azituulako.
8 Abantu bangi ab'omu kibiina ne baaliira engoye zaabwe mu kkubo; abalala ne batema amatabi ku miti, ne bagaaliira mu kkubo.
9 Ebibiina ebyamukulembera, n'ebyo ebyava ennyuma ne byogerera waggulu, ne bigamba nti Ozaana eri omwana wa Dawudi: Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama: Ozaana waggulu mu ggulu.
10 Awo bwe yayingira mu Yerusaalemi, ekibuga kyonna ne kikankanyizibwa nga kigamba nti Ani ono?
11 Ebibiina ne bigamba nti Ono nnabbi, Yesu ava mu Nazaaleesi eky'e Ggaliraaya.
12 Yesu n'ayingira mu yeekaalu ya Katonda, n'agobera ebweru bonna abaali batundira mu yeekaalu. n'avuunika embaawo ez'abaali bawaanyisa effeeza, n'entebe ez'abaali batunda amayiba;
13 n'abagamba nti Kyawandiikibwa nti Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu: naye mmwe mugifuula mpuku ya banyazi.
14 Awo abazibe b'amaaso n'abalema ne bajja gy'ali mu yeekaalu: n'abawonya.
15 Naye bakabona abakulu n'abawandiisi bwe baalaba eby'amagero bye yakola, n'abaana abaayogerera waggulu mu yeekaalu nga bagamba nti Ozaana eri omwana wa Dawudi; ne banyiiga
16 ne bamugamba nti Owulira bano bwe bagamba? Yesu n'abagamba nti Mpulira: temusomangako nti Mu kamwa k'abaana abato n'abawere otuukirizza ettendo?
17 N'abaleka, n'afuluma mu kibuga, n'agenda e Bessaniya, n'asula eyo.
18 Awo enkya bwe yali ng'addayo ku kibuga, enjala n'emuluma.
19 N'alaba omutiini gumu ku mabbali g'ekkubo, n'agutuukako, n'asanga nga tekuli kintu, wabula amalagala ameereere; n'agugamba nti Tobalanga bibala emirembe n'emirembe. Amangu ago omutiini ne guwotoka.
20 Abayigirizwa bwe baalaba, ne beewuunya, ne bagamba nti Omutiini guwotose gutya amangu?
21 Yesu n'addamu n'abagamba nti Mazima mbagamba nti Bwe munaabanga n'okukkiriza, nga temubuusabuusa, temuukolenga kino kyokka eky'omutiini, naye bwe muligamba olusozi luno nti Situlibwa osuulibwe mu nnyanja, kirikolebwa.
22 Ne byonna byonna bye munaayagalanga nga musaba, nga mukkirizza, munaabiweebwanga.
23 N'ayingira mu yeekaalu, bakabona abakulu n'abakadde b'abantu ne bajja gy'ali ng'ayigiriza, ne bagamba nti Buyinza ki obukukoza bino? ani eyakuwa obuyinza buno?
24 Yesu n'addamu n'abagamba nti Nange ka mbabuuze ekigambo kimu, bwe munaakinzivuunula, era nange n'ababuulira obuyinza bwe buli obunkoza bino.
25 Okubatiza kwa Yokaana kwava wa? mu ggulu nantiki mu bantu? Ne beebuuzaganya bokka na bokka, ne bagamba nti Bwe tunaagamba nti Mu ggulu: anaatugamba nti Kale kiki ekyabalobera okumukkiriza?
26 Naye bwe tunaagamba nti Mu bantu; tutya abantu; kubanga bonna bamulowooza Yokaana nga nnabbi.
27 Ne baddamu Yesu ne bagamba nti Tetumanyi. Naye n'abagamba nti Era nange siibabuulire obuyinza bwe buli obunkoza bino.
28 Naye mulowooza mutya? Waaliwo omuntu eyalina abaana be babiri; n’ajja eri ow'olubereberye, n'agamba nti Omwana, genda okole emirimu leero mu lusuku olw'emizabbibu.
29 N'addamu n'agamba nti ŋŋaanyi: naye oluvannyuma ne yeenenya, n'agenda.
30 N'ajja eri ow'okubiri, n'amugamba bw'atyo. Naye n'addamu n'agamba nti Ka ŋŋende, ssebo: n'atagenda.
31 Ku abo bombi ani eyakola kitaawe ky'ayagala? Ne bagamba nti Ow'olubereberye. Yesu n'abagamba nti Mazima mbagamba nti abawooza n'abenzi babasooka mmwe okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
32 Kubanga Yokaana yajja gye muli mu kkubo ery'obutuukirivu, nammwe temwamukkiriza: naye abawooza n'abenzi baamukkiriza: nammwe, bwe mwalaba bwe mutyo, n'oluvannyuma temwenenya okumukkiriza.
33 Muwulire olugero olulala: Waaliwo omuntu eyalina ennyumba ye, n'asimba olusuku olw'emizabbibu, n'alukomerako olukomera, n'alusimamu essogolero, n'azimba ekigo, n'alusigira abalimi, n'atambula olugendo.
34 Awo omwaka bwe gwali gunaatera okutuuka ebibala okwengera, n'atuma abaddu be eri abalimi, babawe ebibala bye.
35 Naye abalimi ne bakwata abaddu be, omu ne bamukuba, omulala ne bamutta, omulala ne bamukasuukirira amayinja.
36 N'atuma nate abaddu abalala bangi okusinga ab'olubereberye: ne babakola nabo bwe batyo.
37 Oluvannyuma n'abatumira omwana we, ng'agamba nti Banaawulira omwana wange.
38 Naye abalimi bwe baalaba omwana ne bagamba bokka na bokka nti Ono ye musika; mujje, tumutte, tulye obusika bwe.
39 Ne bamukwata, ne bamusindiikiriza mu lusuku lw’emizabibbu, ne bamutta.
40 Kale, mukama w'olusuku olw'emizabbibu bw'alijja, alibakola atya abalimi abo?
41 Ne bamugamba nti Abo ababi alibazikiriza bubi; naye olusuku olw'emizabbibu alirusigira abalimi abalala, abanaamuweerezanga ebibala byamu mu mwaka gwabyo.
42 Yesu n'abagamba nti Temusomangako mu byawandiikibwa nti Ejjinja abazimbi lye baagaana Lye lyafuuka omutwe gw'ensonda: Kino kyava eri Mukama, Era kya kitalo mu maaso gaffe?
43 Kyenva mbagamba nti Obwakabaka bwa Katonda bulibaggibwako mmwe, buliweebwa eggwanga eribala ebibala byabwo.
44 Era agwa ku jjinja lino alimenyekamenyeka: n'oyo gwe lirigwako, lirimubetenta.
45 Awo bakabona abakulu n'Abafalisaayo bwe baawulira engero ze, ne bategeera nti ayogedde ku bo.
46 Nabo bwe baali baagala okumukwata, ne batya ebibiina, kubanga byamulowooza okuba nnabbi.