0:00
0:00

Essuula 58

Yogerera waggulu, tota, yimusa eddoboozi lyo ng'ekkondeere, obuulire abantu bange okusobya kwabwe, n'ennyumba ya Yakobo ebibi byabwe.
2 Naye bannoonya bulijjo, era basanyuka okumanya amakubo gange: ng'eggwanga eryakolanga eby'obutuukirivu, ne bataleka kiragiro kya Katonda waabwe, bansaba ebiragiro eby'obutuukirivu; basanyuka okusemberera Katonda.
3 Lwaki ffe okusiiba, bwe boogera, naawe n'otolaba? lwaki ffe okubonyaabonya obulamu bwaffe, naawe n'otokissaako mwoyo? Laba, ku lunaku olw'okusiiba kwammwe kwe mulabira essanyu lyammwe mmwe, n'emirimu gyammwe gyonna nga mukoze n'amaanyi.
4 Laba, musiibira ennyombo n'okuwakana, n'okukuba ekikonde eky'ettima: temusiiba leero bwe mutyo n'okuwuliza ne muwuliza eddoboozi lyammwe mu ggulu.
5 Okusiiba kwe nnalonda bwe kufaanana bwe kutyo? Olunaku omuntu lw'abonyezabonyezaako obulamu bwe? Kwe kukutamya omutwe ng'olulago, n'okwaliira ebibukutu n'evvu wansi we? ekyo ky'onooyita okusiiba, era olunaku Mukama lw'asiima?
6 Kuno si kwe kusiiba kwe nnalonda? okusumulula ebisiba eby'ekyejo, okufunduukulula emigwa egy'ekikoligo, n'okuteera ddala abajoogebwa, era mumenye buli kikoligo?
7 Si kugabira bayala emmere yo, n'oleeta abaavu abagobebwa mu nnyumba yo? bw'olabanga ali obwereere n'omwambaza; n'oteekisa mubiri gwo ggwe?
8 Kale omusana gwo ne gulyoka gusala ng'emmambya, n'okuwona kwo ne kwanguwa okujja: n'obutuukirivu bwo bulikukulembera; ekitiibwa kya Mukama kye kirikusemba.
9 N'olyoka oyita Mukama n'ayitaba; olikaaba naye alyogera nti Nze nzuuno. Bw'onoggya wakati wo ekikoligo, okulaga olunwe, n'okwogera obubi;
10 n'omuggirawo omuyala obulamu bwo, n'okkusa obulamu obubonyaabonyezebwa; kale omusana gwo ne gulyoka guviirayo mu kizikiza, n'ekifu kyo kiriba ng'ettuntu:
11 era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna, n'akkusa obulamu bwo mu bifo ebikalu n'anyweza amagumba go; naawe onoobanga ng'olusuku olufukirirwa amazzi era ng'oluzzi lw'amazzi olutaggwaamu mazzi.
12 N'abo abalikuvaamu balizimba ebifo eby'edda ebyazika: olizza emisingi egy'emirembe emingi: era oliyitibwa nti Muzibi wa kituli, Muzza wa makubo ga kutuulamu.
13 Bw'onookyusanga ekigere kyo okuva ku ssabbiiti obutakolanga by'oyagala ggwe ku lunaku lwange olutukuvu; ssabbiiti n'ogiyita essanyu, olunaku lwa Mukama olutukuvu olw'ekitiibwa; n'ogissangamu ekitiibwa, nga tokwata makubo go ggwe, so nga tonoonya by'oyagala ggwe, era nga toyogera bigambo byo ggwe:
14 kale n'olyoka osanyukira Mukama; nange ndikwebagaza ku bifo ebigulumivu eby'ensi; era ndikuliisa obusika bwa Yakobo kitaawo: kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.