Ebivaamu

0:00
0:00

  • Awo n'abagamba nti Mweddireyo, mulye amasavu, munywe ebiwoomerevu, muweereze oyo emigabo atategekeddwa kintu: kubanga olunaku luno lutukuvu eri Mukama waffe: so temunakuwala; kubanga essanyu lya Mukama ge maanyi gammwe.- Nekkemiya Nehemiah 8:10
  • Buli ampa ssaddaaka ey'okwebaza angulumiza; Naye alongoosa obulungi ekkubo lye Ndimulaga obulokozi bwa Katonda.- Zabbuli Psalms 50:23
  • Balina omukisa abantu abamanyi eddoboozi ery'essanyu: Ai Mukama, batambulira mu musana gw'amaaso go.- Zabbuli Psalms 89:15
  • Awo mu byo muliva okwebaza n'eddoboozi ly'abo abasanyuka: era ndibaaza, so tebaliba batono; era ndibawa ekitiibwa, so tebaliba bato.- Yeremiya Jeremiah 30:19
  • nga batenderezanga Katonda, nga basiimibwanga abantu bonna. Mukama n'abongerangako bulijjo abaalokokanga.- Ebikolwa Acts 2:47
  • Temweraliikiriranga kigambo kyonna kyonna; naye mu kigambo kyonna mu kusabanga n'okwegayiriranga awamu n'okwebazanga bye mwagala bitegeezebwenga eri Katonda.- Abafiripi Philippians 4:6
  • Balina omukisa abayigganyizibwa olw'obutuukirivu: kubanga abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe.Mmwe mulina omukisa bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, bwe banaabawaayiranga buli kigambo kibi, okubavunaanya nze.Musanyuke, mujaguze nnyo: kubanga empeera yammwe nnyingi mu ggulu: kubanga bwe batyo bwe baayigganya bannabbi abaasooka mmwe.- Matayo Matthew 5:10-12
  • Mulina omukisa, abantu bwe babakyawanga, bwe babeewalanga, bwe babavumanga, bwe bagadyanga erinnya lyammwe nga bbi, okubavunaanya Omwana w'omuntu. Musanyukanga ku lunaku olwo, mubuukanga olw'essanyu: kubanga, laba, empeera yammwe nnyingi mu ggulu: kubanga bajjajjaabwe bwe baakolanga bannabbi bwe batyo.- Lukka Luke 6:22, 23
  • Ebyo mbibabuulidde, mube n'emirembe mu nze. Mu nsi mulina ennaku: naye mugume; nze mpangudde ensi.- Yokaana John 16:33
  • Awo ne bava mu maaso g'olukiiko nga basanyuka kubanga basaanyizibbwa okukwatibwa ensonyi olw'Erinnya.- Ebikolwa Acts 5:41
  • Naye ekisinga, ggwe omuntu, ggwe ani awakana ne Katonda? Ekibumbe kirigamba eyakibumba nti Kiki ekyakunkoza bw'oti?- Abaruumi Romans 9:20
  • ng'abanakuwala, naye abasanyuka bulijjo; ng'abaavu, naye abagaggawaza abangi; ng'abatalina kintu, era naye abalina ddala byonna.- 2 Abakkolinso 2 Corinthians 6:10
  • Si kubanga njogera olw'okwetaaga: kubanga nnayiga, embeera gye mbaamu yonna, obutabaako kye nneetaaga.- Abafiripi Philippians 4:11
  • mwebazenga mu kigambo kyonna kyonna: kubanga ekyo Katonda ky'abaagaliza mu Kristo Yesu gye muli.- 1Abasessaloniika 1 Thessalonians 5:18
  • Kubanga mwasaasira abasibe, era mwagumiikiriza n'essanyu okunyagibwako ebintu byammwe, nga mutegeera nga mulina mwekka ebintu ebisinga obulungi era eby'olubeerera.- Abaebbulaniya Hebrews 10:34
  • gwe mwagala nga temunnaba kumulaba: gwe mutalaba kaakano naye mumukkiriza, ne mujaguza essanyu eritayogerekeka, eririna ekitiibwa:- 1 Peetero 1 Peter 1:8
