0:00
0:00

Essuula 46

Beri avuunama, Nebo akutama; ebifaananyi biri ku nsolo ne ku bisolo: ebintu bye mwatambuzatambuzanga bifuuse omugugu, omutwalo eri ensolo ekooye.
2 Bakutama bavuunama wamu; tebayinza kuwonya mugugu, naye bo bennyini bagenze mu kusibibwa.
3 Mumpulire ggwe ennyumba ya Yakobo, n'ekitundu kyonna ekifisseewo ku nnyumba ya Isiraeri, be nnaweekanga nze okuva mu lubuto, be nnasitulanga okuva munda:
4 n'okutuusa ku bukadde nze nzuuyo: n'okutuusa ku nvi naabasitulanga: nze nakola era nze naaweekanga: weewaawo, naasitulanga era naawonyanga.
5 Ani gwe mulinfaananya era gwe mulinnenkanya era gwe mulingererako tufaanane?
6 Abaggya ezaabu nnyingi mu nsawo ne bapima effeeza mu minzaani, bagulirira omuweesi wa zaabu n'agifuula katonda; bavuunamira, weewaawo, basinza.
7 Bamukongojja ku kibegabega, bamusitula ne bamusimba mu kifo kye n'ayimirira; mu kifo kye talisegukawo: weewaawo, walibaawo alimukaabirira, naye tayinza kwanukula newakubadde okumuwonya mu nnaku ze.
8 Mujjukire ekyo, mwerage obusajja: mukijjukire nate, mmwe aboonoonyi.
9 Mujjukire ebigambo ebyasooka eby'edda: kubanga nze Katonda so tewali mulala; nze Katonda so tewali anfaanana;
10 alanga enkomerero okuva ku lubereberye, n'ebigambo ebitannakolebwa okuva ku biro eby'edda; ayogera nti Okuteesa kwange kulinywera era ndikola bye njagala byonna:
11 ayita ennyonyi ey'amaddu akuva ebuvanjuba, omusajja ow'okuteesa kwange okuva mu nsi ey'ewala; weewaawo, nayogera, n'okutuukiriza ndikituukiriza; nateesa, n'okukola ndikikola.
12 Mumpulirize, mmwe abalina emitima emikakanyavu, abali ewala n'obutuukirivu:
13 nsembeza obutuukirivu bwange, tebuliba wala n'obulokozi bwange tebulirwawo era nditeeka obulokozi mu Sayuuni ku lwa Isiraeri ekitiibwa kyange.