0:00
0:00

Essuula 84

Eweema zo nga nnungi, Ai Mukama ow'eggye.
2 Emmeeme yange yeegomba, era ezirise olw'empya za Mukama; Omutima gwange n'omubiri gwange bikaabira Katonda omulamu.
3 Weewaawo, enkazaluggya yeerabidde ennyumba, N'akataayi ekisu mwe kanaabiikiranga obwana bwako, Bye byoto byo, ai Mukama ow'eggye, Kabaka wange, era Katonda wange.
4 Balina omukisa abatuula mu nnyumba yo: Banaakutenderezanga. (Seera)
5 Alina omukisa omuntu amaanyi ge bwe gaba mu ggwe; Enguudo ezigenda mu Sayuuni nga ziri mu mutima gwe.
6 Nga bayita mu kiwonvu eky'amaziga bakifuula ekifo eky'ensulo; Weewaawo, ddumbi akibikkako n'omukisa.
7 Bava mu maanyi ne baggukira mu maanyi, Buli muntu mu bo alabika mu maaso ga Katonda mu Sayuuni.
8 Ai Mukama Katonda ow'eggye, wulira okusaba kwange: Otege okutu, ai Katonda wa Yakobo. (Seera)
9 Tunula, ai Katonda engabo yaffe, Olabe amaaso g'oyo gwe wafukako amafuta.
10 Kubanga olunaku lumu mu mpya zo lusinga olukumi. Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange Okusinga okutuula mu weema ez'obubi.
11 Kubanga Mukama Katonda ye njuba, ye ngabo: Mukama anaagabanga ekisa n'ekitiibwa: Tammenga kintu kirungi kyonna abo abeegendereza.
12 Ai Mukama ow'eggye, Alina omukisa omuntu akwesiga ggwe.