Lwana

0:00
0:00

  • Yeebazibwe Mukama ejjinja lyange, Ayigiriza emikono gyange entalo, n'engalo zange okulwana. -Zabbuli Psalms 144:1
  • Nange nkugamba nti Ggwe Peetero, nange ndizimba ekkanisa yange ku lwazi luno: so n'emiryango egy'Emagombe tegirigiyinza. -Matayo Matthew 16:18
  • Naye Katonda yeebazibwe, atutwala bulijjo ng'abawangulwa mu Kristo, n'atubikkuza evvumbe ery'okumutegeera ye mu buli kifo, -2 Abakkolinso 2 Corinthians 2:14
  • abawe mmwe, ng'obugagga bw'ekitiibwa kye bwe buli, okunywezebwa n'amaanyi mu Mwoyo gwe mu muntu ow'omunda: -Abaefeeso Ephesians 3:16
  • Lwananga okulwana okulungi okw'okukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo, bwe wayitirwa, n'oyatula okwatula okulungi mu maaso g'abajulirwa abangi. -1 Timoseewo 1 Timothy 6:12
  • Bonaboneranga wamu nange ng'omulwanyi omulungi owa Kristo Yesu. Siwali mulwanyi bw'atabaala eyeeyingiza mu mitawaana egy'obulamu buno, alyoke asiimibwe eyamuwandiika okuba omulwanyi. -2 Timoseewo 2 Timothy 2:3, 4

  • Mbawandiikidde mmwe, abakadde, kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye. Mbawandiikidde mmwe, abavubuka, kubanga mulina amaanyi, n'ekigambo kya Katonda kibeera mu mmwe, era muwangudde omubi. -1 Yokaana 1John 2:14
  • Abaagalwa, bwe nnali nga nfuba okubawandiikira eby'obulokozi bwaffe fenna nnawalirizibwa okubawandiikira okubabuulirira okuwakaniranga ennyo okukkiriza abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu. -Yuda 3