1 Timoseewo

Essuula : 1 2 3 4 5 6

0:00
0:00

Essuula 6

Abali mu bufuge abaddu balowoozenga bakama baabwe bennyini nga basaanidde ekitiibwa kyonna, erinnya lya Katonda n'okuyigiriza kwaffe biremenga okuvumibwa.
2 Era abalina bakama baabwe abakkiriza tebabanyoomanga, kubanga ba luganda; naye beeyongere okubaweerezanga, kubanga abassa ekimu mu kukolwa obulungi bakkiriza era baagalwa. Yigirizanga ebyo obibuulirirenga.
3 Omuntu yenna bw'ayigirizanga obulala, so nga takkiriza bigambo bya bulamu, bye bya Mukama waffe Yesu Kristo, n'okuyigiriza okugobereranga okutya Katonda;
4 nga yeekulumbaza, nga taliiko ky'ategeera, wabula okukalambiza obukalambiza empaka n'entalo ez'ebigambo, omuva obuggya, okuyomba, okuvuma, okuteerera obubi,
5 okukaayana kw'abantu abayonooneka amagezi, abaggibwako amazima, nga balowooza ng'okutya Katonda kwe kufuna amagoba.
6 Naye okutya Katonda wamu n'obutayaayaananga ge magoba amangi:
7 kubanga tetwaleeta kintu mu nsi, kubanga era tetuyinza kuggyamu kintu;
8 naye bwe tuba n’emmere n'ebyokwambala, ebyo binaatumalanga.
9 Naye abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego n'okwegomba okungi okw'obusirusiru okwonoona, okunnyika abantu mu kubula n'okuzikirira.
10 Kubanga okwagala ebintu kye kikolo ky'ebibi byonna: waliwo abantu abayaayaanira ebyo, ne bakyamizibwa okuva mu kukkiriza, ne beefumitira ddala n'ennaku ennyingi.
11 Naye ggwe, omuntu wa Katonda, ddukanga ebyo,ogobererenga obutuukirivu, okutya Katonda, okukkiriza, okwagala, okugumiikiriza, obuwombeefu.
12 Lwananga okulwana okulungi okw'okukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo, bwe wayitirwa, n'oyatula okwatula okulungi mu maaso g'abajulirwa abangi.
13 Nkukuutirira mu maaso ga Katonda, awa byonna obulamu, ne Kristo Yesu eyategeeza okwatula okulungi eri Pontio Piraato;
14 weekuumenga ekiragiro awatali bbala, awatali kya kunenyezebwa, okutuusa ku kulabika kwa Mukama waffe Yesu Kristo:
15 kw'aliraga mu ntuuko zaakwo Nannyini buyinza yekka atenderezebwa, Kabaka wa bakabaka, era Mukama w'abaami;
16 alina obutafa yekka, atuula mu kutangaala okutasemberekeka; omuntu yenna gw'atalabangako, so siwali ayinza okumulaba: aweebwenga ekitiibwa n'obuyinza obutaggwaawo. Amiina.
17 Okuutirenga abagagga ab'omu mirembe gya kaakano obuteegulumizanga, newakubadde okwesiga obugagga obutali bwa lubeerera, wabula Katonda, atuwa byonna olw'obugagga tulyoke twesanyusenga n'ebyo;
18 bakolenga obulungi, babeerenga abagagga mu bikolwa ebirungi, babeerenga bagabi, bassenga kimu;
19 nga beeterekera eky'okuyimako ekirungi olw'ebiro ebigenda okujja, balyoke banywezenga obulamu ddala ddala.
20 Ai Timoseewo, kuumanga kye wateresebwa, nga weewala ebigambo ebitaliimu ebitali bya Katonda n'okulwana kw'ebigambo eby'okutegeera, okuyitibwa bwe kutyo mu bulimba;
21 waliwo abantu abeegomba okuba nakwo, ne bakyama mu kukkiriza. Ekisa kibeerenga nammwe.