Obukkakkamu


  • Katonda n'ayogera nti, Tukole omuntu mu ngeri yaffe, mu kifaananyi kyaffe: bafugenga eby'omu nnyanja n'ebibuuka waggulu, n'ente, n'ensi yonna, na buli ekyewalula ku nsi.
    Olubereberye 1:26
  • Mukama Katonda n'ayogera nti Laba, omuntu afuuse ng'omu ku ffe, okumanyanga obulungi n'obubi; kaakano, aleme okugolola omukono gwe okunoga ku muti ogw'obulamu, okulya okuwangaalanga emirembe n'emirembe;
    Olubereberye 3:22
  • Wulira, ggwe Isiraeri: Mukama Katonda waffe ye Mukama omu:
    Ekyamateeka 6:4
  • Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana ow'obulenzi aweereddwa ffe; n'okufuga kunaabanga ku kibegabega kye: n'erinnya lye liriyitibwa nti Wa kitalo, Ateesa ebigambo, Katonda ow'amaanyi, Kitaffe ataggwaawo, Omukulu ow'emirembe.
    Isaaya 9:6
  • Munsemberere, muwulire kino; okuva ku lubereberye soogereranga mu kyama; kasookedde kibaawo, nga wendi: era kaakano Mukama Katonda antumye n'omwoyo gwe.
    Isaaya 43:10
  • Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Kabaka wa Isiraeri, era omununuzi we Mukama ow'eggye nti Nze ndi wa lubereberye era nze ndi wa komerero; so tewali Katonda wabula nze.
    Isaaya 44:6
  • Munsemberere, muwulire kino; okuva ku lubereberye soogereranga mu kyama; kasookedde kibaawo, nga wendi: era kaakano Mukama Katonda antumye n'omwoyo gwe.
    Isaaya 48:16
  • Omwoyo gwa Mukama Katonda guli ku nze; kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abawombeefu ebigambo ebirungi; antumye okusiba abalina emitima egimenyese, okulangirira eddembe eri abawambe, n’abasibe okuggulirwawo ekkomera;
    Isaaya 61:1
  • Ekiragiro ndikibuulira: Mukama yaŋŋamba nti Ggwe oli mwana wange; Leero nkuzadde.
    Psalm 2:7
  • Mukama agamba mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo.
    Psalm 110:1
  • Laba, omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, era alizaala omwana wa bulenzi, Balimutuuma erinnya lye Emmanweri; eritegeezebwa nti Katonda ali naffe.
    Matayo 1:23
  • Awo Yesu, bwe yamala okubatizibwa, amangu ago n'ava mu mazzi: laba, eggulu ne limubikkukira, n'alaba Omwoyo gwa Katonda ng'akka ng'ejjiba, ng'ajja ku ye; laba, eddoboozi ne liyima mu ggulu, nga ligamba nti Oyo ye Mwana wange, gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.
    Matayo 3:16-17
  • Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n'Omwana n'Omwoyo Omutukuvu;
    Matayo 28:19
  • Yesu n'addamu nti Ery'olubereberye lye lino nti Wulira Isiraeri; Mukama Katonda waffe, Mukama ye omu;
    Makko 12:29
  • n'okumwagala n'omutima gwonna, n'okutegeera kwonna, n'amaanyi gonna, n'okwagala muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka kusinga nnyo ebiweebwayo byonna ebiramba ebyokebwa ne ssaddaaka.
    Makko 12:32
  • Ne malayika n'addamu n'amugamba nti Omwoyo Omutukuvu alikujjira, n'amaanyi g'Oyo Ali waggulu ennyo galikusiikiriza: era ekyo ekirizaalibwa kyekiriva kiyitibwa ekitukuvu, omwana wa Katonda.
    Lukka 1:35
  • ng'agamba nti Kitange, bw'oyagala, nziyaako ekikompe kino: naye si nga nze bwe njagala, naye ky'oyagala ggwe kikolebwe.
    Lukka 22:42
  • Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n'aba awali Katonda, Kigambo n'aba Katonda. Oyo yaliwo ku lubereberye awali Katonda. Ebintu byonna byakolebwa ku bw'oyo; era awataali ye tewaakolebwa kintu na kimu ekyakolebwa.
    Yokaana 1:1-3
  • Kigambo n'afuuka omubiri, n'abeerako gye tuli (ne tulaba ekitiibwa kye, ekitiibwa ng'eky'oyo eyazaalibwa omu yekka Kitaffe), ng'ajjudde ekisa n'amazima.
    Yokaana 1:14
  • Tewali eyali alabye ku Katonda wonna wonna; Omwana eyazaalibwa omu yekka, aba mu kifuba kya Kitaffe, oyo yamutegeeza.
    Yokaana 1:18
  • Katonda gwe Mwoyo: n'abo abamusinza kibagwanira okusinzizanga mu mwoyo n'amazima.
    Yokaana 4:24
  • Awo Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta kubanga tasobezza ssabbiiti yokka, era naye yayita Katonda kitaawe ye, nga yeefuula eyenkanankana ne Katonda.
