0:00
0:00

Essuula 102

Wulira okusaba kwange, ai Mukama, Okukaaba kwange kutuuke gy'oli.
2 Tonkisa maaso go ku lunaku olw'okunakuwala kwange: Otege okutu kwo we ndi; Ku lunaku lwe nkoowoolerako ompitabe mangu.
3 Kubanga ennaku zange ziggwaawo ng'omukka, N'amagumba gange gookebwa ng'omumuli.
4 Omutima gwange gwokeddwa, guwotose ng'omuddo; Kubanga neerabira okulya emmere yange.
5 Olw'eddoboozi eryokusinda kwange Amagumba gange geegasse n'omubiri gwange.
6 Nninga kimbala ow'omu dduungu Nfuuse ng'ekiwuugulu eky'omu nsiko.
7 Ntunula, era nfuuse Ng'enkazaluggya etuula ku kitikkiro yokka.
8 Abalabe bange bazibya obudde okunvuma; Abandalukidde bandayira.
9 Kubanga ndidde evvu ng'omugaati, Era ntabudde kye nnywedde n'amaziga.
10 Olw'okunyiiga kwo n'obusungu bwo: Kubanga wannonda n'onsuula.
11 Ennaku zange ziri ng'ekisiikirize ekiggwaawo; Era mpotose ng'omuddo.
12 Naye ggwe, ai Mukama, onoobeereranga ennaku zonna: N'ekijjukizo kyo okutuusa emirembe gyonna.
13 Oligolokoka, olisaasira Sayuuni: Kubanga obudde butuuse okumusaasira, Weewaawo, obudde obwalagirwa butuuse.
14 Kubanga abaddu bo basanyukira amayinja ge, Era basaasira enfuufu ye.
15 Bwe gatyo amawanga gonna galitya erinnya lya Mukama, Ne bakabaka bonna ab'ensi balitya ekitiibwa kyo:
16 Kubanga Mukama azimbidde ddala Sayuuni, Alabikidde mu kitiibwa kye;
17 Alowoozezza okusaba kw'abo abafiiriddwa, So tanyoomye kusaba kwabwe.
18 Ekyo kiriwandiikirwa emirembe egirijja: N'eggwanga eriritondebwa liritendereza Mukama.
19 Kubanga atunuulidde wansi ng'ayima ku watukuvu we awagulumivu; Mukama yalaba ensi ng'ayima mu ggulu;
20 Okuwulira okusinda kw'omusibe; Okusumulula abo abateekerwawo okufa;
21 Abantu balyoke batenderenga erinnya lya Mukama mu Sayuuni N'ettendo lye mu Yerusaalemi;
22 Amawanga bwe galikuŋŋaana awamu, N'amatwale, okuweereza Mukama.
23 Yakendeeza ku maanyi gange mu kkubo; Yasala ku nnaku zange.
24 Ne njogera nti Ai Katonda wange, tontwalira ddala ng'ennaku zange tezinnaggwaawo: Emyaka gyo gibeerera emirembe gyonna.
25 Edda n'edda watandika ensi; N'eggulu gwe mulimu gw'emikono gyo.
26 Ebyo biriggwaawo, naye ggwe onoobeereranga: Weewaawo, ebyo byonna birikaddiwa ng'ekyambalo; Olibiwaanyisa ng'ekyambalo, n'ebyo biriwaanyisibwa:
27 Naye ggwe oba bumu, N'emyaka gyo tegirikoma.
28 Abaana b'abaddu bo banaabeerangawo. N'ezzadde lyabwe linaanywezebwanga mu maaso go.