Ezekyeri

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48

0:00
0:00

Essuula 11

Era nate omwoyo ne gunsitula ne guntwala eri omulyango ogw'ebuvanjuba ogw'ennyumba ya Mukama ogutunuulira ebuvanjuba: kale, laba, ku luggi olw'omulyango nga kuliko abasajja amakumi abiri mu bataano; ne ndaba wakati mu bo Yaazaniya mutabani wa Azuli ne Peratiya mutabani wa Benaya, abakungu ab'omu bantu.
2 N'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, bano be basajja abagunja obutali butuukirivu, era abawa okuteesa okubi mu kibuga kino:
3 aboogera nti Ekiseera tekiri kumpi okuzimba ennyumba: ekibuga kino ye ntamu, naffe nnyama.
4 Kale obalagulireko, lagula, ai omwana w'omuntu.
5 Awo omwoyo gwa Mukama ne gungwako, n'aŋŋamba nti Yogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Bwe mutyo bwe mwogedde, ai ennyumba ya Isiraeri; kubanga mmanyi ebigambo ebiyingira mu mwoyo gwammwe.
6 Mwazizza abammwe abattibwa mu kibuga kino, era mujjuzizza enguudo zaakyo abo abattibwa.
7 Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Abammwe abattibwa be mutadde wakati mu kyo, abo ye nnyama, n'ekibuga ye ntamu: naye mmwe muliggibwa wakati mu kyo.
8 Mutidde ekitala; nange ndibaleetako ekitala, bw'ayogera Mukama Katonda.
9 Era ndibaggya wakati mu kyo, ne mbawaayo mu mikono gya bannaggwanga, era ndituukiriza mu mmwe emisango.
10 Muligwa n'ekitala; ndibasalira omusango mu nsalo ya Isiraeri; kale mulimanya nga nze Mukama.
11 Ekibuga kino si kye kiriba entamu yammwe, so nammwe si mmwe muliba ennyama wakati mu kyo; ndibasalira omusango mu nsalo ya Isiraeri;
12 kale mulimanya nga nze Mukama: kubanga temutambulidde mu mateeka gange, so temutuukirizza misango gyange, naye mukoze ng'ebiragiro bwe biri eby'amawanga agabeetoolodde.
13 Awo olwatuuka bwe nnalagula, Peratiya mutabani wa Benaya n'afa. Awo ne nvuunama amaaso gange, ne nkaaba n'eddoboozi ddene ne njogera nti Woowe, Mukama Katonda! onoomaliwaro ddala ekitundu kya Isiraeri ekifisseewo?
14 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
15 Omwana w'omuntu, baganda bo, abasajja ab'ekika kyammwe, n'ennyumba yonna eya Isiraeri, bonna, be baabo abagambiddwa abo abali mu Yerusaalemi nti Mwesambe wala Mukama: ffe ensi eno etuweereddwa okuba obutaka:
16 kale yogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga nabajjulula ne mbatwala wala mu mawanga, era kubanga mbasaasaanyizza mu nsi nnyingi era naye ndiba gye bali ekifo ekitukuvu ekiseera ekitono mu nsi gye batuuse.
17 Kale yogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndibakuŋŋaanya okubaggya mu mawanga, ne mbayoola okubaggya mu nsi mwe mwasaasaanyizibwa, era ndibawa ensi ya Isiraeri.
18 Kale balijjayo, ne baggyawo ebintu byayo byonna eby'ebivve n'emizizo gyayo gyonna ne bagimalayo.
19 Era ndibawa omutima gumu, era nditeeka omwoyo omuggya mu mmwe; era ndiggya omutima ogw'ejjinja mu mutima gwabwe, ne mbawa omutima ogw'ennyama:
20 balyoke batambulirenga mu mateeka gange ne bakwata ebyo bye nnassaawo ne babikola: era banaabanga bantu bange, nange naabanga Katonda waabwe.
21 Naye abo, omutima gwabwe gutambula okugoberera omutima ogw'ebintu byabwe eby'ebivve n'emizizo gyabwe, ndireeta ekkubo lyabwe ku mitwe gyabwe bo, bw'ayogera Mukama Katonda.
22 Awo bakerubi ne balyoka bayimusa ebiwaawaatiro byabwe, ne bannamuziga nga bali ku mabbali gaabwe; n'ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri kyali ku bo waggulu.
23 N'ekitiibwa kya Mukama ne kirinnya okuva wakati mu kibuga, ne kiyimirira ku lusozi oluli ku luuyi lw'ekibuga olw'ebuvanjuba.
24 Omwoyo ne gunsitula ne guntwalira mu kwolesebwa olw'omwoyo gwa Katonda e Bukaludaaya eri ab'obusibe. Awo okwolesebwa kwe nnali ndabye ne kulinnya okunvaako.
25 Awo ne njogera n'ab'obusibe ebigambo byonna Mukama bye yali andaze.