0:00
0:00

Essuula 66

Leeta eddoboozi ery'essanyu eri Katonda, ensi yonna:
2 Yimbira waggulu ekitiibwa eky'erinnya lye: Gulumiza ettendo lye libe n'ekitiibwa.
3 Gamba Katonda nti Emirimu gyo nga gya ntiisa! Olw'obuyinza bwo obungi abalabe bo balikujeemukira.
4 Ensi yonna erikusinza, Erikuyimbira ggwe; Baliyimbira erinnya lyo. (Seera)
5 Mujje mulabe emirimu gya Katonda; Ye w'entiisa mu by'akola eri abaana b'abantu.
6 Ennyanja yagifuula olukalu: Baayita mu mugga n'ebigere: Awo we twamusanyukirira.
7 Afuga n'amaanyi ge emirembe gyonna; Amaaso ge gatunuulira amawanga: Abajeemu balemenga okwegulumiza. (Seera)
8 Kale, mmwe amawanga, mumwebazenga Katonda waffe, Muwulize eddoboozi erimutendereza:
9 Akwatirira emmeeme yaffe obutafa, Era ataganya bigere byaffe okusagaasagana.
10 Kubanga ggwe, ai Katonda, watugeza: Watukema nga bwe bakema effeeza.
11 Watuyingiza mu kitimba; Wateeka omugugu omuzito ku biwato byaffe.
12 Weebagaza abantu okulinnya ku mitwe gyaffe; Twayita mu muliro ne mu mazzi; Naye watuggyamu n'otuyingiza mu kifo eky'obugagga.
13 Naayingira mu nnyumba yo n'ebiweebwayo ebyokebwa, Naakusasula obweyamo bwange,
14 Emimwa gyange bwe gyayogera, N'akamwa kange bwe kaayatula, bwe nnalaba ennaku.
15 Naakuwa ebyokwokya ebya ssava, N'ebyokwoteza eby'endiga eza seddume; Naawaayo ente n'embuzi. (Seera)
16 Mujje muwulire, mwenna abatya Katonda, Nange ne mbuulira bye yakolera emmeeme yange.
17 Namukoowoola n’akamwa kange, Era yatenderezebwa n'olulimi lwange.
18 Bwe mba ndowooza obutali butuukirivu mu mutima gwange, Mukama taawulire:
19 Naye mazima Katonda awulidde; Alowoozezza eddoboozi ery'okusaba kwange.
20 Katonda yeebazibwe, Atagobye kusaba kwange, so tannyimye kusaasira kwe.