Makko

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16

0:00
0:00

Essuula 16

Awo ssabbiiti bwe yaggwaako, Malyamu Magudaleene ne Malyamu nnyina Yakobo, ne Saalome ne bagula eby'akaloosa, bajje bamusiige.
2 Awo bwe bwakya enkya ku lunaku olusooka mu wiiki, enjuba bwe yali yaakavaayo ne bajja ku ntaana.
3 Awo baali beebuuzaganya bokka nti Ani anaatuyiringisiza ejjinja okuliggya ku mulyango gw'entaana?
4 Awo bwe baatunuulira, ne balaba ejjinja nga liyiringisibbwa ku bbali; kubanga lyali ddene nnyo.
5 Awo bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omulenzi ng'atudde ku luuyi olwa ddyo, ng'ayambadde olugoye olutukuvu; ne bawuniikirira.
6 N'abagamba nti Temuwuniikirira: munoonya Yesu, Omunazaaleesi, eyakomererwa: azuukidde; tali wano: laba, ekifo we baamussa.
7 Naye mugende, mubuulire abayigirizwa be ne Peetero nti Abakulembedde okugenda e Ggaliraaya. Eyo gye mulimulabira nga bwe yabagamba.
8 Ne bava ku ntaana nga baddukana mangu; kubanga okukankana n'okusamaalirira byali bibakutte: so ne batabuulirako muntu kigambo, kubanga baatya.
9 Awo bwe yamala okuzuukira mu makya ku lunaku olw'olubereberye ku nnaku omusanvu n'asooka okulabikira Malyamu Magudaleene gwe yagobako dayimooni omusanvu.
10 Oyo n'agenda n'abuulira abaayitanga naye, nga banakuwala nga bakaaba.
11 Awo bo, bwe baawulira nga mulamu, ng'alabiddwa ye, ne batakkiriza.
12 Ebyo bwe byaggwa n'alabikira bannaabwe babiri mu kifaananyi kirala, nga batambula nga bagenda mu kyalo.
13 Awo abo ne bagenda ne babuulira bali abalala, so ne batabakkiriza.
14 Oluvannyuma n'alabikira ekkumi n'omu nga batudde ku mmere; n'abanenya olw'obutakkiriza n'obukakanyavu bw'emitima gyabwe, kubanga tebakkiriza abaamulaba ng'amaze okuzuukira:
15 N'abagamba nti Mugende mu nsi zonna, mubuulire enjiri eri ebitonde byonna.
16 Akkiriza n'abatizibwa, alirokoka, naye atakkiriza omusango gulimusinga.
17 Era obubonero buno bunaagendanga n'abo abakkiriza: banaagobanga emizimu mu linnya lyange; banaayogeranga ennimi empya;
18 banaakwatanga ku misota, bwe banaanywanga ekintu ekitta, tekiibakolenga kabi n'akatono; banassangako emikono abalwadde, nabo banaawonanga.
19 Awo Mukama waffe Yesu bwe yamala okwogera nabo, n'atwalibwa mu ggulu, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.
20 Bali ne bafuluma, ne babuulira wonna wonna, Mukama waffe ng'akoleranga wamu nabo era ng'anyweza ekigambo mu bubonero obwakiddiriranga. Amiina.