    Yokaana 5:18
  • Kyennava mbagamba nti Mulifiira mu bibi byammwe. Kubanga bwe mutakkiriza nga nze wuuyo, mulifiira mu bibi byammwe.
    Yokaana 8:24
  • Yesu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Ibulayimu nga tannaba kuzaalibwa, Nze nga wendi.
    Yokaana 8:58
  • Nze ne Kitange tuli omu.
    Yokaana 10:30
  • Abayudaaya ne bamuddamu nti Olw'omulimu omulungi tetukukuba mayinja, naye olw'okuvvoola; era kubanga ggwe oli muntu ne weefuula Katonda.
    Yokaana 10:33
  • Yesu n'amugamba nti Nze kkubo, n'amazima n'obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng'ayita mu nze.
    Yokaana 14:6
  • Yesu n'amugamba nti Kasookedde mbeera nammwe, ebiro ebingi bwe bityo, era tontegeeranga, Firipo? Alabye ku nze, ng'alabye ku Kitange; kiki ekikwogeza ggwe nti Tulage Kitaffe? Tokkiriza nga nze ndi mu Kitange, ne Kitange ali mu nze? Ebigambo bye mbagamba nze, sibyogera ku bwange nzekka; naye Kitange bw'abeera mu nze akola emirimu gye.1 Munzikirize nga nze ndi mu Kitange, ne Kitange mu nze: oba munzikirize olw'emirimu gyokka.
    Yokaana 14:9-11
  • Nange ndisaba Kitange, naye alibawa Omubeezi omulala, abeerenga nammwe emirembe n'emirembe. Omwoyo ow'amazima: ensi gw'eteyinza kukkiriza; kubanga temulaba, so temutegeera: mmwe mumutegeera; kubanga abeera gye muli, era anaabanga mu mmwe.
    Yokaana 14:16-17
  • Naye Omubeezi, Omwoyo Omutukuvu, Kitange gw'alituma mu linnya lyange, oyo alibayigiriza byonna, alibajjukiza byonna bye nnabagamba.
    Yokaana 14:26
  • Muwulidde bwe mbagambye nti ŋŋenda, era nkomawo gye muli. Singa munjagala, mwandisanyuse kubanga ŋŋenda eri Kitange: kubanga Kitange ansinga obukulu.
    Yokaana 14:28
  • Naye ekigambo kituukirire ekyawandiikibwa mu mateeka gaabwe nti Bankyayira bwereere.
    Yokaana 15:26
  • Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow'amazima, n'oyo gwe watuma, Yesu Kristo.
    Yokaana 17:3
  • Nange ekitiibwa kye wampa nkibawadde; babeerenga bumu, nga ffe bwe tuli obumu; nze mu bo, naawe mu nze, batuukiririre okuba obumu; ensi etegeerenga nga ggwe wantuma, n'obaagala bo, nga bwe wanjagala nze.
    Yokaana 17:22-23
  • eyalagibwa okuba Omwana wa Katonda mu maanyi, mu mwoyo gw'obutukuvu, olw'okuzuukira kw'abafu, Yesu Kristo Mukama waffe,
    Abaruumi 1:4
  • oba nga Katonda ali omu, aliwa obutuukirivu abakomole olw'okukkiriza, n'abatali bakomole olw'okukkiriza.
    Abaruumi 3:30
  • Naye oba nga Omwoyo gw'oyo eyazuukiza Yesu mu bafu atuula mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo Yesu mu bafu, era n'emibiri gyammwe egifa aligifuula emiramu ku bw'Omwoyo gwe atuula mu mmwe.
    Abaruumi 8:11
  • naye nga bwe kyawandiikibwa nti Eriiso bye litalabangako, n'okutu bye kutawuliranga, N'ebitayingiranga mu mutima gwa muntu, Byonna Katonda bye yategekera abamwagala. Naye ffe Katonda yatubibikkulira ku bw'Omwoyo: kubanga Omwoyo anoonya byonna era n'ebitategeerekeka ebya Katonda.
    1 Abakkolinso 2:9-10
  • Temumaayi nga muli yeekaalu ya Katonda, era nga Omwoyo gwa Katonda abeera mu mmwe?
    1 Abakkolinso 3:16
  • naye gye tuli waliwo Katonda omu, Kitaffe, omuva byonna, naffe tuli ku bw'oyo; ne Mukama waffe omu, Yesu Kristo, abeesaawo byonna, era atubeesaawo ffe:naye gye tuli waliwo Katonda omu, Kitaffe, omuva byonna, naffe tuli ku bw'oyo; ne Mukama waffe omu, Yesu Kristo, abeesaawo byonna, era atubeesaawo ffe:
    1 Abakkolinso 8:6
  • Naye ebibala by'Omwoyo kwe kwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwombeefu, okwegendereza: ku biri ng'ebyo tewali mateeka.
    Abaggalatiya 5:22-23
  • kubanga ku bw'oyo ffe fembi tulina okusembera kwaffe eri Kitaffe mu Mwoyo omu.
