1 Timoseewo

Essuula : 1 2 3 4 5 6

0:00
0:00

Essuula 4

Naye Omwoyo ayogera lwatu nti mu nnaku ez'oluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bawulira emyoyo egikyamya n'okuyigiriza kwa basetaani,
2 olw'obunnanfuusi bw'abalimba, nga bookebwa emyoyo gyabwe nga n'ekyuma ekyokya,
3 nga bawera okufumbiriganwanga era nga balagira okulekanga ebiriibwa, Katonda bye yatonda biriirwenga mu kwebaza abakkiriza ne bategeerera ddala amazima.
4 Kubanga buli kitonde kya Katonda kirungi, so siwali kya kusuula bwe kitoolebwa n'okwebaza:
5 kubanga kitukuzibwa na kigambo kya Katonda n'okusaba.
6 Bw'onojjukizanga ab'oluganda ebyo, onoobaaga muweereza mulungi owa Kristo Yesu, ng'okulira mu bigambo eby'okukkiriza n'eby'okuyigiriza okulungi kwe wagoberera:
7 naye enfumo ezitali za ddiini ez'obusirusiru z'oba olekanga. Weemanyiizenga okutya Katonda:
8 kubanga okwemanyiiza kw'omubiri kugasa akaseera katono; naye okutya Katonda kugasa mu byonna, kubanga kulina okusuubiza kw'obulamu obwa kaakano n'obw'obugenda okujja.
9 Ekigambo ekyo kyesigwa era ekisaanira okukkirizibwa kwonna.
10 Kubanga kyetuva tutegana ne tufuba, kubanga twasuubira Katonda omulamu, Omulokozi w'abantu bonna, okusinga w'abakkiriza,
11 Lagiranga ebyo obiyigirizenga,
12 Omuntu yenna takunyoomanga lwa buvubuka bwo; naye beeranga kya kulabirako eri abo abakkiriza mu kwogeranga, mu kutambulanga: mu kwagalanga, mu kukkirizanga, mu kubanga omulongoofu.
13 Okutuusa lwe ndijja, nyiikiranga mu kusoma, n'okubuuliriranga, n'okuyigirizanga.
14 Tolekanga kirabo ekiri mu ggwe, kye waweebwa olw'obunnabbi awamu n'okuteekebwako emikono gy'abakadde.
15 Ebyo obirowoozenga, obeerenga mu ebyo; okuyitirira kwo kulabikenga eri bonna.
16 Weekuumenga wekka n'okuyigiriza kwo. Nyiikiriranga mu ebyo; kubanga bw'okola bw'otyo, olyerokola wekka era n'abo abakuwulira.