0:00
0:00

Essuula 144

Yeebazibwe Mukama ejjinja lyange, Ayigiriza emikono gyange entalo, n'engalo zange okulwana.
2 Ekisa kyange ekirungi era ekigo kyange, Ennyumba yange empanvu, era omulokozi wange; Engabo yange, era oyo gwe nneesiga, Ajeemulula abantu bange be ntwala.
3 Mukama, omuntu kiki, ggwe okumumanya? Oba omwana w'omuntu, ggwe okumulowoozaako?
4 Omuntu aliŋŋanga omukka: Ennaku ze ziriŋŋanga ekisiikirize ekiggwaawo.
5 Okutamye eggulu lyo, ai Mukama, okke: Okwate ku nsozi, zinaanyooka.
6 Okasuke enjota, obasaasaanye; Olase obusaale bwo, obateganye.
7 Ogolole omukono gwo ng'oyima waggulu; Omponye, onziye mu mazzi amangi, mu mukono gwa bannaggwanga;
8 Akamwa kaabwe koogera ebitaliimu, N'omukono gwabwe ogwa ddyo gwe mukono ogwa ddyo ogw'obulimba.
9 Naakuyimbiranga ggwe oluyimba oluggya, ai Katonda: N'ennanga erina enkoba ekkumi naayimbanga okukutendereza.
10 Ye wuuyo awa bakabaka obulokozi: Awonya Dawudi omuddu we eri ekitala ekiruma.
11 Omponye, onziye mu mukono gwa bannaggwanga, Akamwa kaabwe koogera ebitaliimu, N'omukono gwabwe ogwa ddyo gwe mukono ogwa ddyo ogw'obulimba.
12 Batabani baffe bwe baliba ng'emiti egikuze nga bakyali bavubuka; N'abawala baffe ng'amayinja ag'omu nsonda agabajjibwa nga bwe bagabajjira mu lubiri;
13 Amawanika gaffe bwe galijjula, nga galina ebintu eby'engeri zonna; N'endiga zaffe bwe zirizaala enkumi n'obukumi ku ttale lyaffe;
14 Ente zaffe bwe ziriba n'emigugu eminene; Nga tewali kuwagula, newakubadde okufuluma, So nga tewali kuyoogaana mu nguudo zaffe;
15 Balina omukisa abantu ababeera bwe batyo: Balina omukisa abantu abalina Katonda waabwe ye Mukama.