Okusumululwa okuva mu kutya


  • Mukama gwe musana gwange n'obulokozi bwange; gwe nnaatyanga ye ani? Mukama ge maanyi ag'obulamu bwange; anankankanyanga ye ani? ... Kubanga ku lunaku olw'okunakuwala alinkuuma mu kyama mu nnyumba ye: Awakwekerwa mu weema ye we alinkisiza; Alinnyimusa ku lwazi. - Zabbuli Psalms27:1, 5
  • Nanoonya Mukama, n'anziramu, N'andokola mu kutya kwange kwonna. - Psalm 34:4
  • Naye buli anaawuliranga nze anaabeeranga mirembe, Era anaatereeranga nga tewali kutya kabi. - Engero Proverbs 1:33
  • Mugambe abo abalina omutima omuti nti Mubeere n'amaanyi, temutya: laba Katonda wammwe alijja n'okuwalana eggwanga, n'empeera ya Katonda; alijja n'abalokola. - Isaaya Isaiah 35:4
  • totya, kubanga nze ndi wamu naawe; tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo: naakuwanga amaanyi; weewaawo, naakuyambanga; weewaawo, naakuwaniriranga n'omukono ogwa ddyo ogw'obutuukirivu bwange.- Isaaya Isaiah 41:10
  • Kubanga temwaweebwa nate mwoyo gwa buddu okutya, naye mwaweebwa Omwoyo ow'okufuuka abaana, atukaabya nti Abba, Kitaffe. - Abaruumi Romans 8:15
  • Kubanga Katonda teyatuwa ffe omwoyo ogw'okutya, wabula ogw'amaanyi era ogw'okwagala era ogw'okwegenderezanga. - 2 Timoseewo 2 Timoseewo 2 Timothy 1:7
  • Katonda kye kiddukiro n'amaanyi gaffe, Omubeezi ddala atabula mu kulaba ennaku.Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw'eneekyukanga, N'ensozi ne bwe zinaasigukanga mu buziba obw'ennyanja;Amazzi gaayo ne bwe ganaayiranga ne bwe ganeekuluumululanga, N'ensozi ne bwe zinaakankananga n'okwetabula kwayo. (Seera)- Zabbuli Psalms 46:1-3
  • Buli lwe nnaatyanga, Neesiganga ggwe.Mu Katonda ndyebaza ekigambo kye: Katonda gwe nneesize, siritya; Ab'omubiri bayinza kunkola ki? - Zabbuli Psalms 56:3, 4
  • Tootyenga lwa ntiisa ya kiro Newakubadde akasaale akagenda emisana;Olw'olumbe olutambulira mu kizikiza, Newakubadde olw'okuzikiriza okufaafaaganya mu ttuntu. - Zabbuli Psalms 91:5, 6
  • Bw'onoogalamiranga tootyenga: Weewaawo, onoogalamiranga n'otulo two tunaakuwoomeranga. - Engero Proverbs 3:24
  • Tobatyanga: kubanga nze ndi wamu naawe okukuwonya, bw'ayogera Mukama. - Yeremiya Jeremiah 1:8
  • Temuli kutya mu kwagala, naye okwagala okutuukirivu kugobera ebweru okutya, kubanga okutya kulimu okubonerezebwa; n'oyo atya tannatuukirizibwa mu kwagala. - 1 Yokaana 1 John 4:18
  • Mubeerenga n'empisa ey'obutaagalanga bintu; bye mulina bibamalenga: kubanga ye yennyini yagamba nti Sirikuleka n'akatono, so sirikwabulira n'akatono.N'okwaŋŋanga ne twaŋŋanga okwogera nti Mukama ye mubeezi wange; ssiritya: Omuntu alinkola ki? - Abaebbulaniya Hebrews13:5, 6
  • Emirembe mbalekera; emirembe gyange ngibawa: si ng'ensi bw'ewa, nze bwe mbawa. Omutima gwammwe tegweraliikiriranga so tegutyanga. - Yokaana John 14:27
  • Kale kubanga abaana bagatta omusaayi n'omubiri, era naye yennyini bw'atyo yagatta ebyo; olw'okufa alyoke azikirize oyo eyalina amaanyi ag'okufa, ye Setaani;era alyoke abawe eddembe abo bonna abali mu buddu obulamu bwabwe bwonna olw'entiisa y'okufa.- Abaebbulaniya Hebrews 2:14, 15