0:00
0:00

Essuula 23

Mukama ye musumba wange; seetaagenga:
2 Angalamiza mu ddundiro ery'omuddo omuto: Antwala ku mabbali ag'amazzi amateefu.
3 Akomyawo emmeeme yange: Annuŋŋamya mu makubo ag'obutuukirivu ku lw'erinnya lye.
4 Era newakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky'ekisiikirize eky'olumbe, Siritya kabi konna; kubanga ggwe oli nange: Oluga lwo n'omuggo gwo bye binsanyusa.
5 Onteekerateekera emmeeza mu maaso g'abalabe bange: Onsiize amafuta ku mutwe; ekikompe kyange kiyiwa.
6 Obulungi n'ekisa tebiiremenga kugenda nange ennaku zonna ez'obulamu bwange: Nange naatuulanga mu nnyumba ya Mukama okutuusa ku nnaku nnyingi.