Yakobo

Essuula : 1 2 3 4 5

0:00
0:00

Essuula 3

Temubeeranga bayigiriza bangi, baganda bange, nga mumanyi nga tulisalirwa omusango ogusinga obunene.
2 Kubanga mu bingi tusobya fenna. Omuntu yenna bw'atasobya mu kigambo, oyo ye muntu eyatuukirira, ayinza okuziyiza era n'omubiri gwe gwonna.
3 Naye bwe tuteeka ebyuma eby'embalaasi mu mimwa gyazo ziryoke zitugonderenga, tuyinza okufuga emibiri gyazo gyonna.
4 Laba, era n’amaato, newakubadde nga manene bwe gatyo, era nga gatwalibwa empewo ez'amaanyi, enkasi entono ennyo ye egagoba yonna yonna omugoba gy'asiima mu kwagala kwe.
5 Era n’olulimi bwe lutyo kye kitundu ekitono, ne lwenyumiriza nnyo. Laba, emiti emingi egyenkanidde awo okwokebwa akaliro akatono bwe katyo.
6 N'olulimi muliro: ensi ey'obubi mu bitundu byaffe lwe lulimi, olwonoona omubiri gwonna, era olukoleeza nnamuziga w'ebitonde byonna, era olukoleezebwa Ggeyeena.
7 Kubanga buli ngeri ey'ensolo n'ennyonyi n'ebyewalula n'ebyennyanja bifugika era byafugibwa abantu:
8 naye olulimi siwali muntu ayinza kulufuga; bubi obutaziyizika, lujjudde obusagwa obutta.
9 Olwo lwe tutenderezesa Mukama waffe ye Kitaffe; era olwo lwe tukolimiza abantu abaakolerwa mu kifaananyi kya Katonda:
10 mu kamwa akamu mwe muva okutendereza n'okukolima. Baganda bange, ebyo tekibigwanira kubeera bwe bityo.
11 Ensulo ekulukuta amazzi amalungi n'agakaawa mu liiso erimu?
12 Omutiini guyinza, baganda bange, okubala ezeyituuni, oba omuzabbibu okubala ettiini? So amazzi ag'omunnyo tegayinza kuvaamu malungi.
13 Ani alina amagezi n'okutegeera mu mmwe? Alagenga mu mpisa ennungi ebikolwa bye mu magezi amawombeefu.
14 Naye bwe muba n'obuggya obukambwe n'okuyomba mu mutima gwammwe, temwenyumirizanga so temulimbanga okuziyiza amazima.
15 Amagezi gano si ge gakka okuva waggulu, naye ga mu nsi, ga buzaaliranwa, ga Setaani.
16 Kubanga awaba obuggya n'okuyomba, we waba okutabuka na buli kikolwa ekibi.
17 Naye amagezi agava waggulu okusooka malongoofu, nate ga mirembe, mawombeefu, mawulize, agajjudde okusaasira n'ebibala ebirungi, agatalina kwawula, agatalina bunnanfuusi.
18 Era ekibala eky'obutuukirivu kisigibwa mu mirembe eri abo abaleeta emirembe.