Okwagala

0:00
0:00

  • Naye kaakano waliwo okukkiriza, okusuubira, okwagala, ebyo byonsatule; naye ku ebyo ekisinga obukulu kwagala. - 1 Abakkolinso 1 Corinthians 13:13
  • Naye n'amugamba nti Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna.Kino kye kiragiro ekikulu eky'olubereberye.N'eky'okubiri ekikifaanana kye kino nti Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.Mu biragiro bino byombi amateeka gonna mwe gasinziira, era ne bannabbi. - Matayo Matthew 22:37-40
  • Kubanga Katonda bwe yayagala ensi bw'ati, n'okuwaayo n'awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka buli muntu yenna amukkiriza aleme.okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo. - Yokaana John 3:16
  • okusinga byonna nga mulina okwagalananga okungi ennyo mwekka na mwekka: kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi: - 1 Peetero 1 Peter 4:8
  • Ku kino kwe tutegeerera okwagala, kubanga oyo yawaayo obulamu bwe ku lwaffe: naffe kitugwanira okuwangayo obulamu bwaffe ku lw'ab'oluganda.Naye buli alina ebintu eby'omu nsi, n'atunuulira muganda we nga yeetaaga, n'amuggalirawo emmeeme ye, okwagala kwa Katonda kubeera kutya mu ye?Abaana abato, tuleme okwagalanga mu kigambo ne mu lulimi, wabula mu kikolwa ne mu mazima. - 1 Yokaana 1John 3:16-18
  • Abaagalwa, twagalanenga: kubanga okwagala kuva eri Katonda; na buli muntu yenna ayagala yazaalibwa Katonda era ategeera Katonda.Atayagala tategeera Katonda; kubanga Katonda kwagala. - 1 Yokaana 1John 4:7, 8
  • Kubanga amateeka gonna gatuukirira mu kigambo kimu, mu kino nti Oyagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka. - Abaggalatiya Galatians 5:14
  • Oba nga munjagala, munaakwatanga ebiragiro byange. - Yokaana John 14:15
  • Ne Kabaka aliddamu alibagamba nti Mazima mbagamba nti Nga bwe mwakola omu ku abo baganda bange abasinga obuto, mwakikola nze. - Matayo Matthew 25:40
  • Kale byonna bye mwagala abantu okubakolanga mmwe, nammwe mubakolenga bo bwe mutyo: kubanga ekyo ge mateeka ne bannabbi. - Matayo Matthew 7:12
  • nga muzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw'abeeranga n'ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe bwe mutyo: ku ebyo byonna era mwambale okwagalana, kye kintu ekinyweza okutuukirira. - Abakkolosaayi Colossians 3:13, 14
  • Byonna bye mukola bikolebwenga mu kwagala. - 1 Abakkolinso 1 Corinthians 16:14
  • Tewali alina kwagala kunene okusinga kuno omuntu okuwaayo obulamu bwe olwa mikwano gye. - Yokaana John 15:13
  • Ffe twagala, kubanga ye yasooka okutwagala ffe. - 1 Yokaana 1John 4:19
  • Kubanga ntegeeredde ddala nga newakubadde okufa, newakubadde obulamu, newakubadde bamalayika, newakubadde abafuga, newakubadde ebiriwo, newakubadde ebigenda okubaawo, newakubadde amaanyi,newakubadde obugulumivu, newakubadde okugenda wansi, newakubadde ekitonde kyonna ekirala, tebiiyinzenga kutwawukanya na kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe. - Abaruumi Romans 8:38, 39
  • Etteeka eriggya mbawa nti Mwagalanenga; nga bwe nnabaagalanga mmwe, era nammwe mwagalanenga.Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n'okwagalana mwekka na mwekka. - Yokaana John 13:34, 35
