Nekkemiya

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13

0:00
0:00

Essuula 4

Naye olwatuuka Sanubalaati bwe yawulira nga tuzimba bbugwe, n'asunguwala n'abaako ekiruyi kingi n'aduulira Abayudaaya.
2 N'ayogerera mu maaso ga baganda be n'eggye ly'e Samaliya n'agamba nti Abayudaaya bano abanafu bakola ki? baagala okwekomera? baagala okuwaayo ssaddaaka? baagala okumalira ku lunaku lumu? baagala okuzuukiza amayinja okugaggya mu bifunvu eby'ebisasiro, kubanga gookeddwa?
3 Awo Tobiya Omwamoni yali naye n'ayogera nti N'ekyo kye bazimba ekibe bwe kinaalinnyayo kinaasuula bbugwe waabwe ow'amayinja.
4 Wulira, ai Katonda waffe; kubanga tunyoomeddwa: era zza ekivume kyabwe ku mutwe gwabwe bo, obagabule okunyagibwa mu nsi ey'obusibe:
5 so tobikka ku butali butuukirivu bwabwe, n'ekibi kyabwe kireme okusangulibwa mu maaso go: kubanga bakusunguwazizza mu maaso g'abazimbi.
6 Awo ne tuzimba bbugwe; bbugwe yenna n'agattibwa wamu okutuusa we yenkana obugulumivu: kubanga abantu bassaayo omwoyo eri omulimu.
7 Naye olwatuuka Sanubalaati ne Tobiya n'Abawalabu n'Abamoni n’Abasudodi bwe baawulira ng'omulimu ogw'okuddaabiriza bbugwe wa Yerusaalemi gugenda gweyongera, era ng'ebituli bitanudde okuzibibwa, kale ne basunguwala nnyo;
8 ne beekobaana bonna wamu okujja okulwana ne Yerusaalemi n'okukisasamaza.
9 Naye ne tusaba okusaba kwaffe eri Katonda waffe ne tussaawo abakuumi eri bo emisana n'ekiro ku lwabwe.
10 Yuda n'ayogera nti Amaanyi g'abo abeetikka emigugu gaweddewo era waliwo ebisasiro bingi; n'okuyinza ne tutayinza kuzimba bbugwe.
11 Abalabe baffe ne boogera nti Tebalimanya so tebaliraba, okutuusa lwe tuliyingira mu bo wakati, ne tubatta, ne tulekesaayo omulimu.
12 Awo olwatuuka Abayudaaya abaabaliraana bwe bajja, ne batugamba emirundi kkumi nga bayima mu bifo byonna nti Kibagwanira okudda gye tuli.
13 Kyennava nzisaawo abantu mu njuyi eza wansi ez'omu bbanga eryali ennyuma wa bbugwe, mu mpungu, kyennava nzisaawo abantu ng'enda zaabwe bwe zaali nga balina ebitala byabwe n'amafumu gaabwe n'emitego gyabwe.
14 Ne ntunula ne ngolokoka ne ŋŋamba abakungu n'abakulu, n'abantu abalala nti Temubatya: mujjukire Mukama omukulu ow'entiisa, mulwanirire baganda bammwe ne batabani bammwe ne bawala bammwe, bakazi bammwe n'ennyumba zammwe.
15 Awo olwatuuka abalabe baffe bwe baawulira nga kimanyiddwa gye tuli, era nga Katonda asse okuteesa kwabwe, ne tulyoka tudda fenna ku bbugwe, buli muntu ku mulimu gwe.
16 Awo olwatuuka okuva mu biro ebyo n'okweyongerayo ekitundu ky'abaddu bange ne bakolanga omulimu ogwo n'ekitundu ne bakwatanga amafumu n'engabo n'emitego n'ebizibawo eby'ebyuma; abakulu ne babanga ennyuma w'ennyumba yonna eya Yuda.
17 Abo abaazimbanga bbugwe n'abo abeetikkanga emigugu ne beebinikanga, buli muntu ng'akola omulimu n'omukono gwe gumu, n'ogw'okubiri nga gukutte ekyekulwanyisa kye;
18 n'abazimbi, buli muntu ekitala kye nga kisibiddwa mu kiwato kye n'azimbanga bw'atyo. N'oyo eyafuuwanga ekkondeere n'abeeranga nange.
19 Ne ŋŋamba abakungu n'abakulu n'abantu abalala nti Omulimu munene mugazi, naffe twesudde amabanga ku bbugwe, omu ng'amuli wala munne:
20 mu buli kifo gye munaawuliriranga eddoboozi ly'ekkondeere, mutudduukiririranga eyo; Katonda waffe ye anaatulwaniriranga.
21 Awo ne tukolanga omulimu: ekitundu kyabwe ne bakwatanga amafumu obudde, we bwakeereranga n'emmunyeenye lwe zaalabikanga.
22 Era mu biro ebyo ne ŋŋamba bwe ntyo abantu nti Buli muntu n'omuddu we asulenga mu Yerusaalemi babeerenga bakuumi gye tuli ekiro, era bakolenga omulimu emisana.
23 Awo ne tutayambulanga byambalo byaffe nze newakubadde baganda bange newakubadde abaddu bange newakubadde abasajja abambowa abangobereranga, n'omu ku ffe, buli muntu yagendanga emugga ng'akutte ekyokulwanyisa kye.