0:00
0:00

Essuula 2

Ekigambo Isaaya omwana wa Amozi kye yalaba ku Yuda ni Yerusaalemi.
2 Awo olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma, olusozi olw'ennyumba ya Mukama lulinywezebwa ku ntikko y'ensozi era luligulumizibwa okukira ensozi; era amawanga gonna galikulukutira ku lwo.
3 Era amawanga mangi agalyambuka ne googera nti Mujje, twambuke eri olusozi lwa Mukama, eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; era anaatuyigirizanga ku makubo ge, naffe tunaatambuliranga mu mpenda ze kubanga mu Sayuuni mwe mulifuluma amateeka, n'ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi.
4 Era aliramula mu mawanga, era alinenya abantu bangi: era baliweesa ebitala byabwe okubifuula enkumbi, n'amafumu gaabwe okugafuula ebiwabyo eggwanga teririyimusa kitala eri eggwanga linnaalyo, so tebaliyiga kulwana nate.
5 Mmwe ennyumba ya Yakobo mujje tutambulire mu musana gwa Mukama.
6 Kubanga waleka abantu bo ennyumba ya Yakobo, kubanga bajjudde empisa ezaava ebuvanjuba, era balaguzi nga Abafirisuuti, era bakubagana mu ngalo n'abaana b'ab'amawanga.
7 Era ensi yaabwe ejjudde effeeza n'ezaabu, so n'obugagga bwabwe tebuliiko gye bukoma; era ensi yaabwe ejjudde embalaasi, so n'amagaali gaabwe tegaliiko gye gakoma.
8 Era ensi yaabwe ejjudde ebifaananyi; basinza omulimu gw'emikono gyabwe bo, engalo zaabwe bo gwe zaakola.
9 Omukopi n'avuunama, n'omukulu yeetoowaza: kyova olema okubasonyiwa.
10 Yingira mu lwazi, weekweke mu nfuufu, mu maaso g'entiisa ya Mukama, ne mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe;
11 Okulalambala kw'abantu kuliwanulibwa, n'amalala g'abantu galikutamizibwa, era Mukama yekka ye aligulumizibwa ku lunaku olwo.
12 Kubanga walibaawo olunaku lwa Mukama ow'eggye eri ebyo byonna ebyekuza ebirina amalala, n'eri byonna ebigulumizibwa; era biriwanulibwa:
13 n'eri enfugo zonna eza Lebanooni, empanvu ezigulumizibwa, n'eri emivule gyonna egya Basani;
14 n'eri ensozi zonna empanvu, n'eri obusozi bwonna obugulumizibwa;
15 n'eri buli kigo ekiwanvu, n'eri buli bbugwe aliko ekkomera;
16 n'eri ebyombo byonna eby'e Talusiisi, n'eri ebifaananyi byonna eby'okwesiima.
17 Era okugulumizibwa kw'abantu kulikutamizibwa, n'amalala g'abantu galiwanulibwa; era Mukama yekka ye aligulumizibwa ku lunaku olwo.
18 N'ebifaananyi biriggweerawo ddala.
19 Era abantu baligenda mu mpuku ez'amayinja, ne mu bunnya obw'ettaka, okuva mu maaso g'entiisa ya Mukama, ne mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe, bw'aligolokoka okukankanya ensi n'amaanyi.
20 Ku lunaku olwo omuntu alisuulira ddala ebifaananyi bye eby'effeeza n'ebifaananyi bye eby'ezaabu, bye baamukolera okusinzanga, eri emmese n'eri ebinyira;
21 bagende mu mpuku ez'amayinja, ne mu nkonko ez'amayinja amaatifu, okuva mu maaso g'entiisa ya Mukama, ne mu maaso g'ekitiibwa ky'obukulu bwe, bw'aligolokoka okukankanya ensi n'amaanyi.
22 Muleke abantu, omukka gwabwe guli mu nnyindo zaabwe: kubanga ekinaaba kibalowoozesa kiki?