0:00
0:00

Essuula 35

Wakana, ai Mukama, n'abo abawakana nange: Lwana n'abo abalwana nange.
2 Kwata engabo n'akagabo, Oyimirire okunnyamba.
3 Era sowola n'effumu, ozibire ekkubo abo abanjigganya: Ogambe emmeeme yange nti Nze bulokozi bwo.
4 Bakwatibwe ensonyi baswazibwe abanjigganya emmeeme yange: Bazzibwe ennyuma beeraliikirizibwe abateesa okunkola obubi.
5 Babeere ng'ebisusunku ebitwalibwa n'empewo, Era malayika wa Mukama ng'abagoba.
6 Ekkubo lyabwe libeere ekizikiza n'obuseerezi. Era malayika wa Mukama ng'abayigganya.
7 Kubanga awatali nsonga bankisizza mu bunnya ekyambika kyabwe, Awatali nsonga basimidde emmeeme yange.
8 Okuzikirira kumujjeko nga talaba; N'ekyambika kye kye yakisa kimukwate ye yennyini: Akigwemu n'okuzikirira:
9 N'emmeeme yange erisanyukira Mukama: Erijaguliza obulokozi bwe.
10 Amagumba gange gonna galyogera nti Mukama, ani afaanana nga ggwe, Awonya omwavu eri oyo amusinga amaanyi, Awonya omwavu n'omunafu eri oyo amunyaga?
11 Abajulirwa abatali batuukirivu bagolokose; Bambuuza ebigambo bye ssimanyi.
12 Bansasula obubi ku lw'obulungi, Okweraliikiriza emmeeme yange.
13 Naye nze, bwe baalwala, nayambala bibukutu: Ne nteganya emmeeme yange n'okusiiba; N'okusaba kwange ne kudda mu kifuba kyange.
14 Ne mba nga bwe nnaakubadde, singa yali mukwano gwange oba muganda wange: Ne nkutama ne nnakuwala ng'afiiriddwa nnyina:
15 Naye bwe nnawenyera nze, ne basanyuka, ne bakuŋŋaana: Abagwagwa ne bankuŋŋaanirako, ne ssimanya; Ne banjuza, ne batalekaayo:
16 Ng'abo abatatya Katonda abaduula mu mbaga, Bwe baaluma obujigi bwe batyo, nga bansunguwalira.
17 Mukama, olituusa wa okutunula obutunuzi? Wonya emmeeme yange mu kuzikiriza kwabwe, Kaganzi kange mu mpologoma.
18 Ndikwebaliza mu kibiina ekinene: Ndikutenderereza mu bantu abangi.
19 Abo abalabe bange baleme okunsanyukirako n'obulimba: Era abankyawa awatali nsonga baleme okutemya ekikowe.
20 Kubanga teboogera mirembe: Naye bateesa ebigambo eby'obulimba ku abo abatereera mu nsi.
21 Era banjasaamiririra ddala akamwa kaabwe; Ne boogera nti Ggwe, ggwe, eriiso lyaffe lyakiraba.
22 Ggwe wakiraba, ai Mukama; tosirika: Ai Mukama, tombeera wala.
23 Golokoka, ozuukuke okunsalira omusango, Era olw'ensonga yange, Katonda wange era Mukama wange.
24 Onsalire omusango, ai Mukama Katonda wange, ng'obutuukirivu bwo bwe buli; So tobaganya kunsanyukirako;
25 Baleme okwogera mu mutima gwabwe nti Bw'otyo bwe twagala bwe tutyo: Baleme okwogera nti Tumumize bugobo.
26 Bakwatibwe ensonyi baswazibwe bonna abasanyukira nze okulaba akabi: Bambale ensonyi n'okunyoomebwa abanneegulumirizaako.
27 Boogerere waggulu olw'essanyu, bajaguze, abayamba ensonga yange ey'obutuukirivu: Era boogerenga bulijjo eri Mukama agulumizibwe, Asanyukira omukisa ogw'omuddu we.
28 N'olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo, Ne ku ttendo lyo obudde okuziba.