Obukuumi

0:00
0:00

  • Kye munaavanga mukola amateeka gange, ne mwekuumanga emisango gyange ne mugikola; era munaatuulanga mu nsi mirembe.- Leviticus 25:18
  • Ku Benyamini n'ayogera nti Omwagalwa wa Mukama anaatuulanga mirembe awali ye; Amubikkako okuzibya obudde, Era atuula wakati w'ebibegabega bye- Ekyamateeka Deuteronomy 33:12
  • kale nno kkiriza okuwa omukisa ennyumba ey'omuddu wo, ebeerenga mu maaso go ennaku zonna: kubanga ggwe, ai Mukama Katonda, okyogedde: era ennyumba y'omuddu wo eweebwenga omukisa gwo ennaku zonna.- 2 Samuel 7:29
  • Awo Dawudi n'ateeka ebigo mu Busuuli obw'e Ddamasiko: Abasuuli ne bafuuka baddu ba Dawudi, ne baleeta ebirabo. Mukama n'amuwanga Dawudi okuwangula buli gye yagendanga.- 2 Samuel 8:6
  • era nabeeranga naawe buli gye wagendanga, ne mmalawo abalabe bo bonna mu maaso go; era ndikuwa erinnya okufaanana erinnya ly'abakulu abalimu nsi.- 1 Ebyomumirembe 1 Chronicles 17:8
  • Kubanga kabaka yeesiga Mukama, N'olw'ekisa ky'oyo ali waggulu ennyo taasagaasaganenga.Omukono gwo gulituuka ku balabe bo bonna: Omukono gwo ogwa ddyo gulituuka ku abo abakukyawa.Olibafaananya ng'ekikoomi ekyaka mu biro eby'obusungu bwo. Mukama alibamira mu kiruyi kye, N'omuliro gulibalya.- Zabbuli Psalms 21:7-9
  • Naye kabaka alisanyukira Katonda: Buli amulayira ye alyenyumiriza; Kubanga akamwa k'abo aboogera eby'obulimba kalizibibwa.- Zabbuli Psalms 63:11
  • Eyo gye ndyanyisiza ejjembe lya Dawudi: Namuteekerawo ettabaaza eyo gwe nnafukako amafuta.Abalabe be ndibambaza ensonyi: Naye ku mutwe gwe engule ye eriraba omukisa.- Zabbuli Psalms 132:17, 18
  • Ye wuuyo awa bakabaka obulokozi: Awonya Dawudi omuddu we eri ekitala ekiruma.- Zabbuli Psalms 144:10
  • Mu butatya naagalamiranga ne nneebaka: Kubanga ggwe wekka, Mukama, ontuusa mu mirembe Zabbuli Psalms 4:8
  • Mukama mmutadde mu maaso gange bulijjo. Kubanga ye ali ku mukono gwange ogwa ddyo, sirisagaasagana.- Zabbuli Psalms 16:8
  • Malayika wa Mukama asiisira okwetooloola abo abamutya, N'abalokola.- Zabbuli Psalms 34:7
  • Katonda kye kiddukiro n'amaanyi gaffe, Omubeezi ddala atabula mu kulaba ennaku.- Zabbuli Psalms 46:1
  • Kubanga ggwe, ai Mukama, oli kiddukiro kyange Omufudde oyo ali waggulu ennyo ekigo kyo w'otuula;Tewali kabi akalikubaako, so tewali kibonoobono ekirisemberera eweema yo.- Zabbuli Psalms 91:9, 10
  • Mukama bw'atazimba nnyumba, Abagizimba bakolera bwereere: Mukama bw'atakuuma kibuga, Omukuumi atunuulirira bwereere.- Zabbuli Psalms 127:1
  • Kubanga Mukama ye anaabanga obwesige bwo, Era ye anaakuumanga ekigere kyo olemenga okuwambibwa- Engero Proverbs 3:26
  • Mu kutya Mukama mulimu okuguma ennyo omwoyo: N'abaana be baliba n'obuddukiro.- Engero Proverbs 14:26
  • Erinnya lya Mukama kigo kya maanyi: Omutuukirivu addukira omwo n'aba mirembe.- Engero Proverbs 18:10
  • Embalaasi etegekerwa olunaku olw'olutalo. Naye okuwangula kuva eri Mukama.- Engero Proverbs 21:31
  • Buli kigambo kya Katonda kikemebwa: Aba ngabo eri abo abamwesiga.- Engero Proverbs 30:5
  • Mazima Mukama Katonda taliiko ky'alikola wabula ng'abikkulidde abaddu be bannabbi ekyama kye.- Amosi Amos 3:7