0:00
0:00

Essuula 68

Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane; Era n'abo abamukyawa badduke mu maaso ge.
2 Ng'omukka bwe gugobebwa, obagobe bw'otyo: Ng'envumbo bw'esaanuuka ku muliro, Ababi bazikirire bwe batyo awali Katonda.
3 Naye abatuukirivu basanyuke; bajagulize mu maaso ga Katonda: Weewaawo, bajaguze n'essanyu.
4 Mumuyimbire Katonda, muyimbe okutendereza erinnya lye: Mumukubire oluguudo oyo eyeebagalira mu malungu; YA lye linnya lye; era mujagulize mu maaso ge.
5 Kitaabwe w'abo abatalina bakitaabwe, era asalira bannamwandu omusango, Katonda mu kifo kye ekitukuvu ky'atuulamu.
6 Katonda awa abawuulu ennyumba: Aggya abasibe (mu kkomera) okulaba ebirungi: Naye abajeemu batuula mu nsi ekaze.
7 Ai Katonda, bwe wakulembera abantu bo, Bwe watambula mu ddungu; (Seera)
8 Ensi n'ekankana, Eggulu ne ligwa mu maaso ga Katonda: Olusozi luli Sinaayi ne lukankanira mu maaso ga Katonda, Katonda wa Isiraeri.
9 Ggwe, ai Katonda, watonnyesa enkuba nnyingi, N'onyweza obusika bwo, bwe bwali nga bukooye.
10 Ekibiina kyo kyatuula omwo: Ggwe, ai Katonda; wateekerateekera abaavu olw'obulungi bwo.
11 Mukama yawa ekigambo: Abakazi ababuulira ebigambo lye ggye eringi.
12 Bakabaka b'eggye badduka, badduka: Omukazi asigala eka ye agaba omunyago.
13 Muligalamira mu bisibo by'endiga, Ng'ebiwaawaatiro by'ejjiba ebibikkibwako effeeza, N'ebyoya byalyo ebiriko ezaabu emmyufu?
14 Omuyinza w'ebintu byonna bwe yasaasaanyiza omwo bakabaka, Kyali nga omuzira bwe gutonnya mu Zalumoni.
15 Olusozi Basani lwe lusozi lwa Katonda; Olusozi Basani lwe lusozi oluwanvu.
16 Kiki ekibaluziimuuza, mmwe ensozi empanvu, Olusozi Katonda lwe yayagala okulutuulako? Weewaawo, Mukama anaalutuulangako emirembe gyonna.
17 Amagaali ga Mukama bwe bukumi obubiri, ze nkumi n’enkumi: Mukama ali mu ago, nga ku Sinaayi, mu watukuvu.
18 Olinnye waggulu, osibye obusibe bwo; Oweereddwa ebirabo mu bantu, Era ne mu bajeemu, Mukama Katonda alyoke atuulenga wamu nabo.
19 Mukama atenderezebwenga atusitulira omugugu gwaffe buli lunaku, Ye Katonda, bwe bulokozi bwaffe. (Seera)
20 Katonda ye Katonda ow'okuwonyanga gye tuli; Era Yakuwa Mukama ye nannyini kuwonya mu kufa.
21 Naye Katonda alifumita omutwe gw'abalabe be, N'obwezinge obuliko enviiri obwa buli muntu anyiikira okuzza omusango.
22 Mukama yayogera nti Ndikomyawo okuva mu Basani, Ndibakomyawo okuva mu buziba bw'ennyanja:
23 Olyoke onnyike ekigere kyo mu musaayi, Olulimi lw'embwa zo lubeerenga n'omugabo gwalwo eri abalabe bo.
24 Balabye bw'otambula, ai Katonda, Ggwe Katonda wange, Kabaka wange, bw'otambula ng'oyingira mu watukuvu.
25 Abayimbi bakulembedde, abakubi b'ennanga bagoberedde, Wakati mu bawala abakuba ebitaasa.
26 Mwebalize Katonda mu bibiina, Ye Mukama, mmwe ab'oluzzi lwa Isiraeri.
27 Waliwo Benyamini omuto abafuga, Waliwo abalangira ba Yuda n'abateesa nabo, Waliwo abalangira ba Zebbulooni, abalangira ba Nafutaali.
28 Katonda wo alagidde amaanyi go: Onywezenga, ai Katonda, kye watukolera.
29 Olwa yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi, Bakabaka kyebanaavanga bakuleetera ebirabo.
30 Onenye ensolo ey'omu bitoogo, Ente ennyingi eza seddume, n'ennyana ez'amawanga, Ng'olinnyirira ebitundu eby'effeeza n'ebigere byo; Asaasaanyizza amawanga agasanyukira entalo.
31 Abalangira baliva mu Misiri; Kuusi eryanguwa okugolola emikono gye eri Katonda.
32 Muyimbire Katonda, mmwe amatwale g'ensi; Kale muyimbe okutendereza Mukama; (Seera)
33 Oyo eyeebagala ku ggulu eriri waggulu w'eggulu, eryabaawo edda n'edda lyonna; Laba, ayogera n'eddoboozi lye, lye ddoboozi ery'amaanyi.
34 Mumuwe Katonda amaanyi: Obulungi bwe bufuga Isiraeri, N'amaanyi ge gali mu ggulu.
35 Ai Katonda, oli wa ntiisa ng'oyima mu bifo byo ebitukuvu: Katonda wa Isiraeri yawa amaanyi n'obuyinza abantu be. Katonda yeebazibwe.