Abaruumi

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16

0:00
0:00

Essuula 2

Kyova olema okubeera n'eky'okuwoza, ggwe buli muntu anenya: kubanga ky'onenya munno, weenenyeza ddala wekka; kubanga ggwe anenya okola ebyo.
2 Era tumanyi ng'okunenya kwa Katonda nga kwa mazima ku abo abakola bwe batyo.
3 Ggwe omuntu, anenya abakola bwe batyo naawe n'okola ebyo, olowooza ng'olirokoka mu kunenya kwa Katonda?
4 Oba onyoomye obugagga bw'obulungi bwe n'obuwombeefu n'okugumiikiriza, nga tomanyi ng'obulungi bwa Katonda bukuleeta mu kwenenya?
5 Naye nga bw'olina obukakanyavu n'omutima oguteenenya, weeterekera obusungu obuliba ku lunaku olw'obusungu omusango ogw'ensonga gwa Katonda kwe gulibikkukira;
6 alisasula buli muntu ng'ebikolwa bye bwe byali:
7 abanoonya ekitiibwa n'ettendo n'obutaggwaawo mu kugumiikiriza nga bakola bulungi alibasasula obulamu obutaggwaawo:
8 naye ku abo abayomba n'abatawulira mazima, naye bawulira obutali butuukirivu kulibeera obusungu n'obukambwe,
9 okubonyaabonyezebwa n'okulumizibwa ku buli bulamu bw'omuntu akola obubi, okusookera ku Muyudaaya era ne ku Muyonaani:
10 naye ekitiibwa n'ettendo n'emirembe ku buli akola obulungi, okusookera ku Muyudaaya era ne ku Muyonaani:
11 kubanga Katonda tasosola mu bantu.
12 Kubanga bonna abaayonoonanga awatali mateeka, era balibula awatali mateeka: era bonna abaayonoonanga nga balina amateeka, balisalirwa omusango n'amateeka;
13 kubanga abawulira obuwulizi amateeka si be batuukirivu eri Katonda, naye abakola eby'amateeka be baliweebwa obutuukirivu
14 kubanga ab'amawanga abatalina mateeka bwe bakola mu buzaaliranwa eby'amateeka, abo, bwe bataba na mateeka, beebeerera amateeka bokka:
15 kubanga balaga omulimu gw'amateeka nga gwawandiikibwa mu mitima gyabwe, omwoyo gwabwe nga gutegeeza wamu, n’ebirowoozo byabwe nga biroopagana oba nga biwozagana byokka na byokka;
16 ku lunaku Katonda kw'alisalira omusango gw'ebyama by'abantu ng'enjiri yange bw'eri, ku bwa Yesu Kristo.
17 Naye ggwe bw'oyitibwa Omuyudaaya, ne weesigama ku mateeka ne weenyumiririza mu Katonda
18 n'omanya by'ayagala, n'osiima ebisinga obulungi, ng'oyigirizibwa mu mateeka,
19 ne weetegeera ggwe okubeera omusaale w'abazibe b'amaaso, omusana gw'abali mu kizikiza,
20 omulagirizi w'abatalina magezi, omuyigiriza w'abaana abato ng'olina ekyokulabirako eky'amagezi n'eky'amazima mu mateeka
21 kale ggwe ayigiriza omulala teweeyigiriza wekka? abuulira obutabbanga, obba?
22 ayogera obutayendanga, oyenda? akyawa ebifaananyi, obba eby'omu biggwa?
23 eyeenyumiririza mu mateeka olw'okusobya amateeka oswaza Katonda?
24 Kubanga erinnya lya Katonda livvoolebwa mu b'amawanga ku lwammwe, nga bwe kyawandiikibwa.
25 Kubanga okukomolebwa kugasa bw’okwata amateeka: naye bw’oba omusobya w'amateeka okukomolebwa kwo kufuuse butakomolebwa.
26 Kale atali mukomole bw'akwata ebiragiro ebiri mu mateeka, obutakomolebwa bwe tebulibalibwa kuba kukomolebwa?
27 era atali mukomole mu buzaaliranwa, bw'atuukiriza amateeka, talikusalira musango ggwe, omusobya w'amateeka, ng'olina ennukuta n'okukomolebwa?
28 Kubanga Omuyudaaya ow'okungulu si ye Muyudaaya; so n'okukomolebwa kw'omubiri okw'okungulu si kwe kukomolebwa:
29 naye Omuyudaaya ow'omunda ye Muyudaaya; n’okukomolebwa kwe kw'omutima, mu mwoyo, si mu nnukuta; atatenderezebwa bantu, wabula Katonda.