Okweyawula

0:00
0:00

  • Omwana ono gwe nnasaba; era Mukama yampa ebyo bye nnamusaba; nange kyenvudde mmuwaayo eri Mukama; ng'akyali mulamu aweereddwayo eri Mukama. Ye n'asinziza Mukama eyo.- 1 Samwiri 1 Samuel 1:27, 28
  • Era newakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky'ekisiikirize eky'olumbe, Siritya kabi konna; kubanga ggwe oli nange: Oluga lwo n'omuggo gwo bye binsanyusa.- Zabbuli Psalms 23:4
  • Kubanga kitange ne mmange bandese, Naye Mukama ananjijanjabanga.- Zabbuli Psalms 27:10
  • Mukama ali kumpi n'abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo oguboneredde.- Zabbuli Psalms 34:18
  • Awonya abalina emitima egimenyese, Era asiba ebiwundu byabwe.- Zabbuli Psalms 147:3
  • Amazzi amangi tegayinza kuzikiza kwagala, So n'ebitaba tebiyinza kukutta: Omuntu bw'akkiriza okuwaayo ebintu byonna eby'omu nnyumba ye olw'okwagala, Yandinyoomereddwa ddala.Oluyimba Oluyimba lwa Sulemaani 8:7
  • Siribaleka bamulekwa; nkoma wo gye muli.- Yokaana John 14:18
  • Kubanga ngera ng'okubonaabona okw'omu biro bya kaakati nga tekutuuka kwenkanyaankanya n'ekitiibwa ekigenda okutubikkulirwa ffe.- Abaruumi Romans 8:18
  • atusanyusa mu buli kibonoobono kyaffe, ffe tulyoke tuyinzenga okusanyusanga abali mu kubonaabona kwonna, n'okusanyusa ffe kwe tusanyusibwa Katonda.- 2 Abakkolinso 2 Corinthians 1:4
  • Naye byonna ebyali amagoba gye ndi, ebyo nnabirowooza nga kufiirwa olwa Kristo.Naye era n'ebintu byonna nnabirowooza nga kufiirwa olw'obulungi obungi obw'okutegeera Kristo Yesu Mukama wange: ku bw'oyo nnafiirwa ebintu byonna, era mbirowooza okubeera mpitambi, ndyoke nfune amagoba ye Kristo,- Abafiripi Philippians 3:7, 8
  • okugezebwa kw'okukkiriza kwammwe okusinga omuwendo ezaabu eggwaawo, newakubadde ng'egezebwa mu muliro, kulyoke kulabike okuleeta ettendo n'ekitiibwa n'okugulumizibwa Yesu Kristo bw'alibikkulibwa:- 1 Peetero 1 Peter 1:7