  • Naye newakubadde nga mubonyaabonyezebwa olw'obutuukirivu, mulina omukisa: era temutyanga kutiisa kwabwe, so temweraliikiriranga;- 1 Peetero 1 Peter 3:14
  • naye, kubanga mussa kimu mu bibonoobono bya Kristo, musanyukenga; era ne mu kubikkulibwa kw'ekitiibwa kye mulyoke musanyuke n'okujaguza...naye omuntu yenna bw'abonyaabonyezebwanga nga Omukristaayo, takwatibwanga nsonyi; naye atenderezanga Katonda mu linnya eryo.- 1 Peetero 1 Peter 4:13, 16
  • Musanyukire Mukama, mmwe abatuukirivu: Okutendereza kusaanira abalina omwoyo ogw'amazima.- Zabbuli Psalms 33:1
  • Neebazanga Mukama mu biro byonna: Ettendo lye liri mu kamwa kange bulijjo.- Zabbuli Psalms 34:1
  • N'olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo, Ne ku ttendo lyo obudde okuziba.- Zabbuli Psalms 35:28
  • Mukama atenderezebwenga atusitulira omugugu gwaffe buli lunaku, Ye Katonda, bwe bulokozi bwaffe. (Seera)- Zabbuli Psalms 68:19
  • Akamwa kange kanajjulanga ettendo lyo, N'ekitiibwa kyo okuzibya obudde.- Zabbuli Psalms 71:8
  • Kirungi okwebazanga Mukama, N'okuyimba okutenderezanga erinnya lyo, ggwe ali waggulu ennyo:Okwolesanga ekisa kyo enkya, N'obwesigwa bwo buli kiro.- Zabbuli Psalms 92:1, 2
  • Muyingire mu miryango gye n'okwebaza, Ne mu mpya ze n'okutendereza. Mumwebaze, mukuze erinnya lye. .- Zabbuli Psalms 100:4
  • Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange; Ne byonna ebiri munda yange, mwebaze erinnya lye ettukuvu.Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange, So teweerabira birungi bye byonna:- Zabbuli Psalms 103:1, 2
  • Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu!- Zabbuli Psalms 107:8
  • Era bawengayo ssaddaaka ez'okwebaza, Era batenderenga ebikolwa bye n'okuyimba.- Zabbuli Psalms 107:22
  • Okuva mu buvanjuba okutuuka mu bugwanjuba Erinnya lya Mukama ligwana okutenderezebwanga.- Zabbuli Psalms 113:3
  • Tuyimuse emitima gyaffe wamu n'engalo zaffe eri Katonda mu ggulu.- Okukungubaga Lamentations 3:41
  • Naye nze naakuwa ssaddaaka yange n'eddoboozi ery'okwebaza; Naasasula obweyamo bwange. Obulokozi buva eri Mukama.- Yona Jonah 2:9
  • nga mwogeragananga mu zabbuli n'ennyimba n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga muyimbanga, nga mumukubiranga ennanga mu mutima gwammwe Mukama waffe; nga mwebazanga ennaku zonna olwa byonna Katonda Kitaffe mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo;- Abaefeeso Ephesians 5:19, 20
  • mwebazenga mu kigambo kyonna kyonna: kubanga ekyo Katonda ky'abaagaliza mu Kristo Yesu gye muli.- 1 Abasessaloniika 1 Thessalonians 5:18
  • Kale mu oyo tuweereyo eri Katonda bulijjo ssaddaaka ey'ettendo, kye kibala eky'emimwa egyatula erinnya lye.- Abaebbulaniya Hebrews 13:15
  • N'eddoboozi ne liva mu ntebe, nga lyogera nti Mutendereze Katonda waffe, mmwe mwenna abaddu be, abamutya, abato n'abakulu.- Okubikkulirwa Revelation 19:5