Yokaana

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21

0:00
0:00

Essuula 1

Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n'aba awali Katonda, Kigambo n'aba Katonda.
2 Oyo yaliwo ku lubereberye awali Katonda.
3 Ebintu byonna byakolebwa ku bw'oyo; era awataali ye tewaakolebwa kintu na kimu ekyakolebwa.
4 Obulamu bwali mu ye; obulamu ne buba omusana gw'abantu.
5 Omusana ne gwaka mu kizikiza, so ekizikiza tekyagutegeera.
6 Waalabika omuntu, Katonda, gwe yatuma, erinnya lye Yokaana.
7 Oyo yajja olw'okutegeeza ategeeze eby'omusana, bonna bakkirize ku bubwe.
8 Oyo si ye musana, wabula okutegeeza eby'omusana.
9 Waliwo omusana ogw'amazima ogwakira buli muntu, nga gujja mu nsi.
10 Yali mu nsi, ensi yakolebwa ku bubwe, era ensi teyamutegeera.
11 Yajja mu matwale ge, naye abaali mu matwale ge tebaamusembeza.
12 Naye bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya lye:
13 abataazaalibwa musaayi, newakubadde okwagala kw'omubiri, newakubadde okwagala kw'omuntu, naye abaazaalibwa Katonda.
14 Kigambo n'afuuka omubiri, n'abeerako gye tuli (ne tulaba ekitiibwa kye, ekitiibwa ng'eky'oyo eyazaalibwa omu yekka Kitaffe), ng'ajjudde ekisa n'amazima.
15 Yokaana n'amutegeeza n'ayogerera waggulu ng'ayogera nti Oyo gwe nnagamba nti Ajja ennyuma wange ansinga nze: kubanga ye yali ow'olubereberye ku nze.
16 Kubanga ku kujjula kwe ffe fenna kwe twaweebwa, n'ekisa mu kifo ky'ekisa.
17 Kubanga amateeka gaaweebwa ku bwa Musa; ekisa n'amazima byabaawo ku bwa Yesu Kristo.
18 Tewali eyali alabye ku Katonda wonna wonna; Omwana eyazaalibwa omu yekka, aba mu kifuba kya Kitaffe, oyo yamutegeeza.
19 Kuno kwe kutegeeza kwa Yokaana, Abayudaaya abaava e Yerusaalemi bwe baamutumira bakabona n'Abaleevi okumubuuza nti Ggwe ani?
20 N'ayatula, n'ateegaana; n'ayatula nti Si nze Kristo.
21 Ne bamubuuza nti Kale lw'oli ani? oli Eriya? N'agamba nti Si nze ye. Ggwe nnabbi oli? N'addamu nti Nedda.
22 Awo ne bamugamba nti Lw'oli ani? tubaddemu abatutumye. Weeyita ani?
23 N'agamba nti Nze ndi ddoboozi ly'omuntu ayogerera waggulu mu ddungu nti Muluŋŋamye oluguudo lwa Mukama, nga nnabbi Isaaya bwe yayogera.
24 Abaatumibwa baali ba mu Bafalisaayo.
25 Ne bamubuuza, ne bamugamba nti Oba ggwe toli Kristo, oba Eriya, oba nnabbi oli, kale kiki ekikubatizisa?
26 Yokaana n'abaddamu, ng'agamba nti Nze mbatiza n'amazzi: wakati mu mmwe ayimiridde omuntu gwe mutamanyi,
27 ajja ennyuma wange, so nange sisaanira kusumulula lukoba lwa ngatto ye.
28 Ebyo byakolerwa Bessaniya, emitala wa Yoludaani, Yokaana gye yabatirizanga.
29 Olunaku olw'okubiri n'alaba Yesu ng'ajja gy'ali, n'agamba nti Laba, Omwana gw'endiga gwa Katonda, aggyawo ebibi by'ensi!
30 oyo gwe nnagamba nti Ennyuma wange ejjayo omuntu ansinga: kubanga ye yali ow'olubereberye ku nze.
31 Nange saamumanya: naye ayolesebwe Isiraeri, kyennava njija nga mbatiza n'amazzi.
32 Yokaana n'ategeeza ng'agamba nti Nnalaba Omwoyo ng'ava mu ggulu ng'ejjiba; n'abeera ku ye.
33 Nange saamumanya: naye eyantuma okubatiza n'amazzi, ye yaŋŋamba nti Ggwe oliraba Omwoyo ng'akka ng'abeera ku ye, oyo ye abatiza n'Omwoyo Omutukuvu.
34 Nange ne ndaba, ne ntegeeza nti oyo ye Mwana wa Katonda.
35 Olunaku olwaddirira nate Yokaana yali ayimiridde n'ab'oku bayigirizwa be babiri;
36 n'atunuulira Yesu ng'atambula, n'agamba nti Laba, Omwana gw'endiga gwa Katonda!
37 Abayigirizwa abo ababiri ne bawulira ng'ayogera, ne bagoberera Yesu.
38 Yesu n'akyuka n'abalaba nga bamugoberera, n'abagamba nti Munoonya ki? Ne bamugamba nti Labbi (amakulu gaakyo bwe kitegeezebwa nti Omuyigiriza), osula wa?
39 N'abagamba nti Mujje, munaalabawo. Ne bajja ne balaba w'asula; ne basula ewuwe olunaku olwo: obudde bwali nga ssaawa ya kkumi.
40 Andereya, muganda wa Simooni Peetero, ye omu ku bali ababiri abaawulira Yokaana ng'ayogera, ne bamugoberera.
41 Ye n'asooka okulaba muganda we ye Simooni, n'amugamba nti Tulabye Kristo, amakulu gaakyo bwe kitegeezebwa nti Eyafukibwako amafuta.
42 N'amuleeta eri Yesu. Yesu n'amutunuulira, n'agamba nti Ggwe Simooni omwana wa Yokaana: onooyitibwanga Keefa, (amakulu gaalyo bwe litegeezebwa nti Peetero).
43 Olunaku olwaddako yayagala okuvaayo okugenda e Ggaliraaya, n'alaba Firipo: Yesu n'amugamba nti Ngoberera.
44 Naye Firipo yali w'e Besusayida, mu kibuga kya Andereya ne Peetero.
45 Firipo n'alaba Nassanayiri n'amugamba nti Tulabye oyo Musa gwe yawandiikako mu mateeka ne bannabbi, Yesu, omwana wa Yusufu, ow'e Nazaaleesi.
46 Nassanayiri n'amugamba nti Mu Nazaaleesi muyinza okuvaamu ekintu ekirungi? Firipo n'amugamba nti Jjangu olabe.
47 Yesu n'alaba Nassanayiri ng'ajja gy'ali, n'amwogerako nti Laba Omuisiraeri wawu, ataliimu bukuusa!
48 Nassanayiri n'amugamba nti Wantegeerera wa? Yesu n'addamu n'amugamba nti Firipo bw'abadde tannakuyita, bw'obadde mu mutiini, ne nkulaba.
49 Nassanayiri n'amuddamu nti Labbi, ggwe Mwana wa Katonda: ggwe Kabaka wa Isiraeri.
50 Yesu n'addamu n'amugamba nti Kubanga nkugambye nti nkulabye mu mutiini okkirizza? oliraba ebikulu okukira ebyo.
51 N'amugamba nti Ddala ddala mbagamba nti Muliraba eggulu nga libikkuse, ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakkira ku Mwana w'omuntu.