Yokaana

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21

0:00
0:00

Essuula 21

Oluvannyuma lw'ebyo Yesu ne yeeraga nate mu bayigirizwa be ku nnyanja eye Tiberiya; ne yeeraga bw'ati.
2 Baali bali wamu Simooni Peetero, ne Tomasi ayitibwa Didumo, ne Nassanayiri ow'e Kaana eky'e Ggaliraaya, n'abaana ba Zebbedaayo, n'abayigirizwa be abalala babiri.
3 Simooni Peetero n'abagamba nti ŋŋenda kuvuba. Ne bamugamba nti Naffe tugenda naawe. Ne bagenda, ne basaabala mu lyato; ekiro ekyo ne batakwasa kintu.
4 Naye bwali bukya Yesu n'ayimirira ku ttale: naye abayigirizwa ne batamanya nga ye Yesu.
5 Awo Yesu n'abagamba nti Abaana, mulina ekyokuliira? Ne bamuddamu nti Tetulina.
6 N'abagamba nti Musuule omugonjo ku luuyi olwa ddyo olw'eryato, munaakwasa. Awo ne basuula, kale nga tebakyayinza kuguwalula olw'ebyennyanja ebingi.
7 Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga n'agamba Peetero nti Ye Mukama waffe. Awo Simooni Peetero bwe yawulira nga ye Mukama waffe ne yeesiba olugoye (kubanga yali bwereere) ne yeesuula mu nnyanja.
8 Naye abayigirizwa abalala ne bajjira mu lyato ettono (kubanga baali tebali wala n'ettale, naye emikono nga bikumi bibiri,) nga bawalula omugonjo ogulimu ebyennyanja.
9 Awo bwe baavaamu ne batuuka ku ttale, ne balaba omuliro ogw'amanda nga guli awo n'ebyennyanja nga biteekeddwako, n'omugaati.
10 Yesu n'abagamba nti Muleete ku byennyanja bye mukwasizza kaakano.
11 Awo Simooni Peetero n'asaabala, n'awalulira omugonjo ku ttale, nga gujjudde ebyennyanja ebinene, kikumi mu ataano mu bisatu: naye newakubadde nga byali bingi bwe bityo, omugonjo ne gutakutuka.
12 Yesu n'abagamba nti Mujje mulye. So mu bayigirizwa ne mutaba muntu eyayaŋŋanga okumubuuza nti Ggwe ani, nga bamanyi nga ye Mukama waffe.
13 Yesu n'ajja, n'addira omugaati, n'abawa, n'ebyennyanja bw'atyo.
14 Guno gwe mulundi ogw'okusatu Yesu bwe yalabika mu bayigirizwa, oluvannyuma ng'amaze okuzuukira mu bafu.
15 Awo bwe baamala okulya, Yesu n'agamba Simooni Peetero nti Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala okukira bano? N'amugamba nti Weewaawo, Mukama wange; ggwe omanyi nga nkwagala. N'amugamba nti Liisanga abaana b'endiga bange.
16 N'amugamba nate omulundi ogw'okubiri nti Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala? N'amugamba nti Weewaawo, Mukama wange; ggwe omanyi nga nkwagala. N'amugamba nti Lundanga endiga zange.
17 N'amugamba omulundi ogw'okusatu nti Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala? Peetero n'anakuwala kubanga amugambye omulundi ogw'okusatu nti Onjagala? N'amugamba nti Mukama wange, ggwe omanyi byonna; ggwe otegeera nga nkwagala. Yesu n'amugamba nti Liisanga endiga zange.
18 Ddala ddala nkugamba nti Bwe wali omuvubuka, weesibanga n'ogenda gy'oyagala yonna: naye bw'olikaddiwa, oligolola emikono gyo, omulala alikusiba, alikutwala gy'otoyagala.
19 Yayogera bw'atyo, ng'alaga okufa kw'alifa okugulumiza Katonda. Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'amugamba nti Ngoberera.
20 Peetero bwe yakyuka, n'alaba omuyigirizwa Yesu gwe yayagalanga ng'agoberera; era oyo ye yagalamira mu kifuba kye ku mmere ey'ekyeggulo, n'agamba nti Mukama wange, ani anaakulyamu olukwe?
21 Awo Peetero bwe yalaba oyo n'agamba Yesu nti Mukama wange, n'ono aliba ki?
22 Yesu n'amugamba nti Bwe njagala abeerewo okutuusa we ndijjira, ofaayo ki? ggwe goberera nze.
23 Awo ekigambo ekyo ne kibuna mu b'oluganda nti omuyigirizwa oyo talifa: so nga Yesu teyamugamba nga talifa; naye nti Bwe njagala abeerewo okutuusa we ndijjira, ofaayo ki?
24 Oyo ye muyigirizwa eyategeeza bino, n'awandiika bino; naffe tumanyi ng'okutegeeza kwe kwa mazima.
25 Nate waliwo ebirala bingi Yesu bye yakola, nabyo bwe biwandiikibwa kinnakimu ndowooza nti n'ensi zonna tezandigiddemu bitabo ebyandiwandiikiddwa.