Obwesigwa

0:00
0:00

  • temulimbagananga mwekka na mwekka; kubanga mwamweyambulako omuntu ow'edda wamu n'ebikolwa bye, - Abakkolosaayi Colossians 3:9
  • Temuwalananga muntu kibi olw'ekibi. Mwetegekenga ebirungi mu maaso g’abantu bonna. - Abaruumi Romans 12:17
  • kubanga tuteekateeka ebirungi, si mu maaso ga Mukama waffe mwokka, era naye ne mu maaso g'abantu. - 2 Abakkolinso 2 Corinthians 8:21
  • Eminzaani ey'obulimba ya muzizo eri Mukama: Naye ekipima ekituufu ky'asanyukira...Obutayonoona obw'abagolokofu bulibaluŋŋamya: Naye obubambaavu bw'abo abasala enkwe bulibazikiriza. - Engero Proverbs 11:1, 3
  • Mu kusobya kw'emimwa mulimu ekyambika eri omuntu ow'ekyejo:..Ayatula eby'amazima ayolesa obutuukirivu, Naye omujulirwa ow'obulimba ayolesa obukuusa.- Engero Proverbs 12:13, 17
  • Abikka ku kusobya kwe taliraba mukisa: Naye buli akwatula n'akuleka alifuna okusaasirwa. - Engero Proverbs 28:13
  • Kale mwatuliraganenga ebibi byammwe mwekka na mwekka, musabiraganenga, mulyoke muwone. Okusaba kw'omuntu omutuukirivu kuyinza nnyo mu kukola kwakwo.- Yakobo James 5:16
  • naye twagaana eby'ensonyi ebikisibwa, nga tetutambulira mu bukuusa, so tetukyamya kigambo kya Katonda; naye olw'okulabisa amazima nga twetendereza eri omwoyo gwa buli muntu mu maaso ga Katonda.2 Abakkolinso 2 Corinthians 4:2