  • Alina ebiragiro byange, n'abikwata, oyo nga ye anjagala: anjagala anaayagalibwanga Kitange, nange nnaamwagalanga, nnaamulabikiranga.Yuda (atali Isukalyoti; n'amugamba nti Mukama waffe; kibadde kitya ggwe okugenda okutulabikita ffe, so si eri ensi?Yesu n'addamu n'amugamba nti Omuntu bw'anjagala, anaakwatanga ekigambo kyange: ne Kitange anaamwagalanga, era tunajjanga gy'ali, tunaatuulanga gy'ali. Atanjagala takwata bigambo byange: n'ekigambo kye muwulira si kyange, naye kya Kitange eyantuma. - Yokaana 14:21-24
  • Okwagala kubeerenga kw’amazima. Mukyawenga obubi, mwegattenga n'obulungi. - Abaruumi Romans 12:9
  • Abaagalwa, nga Katonda bwe yatwagala bw'atyo, naffe kitugwanira okwagalananga. - 1 Yokaana 1John 4:11
  • Era tulina ekiragiro kino ekyava gy'ali, ayagala Katonda ayagalenga ne muganda we. - 1 Yokaana 1John 4:21
  • Ne kaakano, Isiraeri, Mukama Katoada wo akwagaza ki wabula okutyanga Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n'okumwagala, n’okuweereza Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, Ekyamateeka Deuteronomy 10:12
  • Mukama mmutadde mu maaso gange bulijjo. Kubanga ye ali ku mukono gwange ogwa ddyo, sirisagaasagana. Omutima gwange kyeguva gusanyuka n'ekitiibwa kyange kijaguza: Era n'omubiri gwange gunaabeeranga mu mirembe. Zabbuli Psalms 16:8, 9
  • Ng'empeewo bw'ewejjawejja olw'amazzi, Bw'etyo n'emmeeme yange bw'ewejjawejja ku lulwo, ai Katonda.Emmeeme yange erumwa enjala ku lwa Katonda, ku lwa Katonda omulamu: Ndituuka ddi ne ndabika mu maaso ga Katonda? Zabbuli Psalms 42:1, 2
  • Ai Katonda, ggwe oli Katonda wange; naakeeranga okukunoonya Emmeeme yange erumwa ennyonta eri ggwe, omubiri gwange gwegomba ggwe, Mu nsi enkalu ekooyesa, omutali mazzi. Zabbuli Psalms 63:1
  • Emmeeme yange efuga okukugoberera: Omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira. Zabbuli 63:8
  • Ani gwe nnina mu ggulu wabula ggwe? So tewali mu nsi gwe njagala wabula ggwe.Omubiri gwange n'omutima gwange bimpwako: Naye Katonda ge maanyi g'omutima gwange n'omugabo gwange emirembe gyonna. Zabbuli Psalms 73:25, 26
  • Kubanga akkusa emmeeme eyeegomba, N'emmeeme erumwa ennyonta agijjuza ebirungi. Zabbuli Psalms 107:9
  • Mwagala Mukama, kubanga awulidde Eddoboozi lyange n'okwegayirira kwange.Kubanga antegedde okutu, Kyennaavanga mmukoowoola nga nkyali mulamu. Zabbuli Psalms 116:1, 2
  • Ettabaaza y'omubiri lye liiso: eriiso lyo bwe liraba awamu, omubiri gwo gwonna gunaabanga n'okutangaala. Matayo Matthew 6:22
  • Naye musooke munoonye obwakabaka bwe n'obutuukirivu bwe; era ebyo byonna mulibyongerwako. Matayo Matthew 6:33
  • Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba ba luganda, oba bannyina, oba kitaawe, oba nnyina, oba baana, oba byalo, olw'erinnya lyange, aliweebwa emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo. Matayo Matthew 19:29
  • Mubeere mu nze, nange mu mmwe. Ng'ettabi bwe litayinza kubala bibala lyokka, bwe litabeera mu muzabbibu, bwe kityo nammwe temuyinza, bwe mutabeera mu nze. Yokaana John 15:4
  • Mulowoozenga ebiri waggulu, so si ebiri ku nsi. Abakkolosaayi Colossians 3:2
  • Kubanga kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwataaga ebiragiro bye: era ebiragiro bye tebizitowa. 1 Yokaana 1John 5:3