Nekkemiya

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13

0:00
0:00

Essuula 11

Awo abakulu b'abantu ne babeeranga mu Yerusaalemi: era n'abantu abalala ne bakuba obululu okuggya omu ku kkumi okumuleeta okubeera mu Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu, ne bali omwenda okubeera mu bibuga ebirala.
2 Awo abantu ne beebaza abasajja bonna abeeronda ku bwabwe okubeera mu Yerusaalemi.
3 Era bano be bakulu b'essaza abaabeeranga mu Yerusaalemi: naye mu bibuga bya Yuda ne mubeeramu buli muntu mu butaka bwe mu bibuga byabwe, Isiraeri, bakabona n'Abaleevi n'Abanesinimu n'abaana b'abaddu ba Sulemaani.
4 Ne mu Yerusaalemi ne mubeeramu abamu ku baana ba Yuda ne ku baana ba Benyamini. Ku baana ba Yuda: Ataya mutabani wa Uzziya mutabani wa Zekkaliya mutabani wa Amaliya mutabani wa Sefatiya mutabani wa Makalaleri ow'oku baana ba Pereezi;
5 ne Maaseya mutabani wa Baluki mutabani wa Kolukoze mutabani wa Kazaya mutabani wa Adaya mutabani wa Yoyalibu mutabani wa Zekkaliya omwana w'Omusiiro.
6 Batabani ba Pereezi bonna abaabeera mu Yerusaalemi baali ebikumi bina mu nkaaga mu munaana abasajja abazira.
7 Era bano be batabani ba Benyamini: Sallu mutabani wa Mesullamu mutabani wa Yowedi, mutabani wa Pedaya mutabani wa Kolaya mutabani wa Maaseya mutabani wa Isiyeri mutabani wa Yesaya.
8 Awo oluvannyuma lw'oyo Gabbayi ne Sallayi, olwenda mu amakumi abiri mu munaana.
9 Ne Yoweeri, mutabani wa Zikuli ye yali omulabirizi waabwe: ne Yuda mutabani wa Kassenuwa ye yali ow'okubiri okufuga ekibuga.
10 Ku bakabona: Yedaya mutabani wa Yoyalibu ne Yakini
11 ne Seraya mutabani wa Kirukiya mutabani wa Mesullamu mutabani wa Zadoki mutabani wa Merayoosi mutabani wa Akitubu, omukulu w'ennyumba ya Katonda,
12 ne baganda baabwe abaakolanga omulimu ogw'omu nnyumba, olunaana mu abiri mu babiri: ne Adaya mutabani wa Yerokamu mutabani wa Peraliya mutabani wa Amuzi mutabani wa Zekkaliya mutabani wa Pasukuli mutabani wa Malukiya,
13 ne baganda be, abakulu b'ennyumba za bakitaabwe, ebikumi bibiri mu ana mu babiri: ne Amasusaayi mutabani wa Azaleri mutabani wa Azayi mutabani wa Mesiremoosi mutabani wa Immeri,
14 ne baganda baabwe, abasajja ab'amaanyi abazira, kikumi mu abiri mu munaana: ne Zabudyeri mutabani wa Kaggedolimu ye yali omulabirizi waabwe.
15 Ne ku Baleevi: Semaaya mutabani wa Kassubu mutabani wa Azulikamu mutabani wa Kasabiya mutabani wa Bunni;
16 ne Sabbesayi ne Yozabadi, ku bakulu b'Abaleevi abaalabiriranga emirimu egy'ebweru egy'ennyumba ya Katonda;
17 ne Mattaniya mutabani wa Mikka mutabani wa Zabudi mutabani wa Asafu eyali omukulu okuleeterezanga okwebaza bwe baasabanga, ne Bakubukiya ow'okubiri mu baganda be; ne Abuda mutabani wa Sammuwa mutabani wa Galali mutabani wa Yedusuni.
18 Abaleevi bonna abaali mu kibuga ekitukuvu baali ebikumi bibiri mu kinaana mu bana.
19 Era nate abaggazi, Akkubu ne Talumooni ne baganda baabwe abaakuumanga emiryango baali kikumi mu nsanvu mu babiri.
20 N'Abaisiraeri bonna abalala, ku bakabona Abaleevi, baabanga mu bibuga byonna ebya Yuda, buli muntu mu busika bwe.
21 Naye Abanesinimu ne babeeranga mu Oferi: ne Zika ne Gisupa be baali abakulu b'Abanesinimu.
22 Ne Uzzi mutabani wa Baani mutabani wa Kasabiya mutabani wa Mattaniya mutabani wa Mikka, ow'oku baana ba Asafu abayimbi, ye yali omulabirizi w'Abaleevi e Yerusaalemi okulongoosa emirimu egy'omu nnyumba ya Katonda.
23 Kubanga kabaka yali alagidde ebigambo byabwe, era yali akuutidde abayimbi eby'enkalakkalira nga buli lunaku bwe lwetaaga.
24 Ne Pesakiya mutabani wa Mesezaberi ow'oku baana ba Zeera mutabani wa Yuda yabanga ku mukono gwa kabaka olw'ebigambo byonna eby'abantu.
25 N'olw'ebyalo n'ennimiro zaako, abamu ku baana ba Yuda ne babeeranga mu Kirasualuba ne mu bibuga byako, ne mu Diboni n'ebibuga byako, ne mu Yekabuzeeri n'ebyalo byako:
26 ne mu Yesuwa ne mu Molada ne Besupereti;
27 ne mu Kazalusuali ne mu Beeruseba ne mu bibuga byako;
28 ne mu Zikulagi ne mu Mekona n'ebibuga byako;
29 ne mu Enulimmoni ne mu Zola ne mu Yalamusi;
30 Zanowa ne Adulamu n'ebyalo byako, Lakisi n'ennimiro zaako, Azeka n'ebibuga byako. Bwe batyo bwe baasiisira okuva e Beeruseba okutuuka ku kiwonvu kya Kinomu.
31 Abaana ba Benyamini nabo ne babeeranga okuva e Geba n'okweyongerayo e Mikumasi ne Ayiya, ne Beseri n'ebibuga byako;
32 Anasosi ne Nobu ne Ananiya;
33 Kazoli ne Laama ne Gittayimu;
34 ne Kadidi ne Zeboyimu ne Neballati;
35 ne Loodi ne Ono, ekiwonvu eky'abakozi.
36 Ne ku Baleevi ebisanja ebimu eby'omu Yuda ne bigattibwa ne Benyamini.