0:00
0:00

Essuula 89

Naayimbanga ku kusaasira kwa Mukama ennaku zonna: N'akamwa kange naategeezanga ab'emirembe gyonna obwesigwa bwo.
2 Kubanga njogedde nti Okusaasira kunaanywezebwanga okutuusa emirembe n'emirembe; Era ne mu ggulu onoosimbanga obwesigwa bwo.
3 Ndagaanye endagaano n'abalonde bange, Ndayiridde Dawudi amuddu wange;
4 Ezzedde lyo nnaalinywezanga ennaku zonna, N'entebe yo naagizimbiranga ddala emirembe gyonna. (Seera)
5 N'eggulu linaatenderezanga eby'amagero byo, ai Mukama; Era n'obwesigwa bwo mu kkuŋŋaaniro ery'abatukuvu.
6 Kubanga ani mu ggulu gwe bayinza okugeraageranya ne Mukama? Ani ku baana b'abakulu ali nga Mukama.
7 Ye Katonda atiibwa ennyo mu lukiiko olw'abatukuvu, Agwaana okutiibwa okusinga bonna abamwetooloola?
8 Ai Mukama Katonda ow'eggye, Ani ow'amaanyi, afaanana nga ggwe, ai YA? N'obwesigwa bwo bukwetooloola.
9 Ggwe ofuga amalala g'ennyanja: Amayengo gaayo bwe gagolokoka, ogateesa.
10 Wamenyaamenya Lakabu ng'omuntu attibwa; Wasaasaanya abalabe bo n'omukono ogw'amaanyi go.
11 Eggulu liryo, era n'ensi yiyo: Ebintu byonna n'okujjula kwabyo wabiteekawo.
12 Obukiika obwa kkono n'obwa ddyo wabutonda: Taboli ne Kerumooni zisanyukira erinnya lyo.
13 Olina omukono ogw'amaanyi: Engalo zo za maanyi, n'omukono gwo ogwa ddyo gugulumizibwa.
14 Obutuukirivu n'omusango bye binyweza entebe yo: Okusaasira n'amazima bikulembera amaaso go.
15 Balina omukisa abantu abamanyi eddoboozi ery'essanyu: Ai Mukama, batambulira mu musana gw'amaaso go.
16 Basanyukira erinnya lyo okuzibya obudde; Era bagulumizibwa mu butuukirivu bwo.
17 Kubanga ggwe oli kitiibwa ky’amaanyi gaabwe: N'olw'ekisa kyo ejjembe lyaffe linaagulumizibwanga.
18 Kubanga Mukama ye nannyini ngabo yaffe; Era Omutukuvu wa Isiraeri ye nannyini kabaka waffe.
19 Mu biro biri wagambira abatukuvu bo mu kwolesebwa, N'oyogera nti Ntadde obuyambi ku muntu ow'amaanyi; Ngulumizizza omuntu eyalondebwa mu bantu.
20 Ndabye Dawudi omuddu wange; Mmufuseeko amafuta gange amatukuvu:
21 Engalo zange zinaanywezebwanga gy'ali; N'omukono gwange gunaamuwanga amaanyi.
22 Omulabe taamujoogenga: Newakubadde omwana w'obubi taamubonyeebonyenga.
23 Nange naasuulanga abanaalwananga naye mu maaso ge, Era naakubanga abanaamukyawanga.
24 Naye obwesigwa bwange n'okusaasira kwange binaabanga naye; Ne mu linnya lyange ejjembe lye linaagulumizibwanga.
25 Era naateekanga omukono gwe ku nnyanja, N'omukono gwe ogwa ddyo ku migga.
26 Anankaabiranga nti Ggwe kitange, Katonda wange, era ejjinja ery'obulokozi bwange.
27 Era ndimufuula omubereberye wange, Asinga bakabaka ab'ensi.
28 Naamuterekeranga okusaasira kwange emirembe n'emirembe, N'endagaano yange eneenyweranga gy'ali.
29 Era naawangaazanga ezzadde lye emirembe gyonna, N'entebe ye ng'ennaku ez'eggulu.
30 Abaana be bwe banaalekanga amateeka gange, Ne batatambuliranga mu misango gyange;
31 Bwe banaanyoomanga ebiragiro byange, Ne batakwatanga mateeka gange;
32 Nange najjiranga okwonoona kwabwe n'omuggo, N'obutali butuukirivu bwabwe n'okukuba.
33 Naye siimuggirengako ddala kusaasira kwange, So siiganyenga bwesigwa bwange okuweebuuka.
34 Siimenyenga ndagaano yange, Sijjululenga kigambo ekyava mu mimwa gyange.
35 Omulundi gumu nalayira obutuukirivu bwange; Siimulimbenga Dawudi.
36 Ezzadde lye linaabeereranga emirembe gyonna, N'entebe ye ng'enjuba mu maaso gange.
37 Eneenywezebwanga ennaku zonna ng'omwezi, Era ng'omujulirwa omwesigwa mu ggulu. (Seera)
38 Naye wasuula n'ogoba N'osunguwalira oyo gwe wafukako amafuta.
39 Wakyawa endagaano ey'omuddu wo. Wanyooma engule ye n'ogisuula wansi.
40 Wamenyaamenya enkomera ze zonna; Wayabya ebigo bye.
41 Bonna abayita mu kkubo bamunyaga: Afuuse ekivume eri baliraanwa be.
42 Ogulumizizza omukono ogwa ddyo ogw'abalabe be; Osanyusizza abamukyaye bonna.
43 Weewaawo, okyamizza obwogi bw'ekitala kye, So tomuyimirizizza mu lutalo.
44 Omazeewo okumasamasa kwe, N'osuulira ddala entebe ye wansi.
45 Osaze ku nnaku ez'obuvubuka bwe: Omubisseeko ensonyi. (Seera)
46 Olituusa wa, ai Mukama, okwekwekanga ennaku zonna? Obusungu bwo bulituusa wa okubuubuukanga ng'omuliro?
47 Ojjukire, nkwegayiridde, ekiseera kyange bwe kiri ekitono: Abaana b'abantu bonna nga wabatondera ebitaliimu!
48 Omuntu aluwa aliba omulamu ataliraba kufa, Alyewonya emmeeme ye mu buyinza bw'amagombe? (Seera)
49 Mukama, okusaasira kwo okw'edda kuli luuyi wa, Kwe walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo?
50 Jjukira, Mukama, abaddu bo bwe bavumibwa; Bwe nsitula mu kifuba kyange ekivume eky'amawanga gonna ag'amaanyi;
51 Abalabe bo kye bavuma, ai Mukama, Kye bavuma ebigere by'oyo gwe wafukako amafuta.
52 Mukama yeebazibwenga emirembe n'emirembe. Amiina, era Amiina.