Ezekyeri

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48

0:00
0:00

Essuula 10

Awo ne ntunula, era, laba, mu bbanga eryali waggulu w'omutwe gwa bakerubi ne walabika waggulu waabwe ng'ejjinja erya safiro ng'embala ey'ekifaananyi eky'entebe.
2 N'agamba omusajja ayambadde bafuta n'ayogera nti Yingira wakati wa bannamuziga abeetooloola abawulukuka, wansi wa kerubi, ojjuze ebibatu byo byombi ebisiriiza eby'omuliro ebiva wakati wa bakerubi, obimansire ku kibuga. Awo n'ayingira nze nga ndaba.
3 Era bakerubi baali bayimiridde ku luuyi olw'ennyumba olwa ddyo omusajja bwe yayingira; ekire ne kijjuza oluggya olw'omunda.
4 Ekitiibwa kya Mukama ne kirinnya okuva ku kerubi, ne kiyimirira waggulu ku mulyango ogw'ennyumba; ennyumba n'ejjula ekire, oluggya ne lujjula okumasamasa okw'ekitiibwa kya Mukama.
5 N'okuwuuma kw'ebiwaawaatiro bya kerubi ne kuwulirwa okutuuka ne mu luggya olw'ebweru, ng'eddoboozi lya Katonda Omuyinza w'ebintu byonna bw'ayogera.
6 Awo olwatuuka bwe yalagira omusajja ayambadde bafuta ng'ayogera nti Ggya omuliro wakati wa bannamuziga abeetooloola abavulukuka wakati wa bakerubi, n'ayingira n'ayimirira ku mabbali ga mamuziga.
7 Awo kerubi n'agolola omukono gwe ng'ayima wakati wa bakerubi eri omuliro ogwali wakati wa bakerubi n'atwalako, n'aguteeka mu mikono gy'oyo ayambadde bafuta, oyo n'agutoola n'afuluma.
8 Awo ne walabika mu bakerubi embala ey'omukono gw'omuntu wansi w'ebiwaawaatiro byabwe.
9 Awo ne ntunula, era, laba, bannamuziga bana nga bali ku mabbali ga bakerubi, nnamuziga omu ng'ali ku mabbali ga kerubi omu, ne nnamuziga omulala ng'ali ku mabbali ga kerubi omulala: n'embala eya bannamuziga yali ng'ebbala ery'ejjinja erya berulo.
10 N'embala yaabwe, abo abana baalina ekifaananyi kimu, kwenkana namuziga ng'ali munda wa nnamuziga.
11 Bwe baatambulanga, ne batambulira ku mbiriizi zaabwe ennya: tebaakyuka bwe baatambula, naye mu kifo omutwe gye gwatunulanga, ne bagugoberera; tebaakyuka bwe baatambula.
12 N'omubiri gwabwe gwonna n'amabega gaabwe n'emikono gyabwe n'ebiwaawaatiro byabwe ne bannamuziga byali bijjudde amaaso enjuyi zonna, bannamuziga abo abana be baalina.
13 Bannamuziga, baabayita nze nga mpulira bannamuziga abeetooloola abawulukuka.
14 Era buli omu yalina obwenyi buna: obwenyi obw'olubereberye bwali bwenyi bwa kerubi, n'obwenyi obw'okubiri bwali bwenyi bwa muntu, n'obwenyi obw'okusatu bwenyi bwa mpologoma, n'obw'okuna bwenyi bwa mpungu.
15 Era bakerubi baalinnya waggulu: ekyo kye kiramu kye nnalabira ku mabbali g'omugga Kebali.
16 Era bakerubi bwe baatambulanga, bannamuziga ne batambulira ku mabbali gaabwe: era bakerubi bwe baayimusanga ebiwaawaatiro byabwe okulinnya okuva ku ttakka, so ne bannamuziga tebaakyukanga okuva ku mabbali gaabwe.
17 Abo bwe baayimiriranga, ne bano ne bayimirira; era bo bwe balinnyanga waggulu, ne bano ne balinnyira wamu nabo: kubanga omwoyo gw'ekiramu gwali mu bo.
18 Awo ekitiibwa kya Mukama ne kifuluma okuva waggulu ku mulyango gw'ennyumba ne kiyimirira waggulu wa bakerubi.
19 Era bakerubi baayimusa ebiwaawaatiro byabwe ne balinnya okuva ku ttaka nze nga ndaba bwe baafuluma, ne bannamuziga ku mabbali gaabwe: era baayimirira ku luggi olw'omulyango ogw'ebuvanjuba ogw'ennyumba ya Mukama; era ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri kyali ku bo waggulu.
20 Ekyo kye kiramu kye nnalaba wansi wa Katonda wa Isiraeri ku mabbali g'omugga Kebali; ne mmanya nga be bakerubi.
21 Buli omu yalina obwenyi buna kinnoomu, era buli omu ebiwaawaatiro bina; n'ekifaananyi eky'emikono gy'omuntu kyali wansi w'ebiwaawaatiro byabwe.
22 Era ekifaananyi eky'obwenyi bwabwe, bwe bwali obwenyi bwe nnalabira ku mabbali g'omugga Kebali, embala zaabwe nabo bennyini; bonna baatambulanga nga beesimba.