Abakkolosaayi

Essuula : 1 2 3 4

0:00
0:00

Essuula 3

Kale oba nga mwazuukirira wamu ne Kristo, munoonyenga ebiri waggulu, Kristo gy'ali ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.
2 Mulowoozenga ebiri waggulu, so si ebiri ku nsi.
3 Kubanga mwafa, n'obulamu bwammwe bukwekeddwa wamu ne Kristo mu Katonda.
4 Kristo, obulamu bwaffe, bw'alirabisibwa, era nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.
5 Kale mufiise ebitundu byammwe ebiri ku nsi; obwenzi, obugwagwa, okwegomba okw'ensonyi, omululu omubi, n'okuyaayaana, kwe kusinza ebifaananyi;
6 olw'ebyo obusungu bwa Katonda bujja ku baana abatawulira;
7 era nammwe mu ebyo mwe mwatambuliranga edda, bwe mwali abalamu mu byo.
8 Naye kaakano era nammwe muggyeewo byonna, obusungu, ekiruyi, ettima, okuvuma, okunyumya eby'ensonyi mu kamwa kammwe:
9 temulimbagananga mwekka na mwekka; kubanga mwamweyambulako omuntu ow'edda wamu n'ebikolwa bye,
10 ne mwambala omuntu omuggya, afuulibwa omuggya olw'okutegeera mu kifaananyi ky'oyo eyamutonda:
11 awo tewayinza kubeerawo Muyonaani n'Omuyudaaya, okukomolwa n'obutakomolwa, munnaggwanga, Omusukusi, omuddu, ow'eddembe: naye Kristo bye bintu byonna ne mu byonna.
12 Kale mwambalenga ng'abalonde ba Katonda, abatukuvu era abaagalwa, omwoyo ogw'ekisa, obulungi, okwewombeeka, obuteefu, okugumiikiriza;
13 nga muzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw'abeeranga n'ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe bwe mutyo:
14 ku ebyo byonna era mwambale okwagalana, kye kintu ekinyweza okutuukirira.
15 Era emirembe gya Katonda giramulenga mu mitima gyammwe, era gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mubeerenga n'okwebaza.
16 Ekigambo kya Kristo kibeerenga mu mmwe n'obugagga mu magezi gonna; nga muyigirizagananga era nga mulabulagananga mwekka na mwekka mu zabbuli n'ennyimba n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga muyimbira Katonda mu kisa mu mitima gyammwe.
17 Era buli kye munaakolanga, mu kigambo oba mu kikolwa, mukolerenga byonna mu linnya lya Mukama waffe Yesu, nga mwebaza Katonda Kitaffe ku bubwe.
18 Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe kiri ekirungi mu Mukama waffe.
19 Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, so temubakwatirwanga bukambwe.
20 Abaana abato, muwulirenga bakadde bammwe mu byonna, kubanga ekyo kye kisiimibwa mu Mukama waffe.
21 Bakitaabwe, temunyiizanga baana bammwe, balemenga okuddirira omwoyo.
22 Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab'omu mubiri mu byonna, si mu kuweereza okw'okungulu ng'abasiimibwa abantu, wabula mu mutima ogutalina bukuusa, nga mutya Mukama waffe:
23 buli kye munaakolanga mukolenga n'omwoyo, nga ku bwa Mukama waffe so si ku bwa bantu;
24 nga mumanyi nga mulisasulibwa Mukama waffe empeera ey'obusika: muli baddu ba Mukama waffe Kristo.
25 Kubanga ayonoona aliweebwa nate nga bwe yayonoona: so siwali kusosola mu bantu.