0:00
0:00

Essuula 52

Zuukuka, zuukuka, yambala amaanyi go, ggwe Sayuuni; yambala ebyambalo byo eby'obuyonjo, ggwe Yerusaalemi, ekibuga ekitukuvu: kubanga okuva leero temukyayingiranga mu ggwe nate atali mukomole n'atali mulongoofu.
2 Weekunkumule enfuufu; golokoka otuule wansi, ggwe Yerusaalemi: weesumulule enjegere ez'omu bulago bwo, ggwe omuwala wa Sayuuni eyanyagibwa.
3 Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mwatundirwa bwereere; era mulinunulibwa awatali ffeeza.
4 Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda nti Olubereberye abantu bange baaserengeta e Misiri okutuulayo: Omwasuli n'abajooga ng'abalanga bwereere.
5 Kale nno kaakano nkola ki wano, bw'ayogera Mukama, kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere? abo ababafuga bawowoggana, bw'ayogera Mukama, n'erinnya lyange bazibya obudde bulijjo okulivuma.
6 Abantu bange kyebaliva bamanya erinnya lyange: kyebaliva bamanya ku lunaku luli nga nze nzuuyo ayogera; laba, nze nzuuno.
7 Nga birungi ku nsozi ebigere by'oyo aleeta ebigambo ebirungi, alanga emirembe, aleeta ebigambo ebirungi eby'obulungi, alanga obulokozi; agamba Sayuuni nti Katonda wo afuga!
8 Eddoboozi ly'abasajja bo abakuuma! bayimusa eddoboozi, bayimbira wamu; kubanga baliraba eriiso n'eriiso, Mukama bw'alikomawo e Sayuuni.
9 Mubaguke okusanyuka, muyimbire wamu, mmwe ebifo eby'e Yerusaalemi ebyazika: kubanga Mukama asanyusizza abantu be, anunudde Yerusaalemi.
10 Mukama afungizizza omukono gwe omutukuvu mu maaso g'amawanga gonna; n'enkomerero zonna ez'ensi ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe.
11 Mugende, mugende, muve omwo, temukomanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu; muve wakati mu ye: mubeerenga balongoofu, mmwe abasitula ebintu bya Mukama.
12 Kubanga temulivaamu nga mwanguyiriza so temuligenda nga mudduka: kubanga Mukama alibakulembera; era Katonda wa Isiraeri ye alibasemba.
13 Laba, omuweereza wange alikola n'amagezi, aliyimusibwa alisitulibwa, era aligulumira nnyo,
14 Ng'abangi bwe baakwewuunya, (amaaso ge gaayonooneka bwe gatyo okusinga omuntu yenna, n'embala ye okusinga abaana b'abantu,)
15 bw'atyo bw'alimansira amawanga amangi; bakabaka balibuniza obumwa bwabwe gy'ali: kubanga kye batabuulirwanga balikiraba; ne kye batawuliranga balikitegeera.