Verse of the Day

[Copy and send from here:]

Verse of the day:

Olunaku olulungi! 🙂

https://www.wordproject.org/bibles/votd3/index_lug.htm


Verses of the month [Sample]

Day 1
"Kubanga buli ekiri mu nsi, okwegomba kw'omubiri, n'okwegomba kw'amaaso, n'okwegulumiza kw'obulamu okutaliimu, tebiva eri Kitaffe, naye biva eri ensi. Era ensi eggwaawo, n'okwegomba kwayo; naye akola Katonda by'ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.
- 1 Yokaana 2:16-17

Day 2
"Katonda kyeyava abawaayo eri okukwatibwa okw'ensonyi: kubanga abakazi baabwe baawaanyisa ekikolwa kyabwe eky'obuzaaliranwa ne bakifuula ekitali kya buzaaliranwa: era n'abasajja bwe batyo, bwe baaleka ekikolwa eky'omukazi eky'obuzaaliranwa, ne baakanga mu kwegomba kwabwe bokka na bokka, abasajja n'abasajja nga bakolagananga ebitasaana, era nga baweebwanga mu bo bokka empeera eyo eyasaanira okwonoona kwabwe.
- Abaruumi 1:26-27

Day 3
"Okusaasira n'amazima tebikulekanga: Bisibenga mu bulago bwo; Biwandiikenga ku bipande eby'omutima gwo: Bw'onoolabanga bw'otyo okuganja n'okutegeera okulungi Mu maaso ga Katonda n'ag'abantu.
- Engero 3:3-4

Day 4
" Era buno bwe bugumu bwe tulina eri ye, nti bwe tusaba ekintu nga bw'ayagala, atuwulira: era bwe tumanya ng'atuwulira buli kye tusaba, tumanyi nga tulina ebyo bye tumusabye.
- 1 Yokaana 5:14-15

Day 5
"naye Katonda yalonda ebisirusiru eby'ensi, abagezigezi abakwase ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby'ensi, akwase ensonyi eby'amaanyi; n'ebikopi by'ensi n'ebinyoomebwa Katonda yabironda era n'ebitaliiwo, aggyewo ebiriwo: omubiri gwonna gulemenga okwenyumiriza mu maaso ga Katonda.
-1 Abakkolinso 1:27-29

Day 6
"Kitaffe ayagala Omwana, era yamuwa byonna mu mukono gwe. Akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo; naye atakkiriza Mwana, taliraba bulamu, naye obusungu bwa Katonda bubeera ku ye. -
- Yokaana 3:35-36

Day 7
"Nze naakaabiriranga Katonda; Era Mukama anandokolanga. Akawungeezi n'enkya ne mu ttuntu neemulugunyanga ne nsindanga: Naye anaawuliranga eddoboozi lyange.
- Zabbuli 55:16-17

Day 8
"nga olwo omuntu tokyayigiriza munne na buli muntu muganda we nga boogera nti Manya Mukama: kubanga bonna balimmanya, okuva ku muto ku bo okutuuka ku mukulu ku bo, bw'ayogera Mukama: kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n'ekibi kyabwe sirikijjukira nate. Bw'atyo bw'ayogera Mukama awa enjuba okwakanga emisana n'okulagira okw'omwezi n'emmunyeenye okwakanga ekiro, afukula ennyanja amayengo gaayo ne gawuuma; Mukama w'eggye lye linnya lye, nti:
- Jeremiya 31:34-35

Day 9
"N'abagamba nti Olw'okukkiriza kwammwe okuba okutono: kubanga ddala mbagamba nti Singa mulina okukkiriza okwenkana ng'akaweke ka kaladaali, bwe muligamba olusozi luno nti Vaawo wano genda wali; kale luligenda; so singa tewali kigambo kye mutayinza.
- Matayo17:20