    Abaefeeso 2:18
  • Omubiri guli gumu, n'Omwoyo omu, era nga nammwe bwe mwayitibwa mu kusuubira okumu okw'okuyitibwa kwammwe; Mukama waffe omu, okukkiriza kumu, okubatiza kumu, Katonda omu, Kitaawe wa bonna, afuga byonna, ayita mu byonna, era ali mu byonna.
    Abaefeeso 4:4-6
  • ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.
    Abafiripi 1:2
  • Mmwe mubeerengamu okulowooza kuli, era okwali mu Kristo Yesu; oyo bwe yasooka, okubeera mu kifaananyi kya Katonda, teyalowooza kintu ekyegombebwa okwenkanankana ne Katonda, naye yeggyako ekitiibwa, bwe yatwala engeri y'omuddu, n'abeera mu kifaananyi ky'abantu; era bwe yalabikira mu mutindo ogw'obuntu, ne yeetoowaza, nga muwulize okutuusa okufa, era okufa okw'oku musalaba.
    Abafiripi 2:5-8
  • oyo kye kifaananyi kya Katonda atalabika, omubereberye ow'ebitonde byonna; kubanga mu oyo ebintu byonna mwe byatonderwa, mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n'ebitalabika, oba nga ntebe za bwakabaka, oba bwami, oba kufuga, oba masaza; ebintu byonna byatondebwa ye, era ne ku lulwe; naye ye w'olubereberye mu byonna, era ebintu byonna bibeerawo mu ye.
    Abakkolosaayi 1:15-17
  • kubanga mu oyo mwe mutuula okutuukirira kwonna okw'obwakatonda ng'omubiri bwe guli,
    Abakkolosaayi 2:9
  • Era Mukama waffe aluŋŋamyenga emitima gyammwe okutuuka mu kwagala kwa Katonda ne mu kugumiikiriza kwa Kristo.
    2 Abasessaloniika 3:5
  • Kubanga waliwo Katonda omu, era omutabaganya wa Katonda n'abantu omu, omuntu Kristo Yesu,
    1 Timoseewo 2:5
  • eyatulokola n'atuyita okuyita okutukuvu, si ng'ebikolwa byaffe bwe biri, wabula okumalirira kwe ye n'ekisa bwe biri, kye twaweerwa mu Kristo Yesu emirembe n'emirembe nga teginnabaawo,
    2 Timoseewo 1:9
  • nga tulindirira essuubi ery'omukisa n'okulabika kw'ekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo;
    Tito 2:13
  • oyo bw'ali okumasamasa kw'ekitiibwa kye n'ekifaananyi kye ddala bw'ali, era bw'asitula ebintu byonna n'ekigambo eky'obuyinza bwe, bwe yamala okukola eky'okunaaza ebibi, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogw'Obukulu waggulu;
    Abaebbulaniya 1:3
  • naye ku Mwana ayogera nti Entebe yo, ai Katonda, ya lubeerera emirembe n'emirembe; N'omuggo ogw'obugolokofu gwe muggo ogw'obwakabaka bwo.
    Abaebbulaniya 1:8
  • omusaayi gwa Kristo, eyeewaayo yekka olw'Omwoyo ataggwaawo eri Katonda nga taliiko bulema, tegulisinga nnyo okunaaza omwoyo gwammwe mu bikolwa ebifu okuweereza Katonda omulamu?
    Abaebbulaniya 9:14
  • Yesu Kristo jjo ne leero aba bumu n'okutuusa emirembe n'emirembe.
    Abaebbulaniya 13:8
  • Peetero, omutume wa Yesu Kristo, eri abalonde abaasaasaana abatambuze ab'omu Ponto, Ggalatiya, Kapadokiya, Asiya ne Bisuniya, nga bwe yasooka okutegeera Katonda Kitaffe, mu kutukuza kw'Omwoyo, olw'okugonda n'okumansirwako omusaayi gwa Yesu Kristo: ekisa n'emirembe byeyongerenga gye muli.
    1 Peetero 1:1-2
  • kye twalaba ne tuwulira, kye tubabuulira nammwe, nammwe mulyoke musse ekimu naffe; era naye okussa ekimu kwaffe kuli ne Kitaffe era n'Omwana we Yesu Kristo;
    1 Yokaana 1:3
  • Era Omwoyo y'ategeeza, kubanga Omwoyo ge mazima. Kubanga abategeeza basatu, Omwoyo n'amazzi n'omusaayi; era abasatu abo bagendera wamu.
    1 Yokaana 5:7-8
  • Era tumanyi nga Omwana wa Katonda yajja n'atuwa amagezi n'okutegeera tutegeera ow'amazima, era tuli mu oyo ow'amazima, mu Mwana we Yesu Kristo. Oyo ye Katonda ow'amazima, n'obulamu obutaggwaawo.
    1 Yokaana 5:20
  • Nze ndi Alufa ne Omega, bw'ayogera Mukama Katonda, abaawo era eyabaawo era ajja okubaawo, Omuyinza w'ebintu byonna.
    Okubikkulirwa 1:8