Okukkiriza

0:00
0:00

  • Kale okukkiriza kuva mu kuwulira, n'okuwulira mu kigambo kya Kristo. - Abaruumi Romans10:17
  • Weesigenga Mukama n'omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe:Mwatulenga mu makubo go gonna, Kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo. - Engero 3:5, 6
  • Yesu n'amugamba nti Oba ng'oyinza! byonna biyinzika eri akkiriza. - Makko Mark 9:23
  • Omuntu yenna bw'aba mu Kristo kyava abeera ekitonde ekiggya: eby'edda nga biweddewo; laba, nga bifuuse biggya. - 2 Abakkolinso 2 Corinthians 5:17
  • Kubanga tewali kigambo ekiva eri Katonda kiribulwa maanyi. - Lukka Luke 1:37
  • N'alyoka akoma ku maaso gaabwe ng'agamba nti Nga bwe mukkirizza kibeere gye muli bwe kityo. - Matayo Matthew 9:29
  • Okukkiriza kye kinyweza ebisuubirwa kye kitegeereza ddala ebigambo ebitalabika. - Abaebbulaniya Hebrews 11:1
  • Naye oba ng'omuntu yenna ku mmwe aweebuuka mu magezi, asabenga Katonda atamma awa bonna so takayuka; era galimuweebwa.Naye asabenga mu kukkiriza, nga taliiko ky'abuusabuusa: kubanga abuusabuusa afaanana ng'ejjengo ery'ennyanja eritwalibwa empewo ne lisuukundibwa.Kubanga omuntu oyo talowoozanga ng'aliweebwa ekintu kyonna eri Mukama waffe; omuntu ow'emyoyo ebiri, atanywera mu makubo ge gonna. - Yakobo James 1:5-8
  • era awataba kukkiriza tekiyinzika kusiimibwa: kubanga ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w'empeera eri abo abamunoonya. - Abaebbulaniya Hebrews 11:6
  • Kuba ng'omubiri awatali mwoyo bwe guba nga gufudde, era n'okukkiriza bwe kutyo awatali bikolwa nga kufudde. - Yakobo James 2:26
  • Naye oyo abuusabuusa azza musango bw'alya, kubanga talya mu kukkiriza; na buli ekitava mu kukkiriza, kye kibi. - Abaruumi Romans 14:23
  • Naye omutuukirivu wange aliba mulamu lwa kukkiriza: Era bw'addayo ennyuma, emmeeme yange temusanyukira. - Abaebbulaniya Hebrews 10:38
  • Newakubadde ng'anzita era naye naamulindiriranga: Era naye naakakasanga amakubo gange mu maaso ge. - Yobu Job 13:15
  • Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda, Omutukuvu owa Isiraeri nti Mu kudda ne mu kuwummula mwe mulirokokera; mu kutereera ne mu kwesiga mwe muliba amaanyi gammwe: mmwe ne mutayagala. - Isaaya Isaiah 30:15
  • oba nga tetukkiriza, ye abeera mwesigwa kubanga tayinza kwerimba. 2 Timoseewo 2:13
  • Kubanga buli ekyazaalibwa Katonda kiwangula ensi; era kuno kwe kuwangula okwawangula ensi, okukkiriza kwaffe. - 1 Yokaana 1John 5:4
  • era ku ebyo byonna nga mukwatiddeko engabo ey'okukkiriza, eneebayinzisanga okuzikiza obusaale bwonna obw'omuliro obw'omubi. - Abaefeeso Ephesians 6:16
  • N'abagamba nti Olw'okukkiriza kwammwe okuba okutono: kubanga ddala mbagamba nti Singa mulina okukkiriza okwenkana ng'akaweke ka kaladaali, bwe muligamba olusozi luno nti Vaawo wano genda wali; kale luligenda; so singa tewali kigambo kye mutayinza. - Matayo Matthew 17:20
  • nga tutunuulira Yesu yekka omukulu w'okukkiriza kwaffe era omutuukiriza waakwo, olw'essanyu eryateekebwa mu maaso ge eyagumiikiriza omusalaba, ng'anyooma ensonyi, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogw'entebe ya Katonda. - Abaebbulaniya Hebrews 12:2
  • Kale bwe twaweebwa obutuukirivu olw'okukkiriza, tubeerenga n'emirembe eri Katonda ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, - Abaruumi Romans 5:1
  • Yesu n'addamu n'abagamba nti Mube n'okukkiriza mu Katonda. - Makko Mark 11:22
  • Obwo bwe mujagulizaamu, newakubadde nga mwanakuwazibwa mu kukemebwa okutali kumu akaseera akatono kaakano, oba nga kibagwanira,okugezebwa kw'okukkiriza kwammwe okusinga omuwendo ezaabu eggwaawo, newakubadde ng'egezebwa mu muliro, kulyoke kulabike okuleeta ettendo n'ekitiibwa n'okugulumizibwa Yesu Kristo bw'alibikkulibwa:gwe mwagala nga temunnaba kumulaba: gwe mutalaba kaakano naye mumukkiriza, ne mujaguza essanyu eritayogerekeka, eririna ekitiibwa: nga muweebwa ekyabakkirizisa, bwe bulokozi bw'obulamu - 1 Peetero 1:6-9