Day 10
"Oba nga munjagala, munaakwatanga ebiragiro byange. Nange ndisaba Kitange, naye alibawa Omubeezi omulala, abeerenga nammwe emirembe n'emirembe.
- Yokaana 14:15-16

Day 11
"Naye yeeyongera okugaba ekisa. Kyekiva kyogera nti Katonda alwana n'ab'amalala, naye abawombeefu abawa ekisa. Kale mujeemulukukirenga Katonda; naye mulwanenga ne Setaani, naye anaabaddukanga.
- Yakobo 4:6-7

Day 12
"Nandizirise, singa sakkiriza okulaba obulungi bwa Mukama mu nsi ey'abalamu. Lindirira Mukama: Ddamu amaanyi, ogume omwoyo gwo; Weewaawo, lindirira Mukama.
- Zabbuli 27:13-14

Day 13
"Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n'aba awali Katonda, Kigambo n'aba Katonda. Oyo yaliwo ku lubereberye awali Katonda. Ebintu byonna byakolebwa ku bw'oyo; era awataali ye tewaakolebwa kintu na kimu ekyakolebwa. Obulamu bwali mu ye; obulamu ne buba omusana gw'abantu. Omusana ne gwaka mu kizikiza, so ekizikiza tekyagutegeera.
- Yokaana 1:1-5

Day 14
"era ebiva eri Yesu Kristo, omujulirwa omwesigwa, omubereberye w'abafu, era afuga bakabaka b'omu nsi. Atwagala, era eyatusumulula mu bibi byaffe olw'omusaayi gwe; n'atufuula obwakabaka, bakabona eri Katonda Kitaawe; ekitiibwa n'obuyinza bibeerenga eri oyo emirembe n'emirembe. Amiina.
- Okubikkulirwa 1:5-6

Day 15
"Bye mwayiga era ne muweebwa ne muwulira ne mulaba gye ndi, ebyo mubikolenga: ne Katonda ow'emirembe anaabeeranga nammwe.
- Abafiripi 4:9

Day 16
"Amalala gakulembera okuzikirira, N'omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo. Aba n'omwoyo ogwetoowaza wamu n'abaavu Akira agereka omunyago wamu n'ab'amalala.
- Engero 16:18-19

Day 17
"Ai ennyumba ya Isiraeri, nze siyinza kubakola ng'omubumbi ono? bw'ayogera Mukama. Laba, ebbumba nga bwe liri mu mukono gw'omubumbi, nammwe bwe muli bwe mutyo mu mukono gwange, ai ennyumba ya Isiraeri. Bwe ndiba nga njogedde ku ggwanga ne ku bwakabaka, okusimbula n'okumenya n'okuzikiriza;
- Jeremiya18:6-7

Day 18
"Kristo atuulenga mu mitima g'yammwe olw'okukkiriza; mubeerenga n'emmizi munywezebwenga mu kwagala, mulyoke muweebwe amaanyi okukwatanga n'amagezi awamu n'abatukuvu bonna obugazi n'obuwanvu n'obugulumivu n'okugenda wansi bwe biri, n’okutegeera okwagala kwa Kristo okusinga okutegeerwa, mulyoke mutuukirire okutuusa okutuukirira kwonna okwa Katonda.
- Abaefeeso 3:17-19

Day 19
"Waliwo bangi aboogera nti Ani alitulaga ekintu ekirungi? Mukama, ggwe oyimuse omusana ogw'amaaso go ku ffe. Otadde essanyu mu mutima gwange, okusinga ery'omu kyengera ky'emmere n'omwenge gwabwe. Mu butatya naagalamiranga ne nneebaka: Kubanga ggwe wekka, Mukama, ontuusa mu mirembe
- Zabbuli 4:6-8

Day 20
"Kubanga wabanga kigo eri abaavu, ekigo eri atalina bintu ng'alabye ennaku, ekiddukiro eri kibuyaga, ekisiikirize eri olubugumu, okuwuuma kw'ab'entiisa bwe kubanga kibuyaga akunta ku kisenge.
- Isaaya 25:4

Day 21
"Aziba amatu ge omwavu bw'akaaba, Era naye alikaaba, naye taliwulirwa. Ekirabo eky'omu kyama kikkakkanya obusungu, N'ekitone eky'omu kifuba kikkakkanya ekiruyi ekingi.
- Engero 21:13-14

Day 22
"Mumuyimbirenga Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be, N'erinnya lye ettukuvu mulyebazenga. Kubanga obusungu bwe buyita mangu; Mu kisa kye mwe muli obulamu: Amaziga wozzi gayinza okubeerawo ekiro, Naye essanyu lijja obudde nga bukedde.
- Zabbuli 30:4-5

Day 23
"Onoomukuumanga mirembe mirembe, eyeesigamya omwoyo gwe ku ggwe: kubanga akwesiga ggwe.
- Isaaya 26:3

Day 24
"Katonda n'ayogera nti, Tukole omuntu mu ngeri yaffe, mu kifaananyi kyaffe: bafugenga eby'omu nnyanja n'ebibuuka waggulu, n'ente, n'ensi yonna, na buli ekyewalula ku nsi. Katonda n'atonda omuntu mu ngeri ye, mu ngeri ya Katonda mwe yamutondera; omusajja n'omukazi bwe yabatonda..
- Olubereberye 1:26-27

Day 25
"Mukama waffe anandokolanga mu buli kikolwa ekibi, era anankuumanga okutuusa ku bwakabaka bwe obw'omu ggulu: aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
- 2 Timoseewo 4:18

Day 26
"Mulowoozenga byonna okuba essanyu, baganda bange, bwe munaagwanga mu kukemebwa okutali kumu; nga mutegeera ng'okugezebwa kw'okukkiriza kwammwe kuleeta okugumiikiriza. Era omulimu gw'okugumiikiriza gutuukirirenga, mulyoke mubeere abaatuukirira, abalina byonna, abataweebuuka mu kigambo kyonna.
- Yakobo 1:2-4

Day 27
"Kyenvudde mbeegayirira, ab'oluganda, olw'okusaasira: kwa Katonda, okuwangayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw'amagezi. So temufaananyizibwanga ng'emirembe gino: naye mukyusibwenga olw'okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by'ayagala, ebirungi ebisanyusa, ebituufu.
- Abaruumi 12:1-2

Day 28
"Mmwe kaakano mumaze okuba abalongoofu olw'ekigambo kye mbagambye. Mubeere mu nze, nange mu mmwe. Ng'ettabi bwe litayinza kubala bibala lyokka, bwe litabeera mu muzabbibu, bwe kityo nammwe temuyinza, bwe mutabeera mu nze. Nze muzabbibu, mmwe matabi: abeera mu nze, nange mu ye, oyo abala ebibala bingi: kubanga awatali nze temuliiko kye muyinza kukola.
- Yokaana 15:3-5

Day 29
"N'omuddu oyo eyamanya mukama we kye yayagala, n'atategeka n'atatuusa kye yayagala, alikubwa mingi; naye ataamanya n'akola ebisaanidde okumukubya, alikubwa mitono; na buli eyaweebwa ebingi, alinoonyezebwako bingi; n'oyo gwe baateresa ebingi, gwe balisinga okubuuza ebingi.
- Lukka 12:47-48

Day 30
"Waliwo ebintu bina ebitono ku nsi, Naye birina amagezi mangi nnyo nnyini: Enkolooto lye ggwanga eritalina maanyi, Naye zeeterekera emmere yaazo mu kyeya; Obumyu buntu bunafu, Naye bwezimbira ennyumba zaabwo mu mayinja; Enzige tezirina kabaka, Naye zitabaala zonna bibiina bibiina; Omunya gukwata n'engalo zaagwo, Naye gubeera mu mayumba ga bakabaka.
- Engero 30:24-28